Ezeekyeri 29:1-21
29 Ku lunaku olw’ekkumi n’ebbiri olw’omwezi ogw’ekkumi, mu mwaka ogw’ekkumi, Yakuwa yayogera nange n’aŋŋamba nti:
2 “Omwana w’omuntu, amaaso go goolekeze Falaawo kabaka wa Misiri olangirire ebinaamutuukako, n’ebinaatuuka ku Misiri yonna.+
3 Yogera ebigambo bino: ‘Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba:
“Kaakano ndi mulabe wo, ggwe Falaawo kabaka wa Misiri,+Ogusolo ogunene ogw’omu nnyanja ogugalamidde mu myala egiva ku mugga gwagwo Kiyira,+Agambye nti, ‘Omugga Kiyira gwange.
Nze nnagwekolera.’+
4 Naye nja kuteeka amalobo mu mba zo, ndeetere ebyennyanja by’omu mugga gwo Kiyira okukwatira ku magalagamba go.
Nja kukuggya mu Mugga gwo Kiyira awamu n’ebyennyanja byonna eby’omu Mugga Kiyira ebikwatidde ku magalagamba go.
5 Nja kukuleka mu ddungu ggwe n’ebyennyanja byonna eby’omu mugga gwo Kiyira.
Ojja kugwa ku ttale, era tewali ajja kukuggyawo wadde okukuziika.+
Nja kukuwaayo oliibwe ensolo ez’omu nsiko n’ebinyonyi eby’omu bbanga.+
6 Awo abantu bonna mu Misiri bajja kumanya nti nze Yakuwa,Kubanga baali ng’olumuli ab’ennyumba ya Isirayiri bwe baabeesigamako.+
7 Bwe baakukwata omukono, wamenyekamenyeka,N’oleetera ebibegaabega byabwe okuwogoka.
Bwe baakwesigamako, wamenyeka,N’oleetera amagulu gaabwe okukankana.”+
8 “‘Kale bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: “Ŋŋenda kukuleetako ekitala,+ era nja kukumalamu abantu n’ensolo.
9 Ensi ya Misiri ejja kufuuka matongo;+ era bajja kumanya nti nze Yakuwa, kubanga ogambye* nti, ‘Omugga Kiyira gwange; nze nnagukola.’+
10 Kale ndi mulabe wo ggwe n’omugga gwo Kiyira, era ensi ya Misiri nja kugifuula nkalu era matongo,+ okuva e Migudooli+ okutuuka e Seyene+ ne ku nsalo ya Esiyopiya.
11 Tejja kuyitamu muntu wadde ensolo,+ era tejja kubeeramu bantu okumala emyaka 40.
12 Ensi ya Misiri nja kugifuula matongo okusinga ensi endala ezaali zifuuse amatongo, era okumala emyaka 40+ ebibuga byayo bijja kuba matongo okusinga ebibuga ebirala ebyali bifuuse amatongo; Abamisiri nja kubasaasaanya mu mawanga ne mu nsi ez’enjawulo.”+
13 “‘Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: “Oluvannyuma lw’emyaka 40, nja kukuŋŋaanya Abamisiri mbaggye mu mawanga gye baasaasaanyizibwa;+
14 Abamisiri abaawambibwa nja kubakomyawo mu nsi ya Pasuloosi,+ ensi mwe basibuka, era bajja kufuuka obwakabaka obutali bwa maanyi.
15 Obwakabaka bwa Misiri bujja kuba bwa wansi okusinga obwakabaka obulala bwonna era tebujja kuddamu kufuga mawanga malala;+ Abamisiri nja kubafuula batono nnyo baleme kuddamu kuba na buyinza ku mawanga malala.+
16 Ab’ennyumba ya Isirayiri tebajja kuddamu kussa bwesige mu Misiri,+ era kijja kubajjukiza nti baakola nsobi okusaba Abamisiri babayambe. Bajja kumanya nti nze Yakuwa Mukama Afuga Byonna.”’”
17 Ku lunaku olusooka olw’omwezi ogusooka, mu mwaka ogw’amakumi abiri mu omusanvu, Yakuwa era yayogera nange n’aŋŋamba nti:
18 “Omwana w’omuntu, Kabaka Nebukadduneeza*+ owa Babulooni yakozesa nnyo eggye lye okulwanyisa Ttuulo.+ Buli mutwe gwakutuka ekiwalaata era buli kibegaabega kyayubukako olususu. Kyokka ye n’ab’eggye lye tebaafuna mpeera olw’amaanyi ge baamalira ku Ttuulo.
19 “Kale bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba, ‘Nebukadduneeza* kabaka wa Babulooni+ ŋŋenda kumuwa ensi ya Misiri, era ajja kutwala eby’obugagga byayo era agiggyemu omunyago mungi; ebyo bye bijja okuba empeera y’eggye lye.’
20 “‘Nja kumuwa ensi ya Misiri ng’empeera kubanga yalwanyisa Ttuulo ku lwange,’+ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.
21 “Ku lunaku olwo ab’ennyumba ya Isirayiri nja kubamereza ejjembe,*+ era nja kukuwa akakisa oyogerere mu bo; era bajja kumanya nti nze Yakuwa.”
Obugambo Obuli Wansi
^ Obut., “agambye.”
^ Obut., “Nebukadduleeza,” engeri endala erinnya eryo gye liwandiikibwamu.
^ Obut., “Nebukadduleeza,” engeri endala erinnya eryo gye liwandiikibwamu.
^ Oba, “nja kuwa ab’ennyumba ya Isirayiri amaanyi.”