Ezeekyeri 4:1-17

  • Okuzingizibwa kwa Yerusaalemi kulagibwa (1-17)

    • Ezeekyeri yeetikka ebibi okumala ennaku 390 era n’ennaku endala 40 (4-7)

4  “Era ggwe omwana w’omuntu, ddira ettoffaali oliteeke mu maaso go, olyoleko ekibuga Yerusaalemi.  Kizingize+ okizimbeko ekigo,+ okole ekifunvu ebweru wa bbugwe waakyo,+ osseewo ensiisira okukirumba, era okyetoolooze ebyuma ebimenya ebisenge.+  Ddira ekikalango eky’ekyuma okiteekewo kibe ng’ekisenge eky’ekyuma wakati wo n’ekibuga. Kisseeko amaaso go, kijja kuba nga kizingiziddwa; ojja kukizingiza. Kano kabonero eri ennyumba ya Isirayiri.+  “Era weebakire ku ludda lwo olwa kkono, weeteekeko* ebibi by’ennyumba ya Isirayiri.+ Ojja kwetikka ebibi byabwe ennaku z’onoomala nga weebakidde ku ludda olwo.  Nja kukusalira ennaku 390, nga zenkanankana n’emyaka egy’okwonoona kwabwe,+ era ojja kwetikka ebibi by’ennyumba ya Isirayiri.  Oteekwa okumalako ennaku ezo. “Ku mulundi ogw’okubiri, ojja kwebakira ku ludda lwo olwa ddyo weetikke ebibi by’ennyumba ya Yuda+ okumala ennaku 40. Buli lunaku mwaka, buli lunaku mwaka. Ekyo kye nkusalidde.  Ojja kutunula eri Yerusaalemi ekizingiziddwa+ ng’ofungizza omukono gw’ekyambalo kyo, olangirire ebinaakituukako.  “Laba! Nja kukusiba emiguwa obe nga tosobola kukyuka kwebakira ku ludda lulala, okutuusa lw’onoomalako ennaku ez’okuzingiza kwo.  “Ddira eŋŋaano, ssayiri, ebijanjaalo, empindi, obulo, n’eŋŋaano ey’ekika ekirala,* obiteeke mu kintu kimu obifumbemu emmere gy’onoolya okumala ennaku 390 nga weebakidde ku ludda lwo olwa kkono.+ 10  Emmere gy’onoolyanga onoomalanga kugipima, era buli lunaku onoolyanga sekeri 20.* Onoogiriiranga mu biseera ebigereke. 11  “Amazzi g’onoonywanga ganaabanga mapime, era onoonywanga kimu kya mukaaga ekya yini.* Onooganyweranga mu biseera ebigereke. 12  “Ojja kugirya nga bwe wandiridde omugaati omwetooloovu ogwa ssayiri; ojja kugifumbisa empitambi enkalu nga balaba.” 13  Yakuwa era n’agamba nti: “Bwe batyo Abayisirayiri bwe banaalyanga emmere yaabwe—nga si nnongoofu—nga bali mu mawanga gye nnaabasaasaanyiza.”+ 14  Awo ne ŋŋamba nti: “Nedda Yakuwa, Mukama Afuga Byonna! Okuva mu buto bwange n’okutuusa leero, sifuukangako atali mulongoofu nga ndya ennyama y’ensolo esangiddwa ng’efudde oba etaaguddwataaguddwa,+ era siryangako nnyama etali nnongoofu.”+ 15  Awo n’alyoka aŋŋamba nti: “Kale, nkukkirizza ogifumbise obusa bw’ente mu kifo ky’empitambi.” 16  Era n’ayongera n’aŋŋamba nti: “Omwana w’omuntu, ŋŋenda kusaanyaawo amaterekero g’emmere* mu Yerusaalemi.+ Emmere banaalyanga mpime,+ nga beeraliikirivu nnyo, era n’amazzi banaanywanga magere,+ nga bali mu ntiisa. 17  Kino kijja kubaawo kubanga olw’okubulwa emmere n’amazzi buli omu ajja kutunuulira munne ng’atidde, era bajja kukogga olw’ensobi zaabwe.

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “oluteekeko,” kwe kugamba, oludda lwa Ezeekyeri olwa kkono.
Laba obugambo obuli wansi ku Is 28:25.
Gramu nga 230. Laba Ebyong. B14.
Lita nga 0.6. Laba Ebyong. B14.
Obut., “kumenya emiti gy’emigaati.” Oboolyawo kitegeeza emiti kwe baaterekanga emigaati.