Ezeekyeri 41:1-26

  • Awatukuvu (1-4)

  • Ekisenge n’ebizimbe eby’oku bbali (5-11)

  • Ekizimbe ku luuyi olw’ebugwanjuba (12)

  • Ebizimbe bipimibwa (13-15a)

  • Munda mu yeekaalu (15b-26)

41  Awo n’antwala awatukuvu,* n’apima empagi; obugazi bwazo bwali emikono mukaaga* ku ludda olumu, n’emikono mukaaga ku ludda olulala.  Omulyango gwali emikono kkumi obugazi, era ekisenge eky’oludda olumu olw’omulyango kyali emikono ettaano n’eky’oludda olulala emikono etaano. N’apima awatukuvu, era waali emikono 40 obuwanvu n’emikono 20 obugazi.  Awo n’ayingira munda,* n’apima empagi ey’oku mulyango oguyingira, era obunene bw’omubiri gwayo bwali emikono ebiri, ate omulyango oguyingira gwali emikono mukaaga obugazi. Ebisenge by’omulyango oguyingira byali* emikono musanvu.  Bwe yamala, n’apima ekisenge ekyali kitunudde mu watukuvu, era kyali emikono 20 obuwanvu n’emikono 20 obugazi.+ Awo n’aŋŋamba nti: “Kino kye kifo ekiyitibwa Awasinga Obutukuvu.”+  Awo n’apima ekisenge kya yeekaalu, era obunene bw’omubiri gwakyo bwali emikono mukaaga. Ebisenge eby’oku bbali ebyali byetoolodde yeekaalu byali emikono ena obugazi.+  Ebisenge ebyo byali bya myaliiro esatu, nga buli mwaliiro gutudde ku gunnaagwo, era buli mwaliiro gwaliko ebisenge 30. Waaliwo ebyali biwaniridde ekizimbe ekyo naye nga tebyazimbibwa mu kisenge kya yeekaalu.+  Ku njuyi zombi eza yeekaalu waaliwo amadaala* agaagendanga gagaziwa ng’oyambuka okugenda ku bisenge ebya waggulu.+ Obusenge bw’ennyumba bwagendanga bugaziwa omuntu bwe yalinnyanga okuva ku mwaliiro ogwa wansi okutuuka ku gwa waggulu, ng’ayita mu mwaliiro ogwa wakati.  Nnalaba nga yeekaalu yali ezimbiddwa ku kituuti, era omusingi ogw’ebisenge eby’oku bbali gwali olumuli lumu olw’emikono mukaaga okutuuka ku nsonda.  Ekisenge eky’ebweru eky’ebisenge eby’oku bbali kyali emikono ettaano obugazi. Waaliwo ebbanga* wakati w’ebisenge eby’oku bbali ne yeekaalu. 10  Wakati wa yeekaalu n’ebisenge ebiriirwamu,+ waaliwo ekibangirizi kya mikono 20 ku buli luuyi. 11  Wakati w’ebisenge eby’oku bbali n’ebbanga ku luuyi olw’ebukiikakkono waaliwo omulyango, era waaliwo n’omulyango omulala ku luuyi olw’ebukiikaddyo. Ebbanga eryali lyetoolodde yeekaalu lyali emikono etaano obugazi. 12  Ekizimbe ekyali ku luuyi olw’ebugwanjuba ekyali kitunudde mu kibangirizi kyali emikono 70 obugazi n’emikono 90 obuwanvu; obunene bw’omubiri gw’ekisenge ky’ekizimbe ekyo bwali emikono etaano. 13  Yapima yeekaalu, era yali emikono 100 obuwanvu. Ekibangirizi, ekizimbe,* n’ekisenge kyakyo byali emikono 100. 14  Obugazi bwa yeekaalu mu maaso ku luuyi olutunudde ebuvanjuba n’ekibangirizi bwali emikono 100. 15  N’apima ekizimbe ekyali kitunudde mu kibangirizi ekyali emabega wa yeekaalu awamu n’embalaza zaakyo ku njuyi zombi, era byonna byali emikono 100. Era n’apima Awatukuvu, n’Awasinga Obutukuvu,+ n’ebisasi eby’omu luggya, 16  n’emiryango egiyingira, n’amadirisa agaalina fuleemu ezigenda zifunda,+ n’embalaza ezaali mu bifo ebyo ebisatu. Ebisenge ebiriraanye omulyango byali bikubiddwako embaawo+ okuva wansi okutuuka ku madirisa; amadirisa nago gaali gabikkiddwako embaawo. 17  Waggulu w’omulyango oguyingira waapimibwa, awamu ne munda mu yeekaalu ne wabweru waayo, n’ekisenge kyayo kyonna okwetooloola. 18  Kyali kyoleddwako ebifaananyi bya bakerubi+ n’eby’enkindu,+ nga buli lukindu luli wakati wa bakerubi babiri, era buli kerubi yalina obwenyi bubiri. 19  Obwenyi obw’omuntu bwali butunuulidde olukindu ku ludda olumu, ate obwenyi bw’empologoma nga butunuulidde olukindu ku ludda olulala.+ Bwe bityo bwe byali byoleddwa ku bisenge bya yeekaalu yonna. 20  Ebifaananyi bya bakerubi n’eby’enkindu byali byoleddwa ku kisenge kya yeekaalu okuva wansi okutuuka waggulu w’omulyango oguyingira. 21  Emyango* gya yeekaalu gyali gyenkanankana ku njuyi zaagyo zonna ennya.+ Mu maaso g’ekifo ekitukuvu* waaliwo ekintu ekyali 22  ng’ekyoto eky’embaawo+ nga kya mikono esatu obugulumivu n’emikono ebiri obuwanvu. Enkondo zaakyo ez’oku nsonda, n’entobo* yaakyo, n’amabbali gaakyo byali bya mbaawo. Awo n’aŋŋamba nti: “Eno ye mmeeza eri mu maaso ga Yakuwa.”+ 23  Awatukuvu n’ekifo ekitukuvu, wombi waaliwo enzigi bbiri bbiri.+ 24  Enzigi zaalina ebiwayi bibiri ebyewuubanga nga zeggula; buli luggi lwalina ebiwayi bibiri. 25  Ku nzigi za yeekaalu kwali kwoleddwako ebifaananyi bya bakerubi n’eby’enkindu, ng’ebyo ebyali byoleddwa ku bisenge.+ Era ebweru mu maaso g’ekisasi waggulu, waaliwo akasolya ak’embaawo. 26  Ku njuyi zombi ez’ekisasi, ne ku bisenge eby’oku bbali ebyali byetoolodde yeekaalu, ne ku busolya obw’embaawo, kwaliko amadirisa agaalina fuleemu ezigenda zifunda+ n’ebifaananyi by’enkindu.

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “mu yeekaalu.” Mu ssuula 41 ne 42, ekigambo kino kitegeeza Awatukuvu oba yeekaalu yonna nga mw’otwalidde Awatukuvu n’Awasinga Obutukuvu.
Kino kyali kipimo eky’omukono omuwanvu. Laba Ebyong. B14.
Kwe kugamba, Awasinga Obutukuvu.
Obut., “obugazi bw’omulyango oguyingira bwali.”
Kirabika amadaala gaali meetooloovu.
Lulabika lwali lukuubo olufunda olwali lwetooloola yeekaalu.
Kwe kugamba, ekizimbe ekyali ebugwanjuba wa yeekaalu.
Obut., “omwango.” Kirabika gwali mulyango oguyingira Awatukuvu.
Kirabika kitegeeza Awasinga Obutukuvu.
Obut., “obuwanvu.”