Ezeekyeri 44:1-31

  • Omulyango ogw’ebuvanjuba gwa kusigala nga muggale (1-3)

  • Amateeka agakwata ku bagwira (4-9)

  • Amateeka agakwata ku Baleevi ne bakabona (10-31)

44  Awo n’anzizaayo ku mulyango gwa yeekaalu ogw’ebweru, ogutunudde ebuvanjuba,+ naye gwali muggale.+  Awo Yakuwa n’aŋŋamba nti: “Omulyango guno gunaabanga muggale. Teguggulwengawo, era tewali muntu yenna anaaguyitangamu; Yakuwa Katonda wa Isirayiri aguyiseemu,+ n’olwekyo gulina okusigala nga muggale.  Naye omwami anaagutuulangamu n’aliira emmere mu maaso ga Yakuwa,+ kubanga mwami. Anaayingiriranga mu kisasi ky’oku mulyango, era omwo mw’anaafulumiranga.”+  Awo n’ampisa mu mulyango ogw’ebukiikakkono n’antuusa mu maaso ga yeekaalu. Bwe nnatunula, ne ndaba ng’ekitiibwa kya Yakuwa kijjudde yeekaalu ya Yakuwa,+ ne nzika ku maviivi ne nvunnama.+  Awo Yakuwa n’aŋŋamba nti: “Omwana w’omuntu ssaayo omwoyo, weetegereze, era wuliriza bulungi ebyo byonna bye nkugamba ebikwata ku mateeka n’ebiragiro bya yeekaalu ya Yakuwa. Weetegereze nnyo omulyango oguyingira mu yeekaalu n’emiryango gyonna egifuluma mu kifo ekitukuvu.+  Gamba ab’ennyumba ya Isirayiri abajeemu nti, ‘Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: “Mmwe ab’ennyumba ya Isirayiri, muyitirizza okukola ebintu eby’omuzizo.  Muleeta mu kifo kyange ekitukuvu abagwira abatali bakomole mu mutima ne mu mubiri ne boonoona yeekaalu yange. Muwaayo omugaati gwange, amasavu, n’omusaayi, ng’eno endagaano yange bw’emenyebwa olw’ebikolwa byammwe byonna eby’omuzizo.  Temufuddeeyo ku bintu byange ebitukuvu,+ era abalala be muwadde okukola emirimu egy’omu kifo kyange ekitukuvu.”’  “‘Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: “Omugwira yenna abeera mu Isirayiri, atali mukomole mu mutima ne mu mubiri tayingiranga mu kifo kyange ekitukuvu.”’ 10  “‘Naye Abaleevi abaawaba ne bagenda ewala okuva we ndi+ ng’Abayisirayiri banvuddeko ne bagoberera ebifaananyi byabwe ebyenyinyaza,* bajja kwolekagana n’ebyo ebinaava mu nsobi zaabwe. 11  Bajja kuweereza mu yeekaalu yange nga be balabirira emiryango gya yeekaalu+ n’okuweereza ku yeekaalu. Be banattiranga abantu ensolo ez’ebiweebwayo ebyokebwa n’eza ssaddaaka, era banaayimiriranga mu maaso g’abantu okubaweereza. 12  Olw’okuba baaweerezanga abantu mu maaso g’ebifaananyi byabwe ebyenyinyaza ne bafuuka enkonge eyaviirako ab’ennyumba ya Isirayiri okwonoona,+ eyo ye nsonga lwaki ngolodde omukono gwange ne ndayira,’ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna, ‘era bajja kwolekagana n’ebyo ebinaava mu nsobi zaabwe. 13  Tebajja kujja mu maaso gange kuweereza nga bakabona bange era tebajja kusemberera kintu kyange kyonna ekitukuvu oba ekisinga obutukuvu, era bajja kuswala olw’ebintu eby’omuzizo bye baakola. 14  Naye nja kubawa obuvunaanyizibwa mu yeekaalu, bakole emirimu gyamu n’ebintu ebirala ebirina okukolebwamu.’+ 15  “‘Naye bakabona Abaleevi abaana ba Zadooki,+ abaakolanga emirimu egy’omu yeekaalu yange ng’Abayisirayiri banvuddeko,+ banajjanga mu maaso gange ne bampeereza, era banaayimiriranga mu maaso gange ne bawaayo gye ndi amasavu+ n’omusaayi,’+ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna. 16  ‘Abo be banaayingiranga mu kifo kyange ekitukuvu, era be banaasemberanga awali emmeeza yange okumpeereza;+ banaatuukirizanga obuvunaanyizibwa bwe nnabawa.+ 17  “‘Bwe banaayingiranga mu miryango egy’oluggya olw’omunda, banaayambalanga ebyambalo ebya kitaani.+ Tebambalanga byambalo bya byoya by’endiga nga baweereza mu miryango gy’oluggya olw’omunda oba munda mu luggya. 18  Banaasibanga ebiremba ebya kitaani ku mitwe gyabwe, era banaayambalanga empale ennyimpi eza kitaani.+ Tebambalanga kintu kyonna ekibatuuyanya. 19  Bwe banaabanga tebannafuluma kugenda mu luggya olw’ebweru awali abantu, banaayambulangamu ebyambalo byabwe bye baweererezaamu+ ne babiteeka mu bisenge ebitukuvu ebiriirwamu.+ Banaayambalanga ebyambalo ebirala, ebyambalo byabwe bireme okuleeta obutukuvu ku bantu.* 20  Bakabona tebamwangako nviiri zaabwe ku mutwe+ era tebakuzanga nviiri zaabwe ne ziwanvuwa. Naye banaazikendeezangako ne balekako ensaamusaamu. 21  Tebanywanga mwenge nga bayingidde mu luggya olw’omunda.+ 22  Kabona tawasanga nnamwandu oba omukazi eyagattululwa ne bba,+ wabula awasanga omuwala Omuyisirayiri embeerera oba nnamwandu eyali muka kabona.’+ 23  “‘Bakabona banaayigirizanga abantu bange enjawulo eriwo wakati w’ekintu ekitukuvu n’ekya bulijjo, n’enjawulo eriwo wakati w’ekirongoofu n’ekitali kirongoofu.+ 24  Banaabanga balamuzi,+ era banaasalanga emisango nga bagoberera amateeka gange.+ Banaakwatanga amateeka gange n’ebiragiro byange ebikwata ku mbaga zange zonna,+ era banaatukuzanga ssabbiiti zange. 25  Kabona tasembereranga mufu yenna, aleme kufuuka atali mulongoofu. Naye asobola okufuuka atali mulongoofu olwa kitaawe, nnyina, mutabani we, muwala we, muganda we, oba mwannyina atali mufumbo.+ 26  Kabona bw’anaamalanga okutukuzibwa, banaamubaliranga ennaku musanvu n’alyoka addamu okuweereza. 27  Ku lunaku lw’anaayingiranga mu kifo ekitukuvu, mu luggya olw’omunda, okuweereza mu kifo ekitukuvu, anaawangayo ekiweebwayo olw’ekibi,’+ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna. 28  “‘Buno bwe bunaaba obusika bwabwe: nze busika bwabwe.+ Temubawanga mugabo gwonna mu Isirayiri, kubanga nze mugabo gwabwe. 29  Be banaalyanga ebiweebwayo eby’emmere ey’empeke, ebiweebwayo olw’ekibi,+ n’ebiweebwayo olw’omusango,+ era ebintu byonna ebinaayawulibwangawo okuba ebitukuvu mu Isirayiri binaabanga byabwe.+ 30  Ebisinga obulungi ku bibala byonna ebisooka okwengera ne ku bintu byonna bye muwaayo gye ndi, binaabanga bya bakabona.+ Era bakabona munaabawanga ku buwunga obulimu empulunguse bwe munaasookanga okusekula.+ Ekyo kijja kuweesa amaka gammwe emikisa.+ 31  Bakabona tebalyanga kinyonyi oba ensolo esangiddwa ng’efudde oba etaaguddwataaguddwa.’+

Obugambo Obuli Wansi

Laba obugambo obuli wansi ku Ezk 6:4.
Obut., “okutukuza abantu.”