Ezeekyeri 45:1-25
45 “‘Bwe munaagabanyaamu ensi okuba obusika,+ munaawaayo eri Yakuwa ekitundu ku nsi yammwe okuba ekitundu ekitukuvu.+ Ekitundu ekyo kijja kuba emikono 25,000 obuwanvu, n’emikono* 10,000 obugazi.+ Kyonna kijja kuba kitundu kitukuvu.
2 Mu kyo mujja kubaamu ekitundu ekyenkanankana ku njuyi zaakyo ennya ekinaabaamu ekifo ekitukuvu; kijja kuba emikono 500 obuwanvu n’emikono 500 obugazi;+ era kijja kuba kyetooloddwa ettaka ery’okulundirako, nga lya mikono 50.+
3 Ku kitundu ekyo ojja kupimako ekitundu kya mikono 25,000 obuwanvu n’emikono 10,000 obugazi, era omwo mwe mujja okuba yeekaalu, ekintu ekisingayo obutukuvu.
4 Kijja kuba kitundu kitukuvu nga kya bakabona+ abaweereza mu kifo ekitukuvu, abajja mu maaso ga Yakuwa okumuweereza.+ Omwo mwe mujja okuba ennyumba zaabwe n’ekifo ekitukuvu ekya yeekaalu.
5 “‘Abaleevi, abaweereza b’omu yeekaalu, bajja kuweebwa ettaka lya mikono 25,000 obuwanvu n’emikono 10,000 obugazi,+ era bajja kuba n’ebisenge ebiriirwamu 20.+
6 “‘Ekibuga mujja kukirekerawo ekitundu kya mikono 25,000 obuwanvu, (ng’obuwanvu bwakyo bwenkana n’obw’ekitundu ekitukuvu) n’emikono 5,000 obugazi.+ Kijja kuba kya nnyumba ya Isirayiri yonna.
7 “‘Omwami ajja kuba n’ettaka ku njuyi zombi ez’ekitundu ekitukuvu era ne ku njuyi zombi ez’ettaka eriweereddwa ekibuga. Lijja kuba liriraanye ekitundu ekitukuvu n’ettaka eriweereddwa ekibuga. Lijja kuba ku luuyi olw’ebugwanjuba ne ku luuyi olw’ebuvanjuba. Obuwanvu bwalyo okuva ku nsalo ey’ebuvanjuba okutuuka ku nsalo ey’ebugwanjuba, bujja kuba bwenkana n’obuwanvu bw’erimu ku ttaka ly’ebika bya Isirayiri.+
8 Ettaka eryo lijja kuba lirye mu Isirayiri. Abaami bange tebajja kuddamu kunyigiriza bantu bange,+ era ensi bajja kugigabanyizaamu ab’ennyumba ya Isirayiri ng’ebika byabwe bwe biri.’+
9 “Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: ‘Mmwe abaami ba Isirayiri muyitirizza!’
“‘Mukomye ebikolwa byammwe eby’obukambwe n’okunyigiriza abantu, mukole eby’obwenkanya n’eby’obutuukirivu.+ Mulekere awo okunyaga ebintu by’abantu bange,’+ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.
10 ‘Mukozese minzaani entuufu, n’ebipimo bya efa* ne basi* ebituufu.+
11 Walina okubaawo ekipimo eky’enkalakkalira ekya efa n’ekya basi. Ekipimo kya basi kirina kuba kimu kya kkumi ekya komeri,* ate efa erina kuba kimu kya kkumi ekya komeri. Komeri y’ejja okuba ekipimo ekinaasinziirwangako okupima.
12 Sekeri*+ ejja kuba yenkana gera* 20. Sekeri 20 gattako sekeri 25 gattako sekeri 15 zijja kuba zenkana maane* emu.’
13 “‘Bino bye munaawangayo: kimu kya mukaaga ekya efa ku buli komeri y’eŋŋaano, n’ekimu kya mukaaga ekya efa ku buli komeri ya ssayiri.
14 Omugabo gw’amafuta g’ezzeyituuni gujja kupimibwanga mu kipimo kya basi. Basi yenkana kimu kya kkumi ekya koro,* era basi kkumi zenkana komeri emu, kubanga komeri emu yenkana basi kkumi.
15 Okuva mu ndiga za Isirayiri mujja kuwangayo endiga emu ku buli ndiga 200. Ezo zijja kuba za kiweebwayo eky’emmere ey’empeke,+ n’ekiweebwayo ekyokebwa,+ ne ssaddaaka ez’emirembe,+ okusobola okutangirira ebibi by’abantu,’+ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.
16 “‘Abantu bonna mu Isirayiri bajja kuwanga omwami wa Isirayiri ebintu ebyo.+
17 Omwami oyo y’anaavunaanyizibwanga ku biweebwayo ebyokebwa,+ ebiweebwayo eby’emmere ey’empeke,+ n’ebiweebwayo eby’eby’okunywa mu kiseera ky’embaga,+ ne ku kuboneka kw’omwezi, ne ku Ssabbiiti,+ ne ku mbaga zonna ezaalagirwa ez’ennyumba ya Isirayiri.+ Y’anaategekanga ekiweebwayo olw’ekibi, ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke, ekiweebwayo ekyokebwa, ne ssaddaaka ez’emirembe, okusobola okutangirira ebibi by’ab’ennyumba ya Isirayiri.’
18 “Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: ‘Ku lunaku olusooka, mu mwezi ogusooka, oddiranga ente ento ennume ennamu obulungi, n’otukuza yeekaalu n’evaako ekibi.+
19 Kabona anaatoolanga ku musaayi ogw’ekiweebwayo olw’ekibi, n’agussa ku mwango gwa yeekaalu+ ne ku nsonda ennya ez’ekitundu ky’ekyoto ekyokusatu, ne ku mwango gw’omulyango ogw’oluggya olw’omunda.
20 Ekyo ky’onookolanga ku lunaku olw’omusanvu olw’omwezi ku lwa buli muntu anaakolanga ekibi mu butamanya oba nga tagenderedde;+ era mujja kutangirira yeekaalu.+
21 “‘Ku lunaku olw’ekkumi n’ennya mu mwezi ogusooka, munaakwatanga embaga ey’Okuyitako.+ Munaalyanga emigaati egitali mizimbulukuse okumala ennaku musanvu.+
22 Ku lunaku olwo, omwami anaategekanga ente ento ennume ey’ekiweebwayo olw’ekibi, ku lulwe ne ku lw’abantu bonna ab’omu Isirayiri.+
23 Mu nnaku omusanvu ez’embaga, buli lunaku anaategekanga ente ento ennume musanvu n’endiga ennume musanvu ennamu obulungi okuba ekiweebwayo ekyokebwa eri Yakuwa,+ era buli lunaku anaategekanga embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw’ekibi.
24 Era anaategekanga ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke, efa emu ku buli nte ento ennume, ne efa emu ku buli ndiga ennume, ne yini* emu ey’amafuta g’ezzeyituuni ku buli efa.
25 “‘Ne ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano, mu mwezi ogw’omusanvu, mu nnaku omusanvu ez’embaga,+ anaategekanga ekiweebwayo kye kimu olw’ekibi, ekiweebwayo kye kimu ekyokebwa, ekiweebwayo kye kimu eky’emmere ey’empeke, n’amafuta ge gamu ag’ezzeyituuni.’”
Obugambo Obuli Wansi
^ Kino kyali kipimo eky’omukono omuwanvu. Laba Ebyong. B14.
^ Laba Ebyong. B14.
^ Laba Ebyong. B14.
^ Laba Ebyong. B14.
^ Oba, “mina.” Laba Ebyong. B14.
^ Laba Ebyong. B14.
^ Laba Ebyong. B14.
^ Laba Ebyong. B14.
^ Laba Ebyong. B14.