Ezeekyeri 6:1-14
6 Yakuwa era n’ayogera nange n’aŋŋamba nti:
2 “Omwana w’omuntu, tunula eri ensozi za Isirayiri olangirire ebinaazituukako.
3 Zigambe nti, ‘Mmwe ensozi za Isirayiri muwulire ekigambo kya Yakuwa Mukama Afuga Byonna: Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba ensozi, obusozi, emigga, n’ebiwonvu: “Laba! nja kubaleetako ekitala, era nja kusaanyaawo ebifo byammwe ebigulumivu.
4 Ebyoto byammwe n’ebyoterezo byammwe eby’obubaani bijja kumenyebwamenyebwa,+ era abantu bammwe abanaaba battiddwa nja kubasuula mu maaso g’ebifaananyi byammwe ebyenyinyaza.*+
5 Nja kusuula emirambo gy’abantu ba Isirayiri mu maaso g’ebifaananyi byabwe ebyenyinyaza, era nja kusaasaanya amagumba gammwe okwetooloola ebyoto byammwe.+
6 Mu bifo byonna gye mubeera, ebibuga bijja kuzikirizibwa,+ era ebifo ebigulumivu bijja kumenyebwamenyebwa bifuuke matongo.+ Ebyoto byammwe bijja kumenyebwamenyebwa bisaanewo, ebifaananyi byammwe ebyenyinyaza bijja kusaanawo, ebyoterezo byammwe eby’obubaani bijja kumenyebwamenyebwa, n’ebintu byonna bye mukola bijja kumalibwawo.
7 Abo abanattibwa bajja kugwa wakati mu mmwe,+ era mujja kumanya nti nze Yakuwa.+
8 “‘“Naye nja kulekawo ensigalira, kubanga abamu ku mmwe mujja kuwona ekitala nga muli mu mawanga, bwe munaaba musaasaanidde mu nsi zonna.+
9 Abo abanaawonawo bajja kunzijukira nga bali eyo mu mawanga gye banaatwalibwa mu buwambe.+ Bajja kumanya nga nnanakuwala olw’emitima gyabwe egitali myesigwa* egyanvaako,+ n’olw’amaaso gaabwe ageegomba* ebifaananyi ebyenyinyaza.+ Bajja kukwatibwa ensonyi olw’ebintu ebibi era eby’omuzizo bye baakola era babyetamwe.+
10 Bajja kumanya nti nze Yakuwa, era nti nnali sitiisatiisa butiisatiisa bwe nnagamba nti nja kubatuusaako akabi kano.”’+
11 “Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: ‘Kuba mu ngalo era samba wansi ku ttaka era kungubaga olw’ebintu byonna ebibi n’olw’eby’omuzizo ebyakolebwa ennyumba ya Isirayiri, kubanga bajja kuttibwa n’ekitala, era bajja kufa enjala n’endwadde.+
12 Oyo ali ewala ajja kufa endwadde, oyo ali okumpi ajja kuttibwa n’ekitala, na buli anaawonawo ajja kufa enjala; era nja kubamalirako ekiruyi kyange.+
13 Era mujja kumanya nti nze Yakuwa,+ abantu baabwe abanaaba battiddwa bwe banaaba bagaŋŋalamye awali ebifaananyi byabwe ebyenyinyaza, okwetooloola ebyoto byabwe,+ ku buli kasozi akawanvu, ne ku ntikko zonna ez’ensozi, ne wansi wa buli muti ogw’ebikoola ebingi, ne wansi w’amatabi g’emiti eminene, we baaweerangayo ebiweebwayo eby’akaloosa okusanyusa ebifaananyi byabwe byonna ebyenyinyaza.+
14 Nja kugolola omukono gwange mbabonereze era ensi nja kugifuula matongo; ebifo byonna gye babeera nja kubifuula matongo bibe bibi nnyo n’okusinga eddungu eririraanye Dibula. Era bajja kumanya nti nze Yakuwa.’”