Ezeekyeri 8:1-18
8 Ku lunaku olw’okutaano, olw’omwezi ogw’omukaaga, mu mwaka ogw’omukaaga, bwe nnali ntudde mu nnyumba yange era nga n’abakadde ba Yuda batudde mu maaso gange, omukono gwa Yakuwa Mukama Afuga Byonna ne gunkwata nga ndi eyo.
2 Bwe nnatunula, ne ndaba omuntu eyali afaanana ng’omuliro. Wansi w’ekyo ekyalabika ng’ekiwato kye,+ waaliwo omuliro. N’okuva ku kiwato kye okwambuka yali ayakaayakana ng’ekyuma ekimasamasa.*+
3 N’agolola ekyalabika ng’omukono, n’akwata omuvumbo gw’enviiri zange, omwoyo ne gunsitula mu bbanga* ne guntwala e Yerusaalemi mu kwolesebwa okwava eri Katonda ne gunteeka ku mulyango ogutunudde ebukiikakkono oguyingira mu luggya olw’omunda,+ awaali ekifaananyi ekisinzibwa ekikwasa obuggya, ekisunguwaza Katonda.+
4 Era laba! ekitiibwa kya Katonda wa Isirayiri kyali eyo;+ kyali kifaanana ng’ekintu kye nnalaba mu lusenyi.+
5 Awo n’aŋŋamba nti: “Omwana w’omuntu, yimusa amaaso go otunule ebukiikakkono.” Ne nnyimusa amaaso gange ne ntunula ebukiikakkono, era laba, ebukiikakkono w’omulyango gw’ekyoto waaliwo ekifaananyi ekisinzibwa ekikwasa obuggya nga kiri mu mulyango oguyingira.
6 N’aŋŋamba nti: “Omwana w’omuntu, olaba ebintu ebibi ennyo eby’omuzizo ab’ennyumba ya Isirayiri bye bakolera wano,+ ebindeetera okwesamba ekifo kyange ekitukuvu ne nkiba wala?+ Naye ojja kulaba eby’omuzizo ebisinga n’ebyo obubi.”
7 Awo n’antwala ku mulyango oguyingira mu luggya, era bwe nnatunula, ne ndaba ekituli mu kisenge.
8 N’aŋŋamba nti: “Omwana w’omuntu, kuba ekituli mu kisenge.” Ne nkuba ekituli mu kisenge ne ndaba omulyango oguyingira.
9 Awo n’aŋŋamba nti: “Yingira olabe ebintu ebibi ennyo eby’omuzizo bye bakolera wano.”
10 Ne nnyingira ne ndaba ebifaananyi by’ebintu ebyewalula ebya buli ngeri n’eby’ensolo ez’omuzizo,+ era n’ebifaananyi byonna ebyenyinyaza* eby’ennyumba ya Isirayiri;+ byali byoleddwa ku kisenge kyonna.
11 Era abasajja 70 ku bakadde b’ennyumba ya Isirayiri baali bayimiridde mu maaso gaabyo, nga ne Yaazaniya mutabani wa Safani+ ayimiridde wakati mu bo. Buli omu yali akutte ekyoterezo mu mukono gwe, ng’omukka ogw’obubaani ogw’akaloosa gunyooka.+
12 N’aŋŋamba nti: “Omwana w’omuntu, olaba abakadde b’ennyumba ya Isirayiri kye bakola mu kizikiza, buli omu mu kisenge eky’omunda omuli ebifaananyi by’asinza? Kubanga bagamba nti, ‘Yakuwa tatulaba. Yakuwa alese ensi.’”+
13 Era n’aŋŋamba nti: “Ojja kulaba ebintu ebirala eby’omuzizo ebibi ennyo ebisinga n’ebyo bye bakola.”
14 Awo n’antwala awayingirirwa ku mulyango ogw’ebukiikakkono ogw’ennyumba ya Yakuwa, ne ndaba abakazi abatudde nga bakaabira katonda Tammuzi.
15 Era n’aŋŋamba nti: “Omwana w’omuntu, ebyo obirabye? Ojja kulaba eby’omuzizo ebibi ennyo n’okusinga ebyo.”+
16 Awo n’antwala mu luggya olw’omunda olw’ennyumba ya Yakuwa.+ Eyo ku mulyango gwa yeekaalu ya Yakuwa, wakati w’ekisasi n’ekyoto, waaliwo abasajja nga 25. Yeekaalu ya Yakuwa baali bagikubye amabega nga batunudde ebuvanjuba; baali bavunnamidde enjuba nga batunudde ebuvanjuba.+
17 Awo n’aŋŋamba nti: “Omwana w’omuntu, ebyo obirabye? Olowooza kintu kitono nnyo abantu b’ennyumba ya Yuda okukola ebintu bino eby’omuzizo, okujjuza ensi ebikolwa eby’obukambwe+ ne babeera nga bannyiiza? Basonga ettabi* mu nnyindo yange.
18 N’olwekyo, nja kubamalirako ekiruyi kyange. Eriiso lyange terijja kubakwatirwa kisa+ era sijja kubasaasira. Ne bwe banaakoowoola mu ddoboozi ery’omwanguka, sijja kubawuliriza.”+
Obugambo Obuli Wansi
^ Ekyuma ekimasamasa ekyakolebwa mu zzaabu ne ffeeza.
^ Obut., “wakati w’ensi n’eggulu.”
^ Oboolyawo lino lyali ttabi lye baakozesanga mu kusinza okw’obulimba.