Ezera 8:1-36
8 Bano be bakulu b’ennyumba za bakitaabwe era luno lwe lukalala lw’ennyiriri z’obuzaale olw’abo abaava nange e Babulooni mu kiseera ky’obufuzi bwa Kabaka Alutagizerugiizi:+
2 ku baana ba Fenekaasi,+ Gerusomu; ku baana ba Isamaali,+ Danyeri; ku baana ba Dawudi, Kattusi;
3 ku baana ba Sekaniya, ku baana ba Palosi, Zekkaliya, era yawandiikibwa wamu n’abasajja 150;
4 ku baana ba Pakasu-mowaabu,+ Eriyeko-wenayi mutabani wa Zerakiya, era yali wamu n’abasajja 200;
5 ku baana ba Zattu,+ Sekaniya mutabani wa Yakaziyeeri, era yali wamu n’abasajja 300;
6 ku baana ba Adini,+ Ebedi mutabani wa Yonasaani, era yali wamu n’abasajja 50;
7 ku baana ba Eramu,+ Yesukaya mutabani wa Asaliya, era yali wamu n’abasajja 70;
8 ku baana ba Sefatiya,+ Zebadiya mutabani wa Mikayiri, era yali wamu n’abasajja 80;
9 ku baana ba Yowaabu, Obadiya mutabani wa Yekyeri, era yali wamu n’abasajja 218;
10 ku baana ba Bani, Seromisi mutabani wa Yosifiya, era yali wamu n’abasajja 160;
11 ku baana ba Bebayi,+ Zekkaliya mutabani wa Bebayi, era yali wamu n’abasajja 28;
12 ku baana ba Azugaadi,+ Yokanani mutabani wa Kakkatani, era yali wamu n’abasajja 110;
13 ku baana ba Adonikamu,+ gano ge mannya g’abo abaasembayo okudda: Erifereti, Yeyeri, ne Semaaya, era baali wamu n’abasajja 60;
14 ku baana ba Biguvayi,+ Usayi ne Zabbudi, era baali wamu n’abasajja 70.
15 Nnabakuŋŋaanyiza ku mugga ogugenda e Yakava,+ ne tusiisira awo okumala ennaku ssatu. Naye bwe nneetegereza abantu ne bakabona, saalabamu Muleevi n’omu.
16 Awo ne ntumya abakulu bano: Eriyeza, Aliyeri, Semaaya, Erunasani, Yalibu, Erunasani, Nasani, Zekkaliya, ne Mesulamu, era ne ntumya ne Yoyalibu ne Erunasani, abayigiriza.
17 Ne mbalagira okugenda eri omukulu Iddo, e Kasifiya, era ne mbagamba bagambe Iddo ne baganda be, abaweereza b’oku yeekaalu* abaali e Kasifiya, batuleetere ab’okuweereza mu nnyumba ya Katonda waffe.
18 Olw’okuba omukono gwa Katonda waffe gwatuliko, baatuleetera Serebiya+ omusajja ow’amagezi okuva mu baana ba Makuli+ muzzukulu wa Leevi mutabani wa Isirayiri; yajja ne batabani be ne baganda be. Bonna awamu baali abantu 18;
19 era baatuleetera ne Kasukabiya ng’ali wamu ne Yesukaya okuva mu Bamerali,+ ne baganda be ne batabani baabwe; bonna awamu baali abantu 20.
20 Era waaliwo abaweereza b’oku yeekaalu* 220, Dawudi n’abaami be baawa omulimu gw’okuyamba ku Baleevi, era bonna baamenyebwa amannya.
21 Awo ne nnangirira eyo ku mugga Yakava wabeewo okusiiba, twetoowaze mu maaso ga Katonda waffe, tumusabe atukulembere mu lugendo lwaffe, ffe n’abaana baffe n’ebintu byaffe byonna.
22 Nnawulira nga nswala okusaba kabaka okutuwa abasirikale n’abeebagazi b’embalaasi okutukuuma abalabe baleme okututusaako akabi mu kkubo, kubanga twali tugambye kabaka nti: “Omukono omulungi ogwa Katonda waffe gubeera ku abo bonna abamunoonya,+ naye amaanyi ge n’obusungu bwe abyolekeza abo bonna abamuvaako.”+
23 Kyetwava tusiiba ne tusaba Katonda waffe atuluŋŋamye mu lugendo lwaffe, era yawulira okwegayirira kwaffe.+
24 Awo ne nnonda abakulu ba bakabona 12: Serebiya ne Kasukabiya+ ne baganda baabwe kkumi.
25 Ne mbapimira ffeeza ne zzaabu n’ebintu ebirala, kwe kugamba, ebyo byonna kabaka n’abawabuzi be n’abaami be n’Abayisirayiri bonna bye baawaayo okukozesebwa ku nnyumba ya Katonda waffe.+
26 Bwe ntyo ne mbapimira era ne mbakwasa ttalanta* za ffeeza 650, n’ebintu ebya ffeeza 100 nga bya ttalanta 2, ne ttalanta za zzaabu 100,
27 n’obubakuli obutono obwa zzaabu 20 obugula daliki* 1,000, era n’ebintu ebikozesebwa 2 eby’ekikomo ekirungi, ekimyufu era ekimasamasa, eby’omuwendo ennyo nga zzaabu.
28 Awo ne mbagamba nti: “Muli batukuvu eri Yakuwa+ n’ebintu bitukuvu, era ffeeza oyo ne zzaabu oyo kiweebwayo ekya kyeyagalire eri Yakuwa Katonda wa bajjajjammwe.
29 Mubikuume bulungi okutuusa lwe mulibipimira mu maaso g’abakulu ba bakabona n’Abaleevi n’abakulu b’ennyumba za bakitaabwe ba Isirayiri mu Yerusaalemi+ mu bisenge* eby’ennyumba ya Yakuwa.”
30 Awo bakabona n’Abaleevi ne batwala ffeeza ne zzaabu n’ebintu ebirala ebyabapimirwa, basobole okubireeta e Yerusaalemi mu nnyumba ya Katonda waffe.
31 Ku lunaku olw’ekkumi n’ebbiri olw’omwezi ogusooka+ ne tusitula okuva ku Mugga Yakava+ okugenda e Yerusaalemi, era omukono gwa Katonda waffe gwali naffe, n’atununula mu mukono gw’abalabe n’abateezi mu kkubo.
32 Awo ne tutuuka e Yerusaalemi+ ne tubeerayo ennaku ssatu.
33 Ku lunaku olw’okuna ne tupima ffeeza ne zzaabu n’ebintu ebirala mu nnyumba ya Katonda waffe+ ne tubikwasa Meremoosi+ kabona, mutabani wa Uliya, era yali wamu ne Eriyazaali mutabani wa Fenekaasi, n’Abaleevi bano: Yozabadi+ mutabani wa Yesuwa ne Nowadiya mutabani wa Binnuyi.+
34 Ebintu byonna byabalibwa era ne bipimibwa era obuzito bwabyo bwonna ne buwandiikibwa.
35 Abo abaava mu buwambe, abaali bawaŋŋangusiddwa baawaayo eri Katonda wa Isirayiri ssaddaaka ezookebwa: ente ennume+ 12 ku lwa Isirayiri yonna, endiga ennume+ 96, endiga ento ennume 77, n’embuzi ennume+ 12 ez’ekiweebwayo olw’ekibi; zonna zaaweebwayo eri Yakuwa ng’ekiweebwayo ekyokebwa.+
36 Awo ne tuwa ab’amasaza ne bagavana ab’Emitala w’Omugga*+ ebiragiro bya kabaka,+ era ne bawagira abantu n’ennyumba ya Katonda ow’amazima.+
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “Abanesinimu.” Obut., “abo abaweereddwayo.”
^ Oba, “Abanesinimu.” Obut., “abo abaweereddwayo.”
^ Ttalanta yali yenkana kilo 34.2. Laba Ebyong. B14.
^ Daliki kyali kinusu kya Buperusi ekya zzaabu. Laba Ebyong. B14.
^ Oba, “bisenge ebiriirwamu.”
^ Oba, “w’Omugga Fulaati.”