Ezera 9:1-15
9 Ebyo olwaggwa, abaami ne bantuukirira ne bagamba nti: “Abayisirayiri ne bakabona n’Abaleevi tebeeyawudde ku bantu b’omu bitundu ebitwetoolodde—Abakanani, Abakiiti, Abaperizi, Abayebusi, Abaamoni, Abamowaabu, Abamisiri,+ n’Abaamoli+—era ne ku bintu byabwe eby’omuzizo.+
2 Bawasizza abamu ku bawala baabwe era ne babawasiza ne batabani baabwe;+ era bo, ezzadde ettukuvu,+ beetabudde mu bantu b’omu bitundu ebitwetoolodde.+ Abakulu n’abaami be bawomye omutwe mu butali bwesigwa buno.”
3 Olwawulira ekintu ekyo ne njuza ekyambalo kyange eky’okungulu n’eky’omunda, ne nkuunyuula ezimu ku nviiri zange n’ekirevu kyange, ne ntuula wansi nga nsobeddwa.
4 Era abo bonna abaali bassa ekitiibwa mu bigambo* bya Katonda wa Isirayiri ne bakuŋŋaanira we nnali olw’obutali bwesigwa bw’abo abaakomawo okuva mu buwaŋŋanguse. Nnali ntudde awo nga nsobeddwa okutuusa mu kiseera eky’okuwaayo ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke eky’akawungeezi.+
5 Era mu kiseera eky’okuwaayo ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke eky’akawungeezi,+ oluvannyuma lw’okwetoowaza bwe ntyo, nnayimirira nga ndi mu byambalo byange ebiyulifu, ne nfukamira ku maviivi gange ne ngolola emikono gyange eri Yakuwa Katonda wange.
6 Awo ne ŋŋamba nti: “Ai Katonda wange, mpulira obuswavu okuyimusa amaaso gange gy’oli, Ai Katonda wange, kubanga ebibi byaffe byetuumye ku mitwe gyaffe, era ebyonoono byaffe biyitiridde obungi ne bituuka ne ku ggulu.+
7 Okuva mu biseera bya bajjajjaffe n’okutuusa leero tulina omusango munene,+ era olw’okwonoona kwaffe, twaweebwayo ffe ne bakabaka baffe ne bakabona baffe mu mikono gya bakabaka b’ensi endala, twattibwa n’ekitala,+ twatwalibwa mu buwambe,+ twanyagibwa,+ era twaswazibwa, nga bwe kiri leero.+
8 Kaakano okumala akaseera, Yakuwa Katonda waffe otulaze ekisa n’oleka abamu ku ffe okuwonawo era n’otuwa ekifo ekinywevu mu kifo kyo ekitukuvu,+ oleetere amaaso gaffe okwakaayakana, Ai Katonda waffe, era otuwe ku buweerero mu buddu bwe tulimu.
9 Kubanga wadde nga tuli baddu,+ Katonda waffe totulekeredde mu buddu bwaffe; naye otulaze okwagala okutajjulukuka mu maaso ga bakabaka ba Buperusi,+ tufune obuweerero tusobole okuzimba ennyumba ya Katonda waffe+ n’okuzzaawo ebifo byayo ebyayonoonebwa, era tusobole n’okubeera mu Yuda ne mu Yerusaalemi nga tulinga abeetooloddwa bbugwe ow’amayinja.*
10 “Kaakano tugambe ki, Ai Katonda waffe, oluvannyuma lwa bino? Twaleka ebiragiro byo,
11 bye watuwa ng’oyitira mu baweereza bo bannabbi ng’ogamba nti, ‘Ensi gye mugenda okutwala si nnongoofu olw’obutali bulongoofu bw’abantu baayo, olw’ebintu eby’omuzizo bye bakola. Bagijjuzza obutali bulongoofu okuva gy’etandikira okutuuka gy’ekoma.+
12 N’olwekyo, bawala bammwe temubawanga batabani baabwe okubawasa, ne batabani bammwe temubawasizanga bawala baabwe;+ temubayambanga kubeera mu mirembe oba okuba obulungi,+ musobole okuba ab’amaanyi era mulye ebirungi eby’omu nsi eyo era mugitwale ebeere ya baana bammwe emirembe n’emirembe.’
13 Era oluvannyuma lw’ebyo byonna ebitutuuseeko olw’ebikolwa byaffe ebibi n’olw’okuzza omusango omunene—Ai Katonda waffe totubonerezza olw’ensobi zaffe+ nga bwe kitugwanira, era olese ffe abali wano ne tuwonawo+—
14 kati ate tuddemu okumenya ebiragiro byo tufumbiriganwe n’abantu abakola ebintu bino eby’omuzizo?+ Tootusunguwalire nnyo n’otuzikiririza ddala ne walema kubaawo asigalawo wadde awonawo?
15 Ai Yakuwa Katonda wa Isirayiri, oli mutuukirivu,+ kubanga n’okutuusa leero tukyaliwo ng’abo abasigaddewo. Tuutuno tuli mu maaso go nga tuliko omusango, kubanga olw’omusango gwe tulina tetusobola kuyimirira mu maaso go ng’abo abataliiko musango.”+