Isaaya 10:1-34

  • Omukono gwa Katonda gwa kubonereza Isirayiri (1-4)

  • Bwasuli—Muggo gwa Katonda ogw’obusungu (5-11)

  • Bwasuli eribonerezebwa (12-19)

  • Aba Yakobo abalisigalawo balikomawo (20-27)

  • Katonda alisalira Bwasuli omusango (28-34)

10  Zibasanze abo abateeka amateeka amabi,+Abo buli kiseera abassaawo ebiragiro ebinyigiriza,   Okulemesa ensonga z’omwavu okukolebwako mu bwenkanya,Okulemesa abanaku ab’omu bantu bange okufuna obwenkanya,+Bannamwandu ne babafuula omunyago gwabweEra n’abaana abatalina bakitaabwe* ne babafuula omwandu gwabwe!+   Mulikola mutya ku lunaku lwe mulibonerezebwa,+Okuzikiriza lwe kulijja nga kuva wala?+ Muliddukira eri ani okubayamba,+Era obugagga bwammwe mulibuleka wa?*   Tewaliba kirala okuggyako okusitama n’abasibeOba okugwa n’abattiddwa. Olw’ensonga eyo, akyali musunguwavu,Era akyagolodde omukono gwe okubonereza.+   Laba, Bwasuli+Gwe muggo gwe nkozesa okwoleka obusungu bwange,+Era nkozesa omuggo oguli mu ngalo ze okubonereza!   Ndimusindika eri eggwanga eryewaggula,+Eri abantu abansunguwaza;Ndimulagira okutwala omunyago mungiN’okubalinnyirira ng’ebisooto by’omu nguudo.+   Naye ye talyagala kukola bw’atyo,Era n’omutima gwe tegulirowooza kukola bwe gutyo;Kubanga kiri mu mutima gwe okuzikiriza,Okusaanyaawo amawanga mangi, so si matono.   Kubanga agamba nti,‘Abaami bange bonna si bakabaka?+   Kalino+ tekiri nga Kalukemisi?+ Kamasi+ tekiri nga Alupadi?+ Samaliya+ tekiri nga Ddamasiko?+ 10  Omukono gwange gwawamba obwakabaka obwalina bakatonda abatalina mugaso,Obwalina ebifaananyi ebyole ebingi okusinga ebiri mu Yerusaalemi ne mu Samaliya!+ 11  Siikole Yerusaalemi n’ebifaananyi byeEkyo kye nnakola Samaliya ne bakatonda be abatalina mugaso?’+ 12  “Yakuwa bw’alimaliriza omulimu gwe gwonna ku Lusozi Sayuuni ne mu Yerusaalemi, alibonereza* kabaka wa Bwasuli olw’omutima gwe omunyoomi, n’olw’entunula ye ey’amalala era ey’okwegulumiza.+ 13  Kubanga agamba nti,‘Kino nja kukikola n’amaanyi g’omukono gwangeN’amagezi gange, kubanga ndi mugezi. Nja kujjulula ensalo z’amawanga+Nnyage eby’obugagga byago,+Era abantu baamu nja kubafuga ng’omusajja ow’amaanyi.+ 14  Ng’omuntu akwata mu kisu,Omukono gwange gujja kutwala eby’obugagga by’amawanga;Ng’omuntu akuŋŋaanya amagi agalekeddwawo,Nja kukuŋŋaanya ensi yonna! Tewali n’omu ajja kupapaza biwaawaatiro bye oba okwasamya akamwa ke oba okukaaba ng’ekinyonyi.’” 15  Embazzi eneeguluumiriza ku oyo agitemesa? Omusumeeno guneeguluumiriza ku oyo agusazisa? Oluga lusobola okuwuuba oyo alukwata?+ Oba omuggo gusobola okusitula oyo ataakolebwa mu muti? 16  N’olwekyo Mukama ow’amazima, Yakuwa ow’eggye,Alikozza abasajja ba Bwasuli abanene,+Era wansi w’ekitiibwa kye alikumayo omuliro ne gubumbujja.+ 17  Ekitangaala kya Isirayiri+ kirifuuka muliro,+Era Omutukuvu we alifuuka lulimi lwa muliro;Gulibumbujja ne gwokya omuddo gwe n’ebisaka bye eby’amaggwa ku lunaku lumu. 18  Alimalirawo ddala ekitiibwa ky’ekibira kye n’ennimiro ye ey’ebibala;Kiriba ng’omuntu omulwadde bw’akogga.+ 19  Emiti gy’ekibira kye egirisigalawoGiriba mitono nnyo ne kiba nti n’omwana omuto aliba asobola okugibala n’awandiika omuwendo gwagyo. 20  Ku lunaku olwo Abayisirayiri abaliba basigaddewo,Ab’ennyumba ya Yakobo abaliba bawonyeewo,Tebaliddamu kwesigama ku oyo eyabakuba;+Wabula balyesigama ku Yakuwa,Omutukuvu wa Isirayiri mu bwesigwa. 21  Walisigalawo batono abalikomawo,Aba Yakobo abalisigalawo balikomawo eri Katonda ow’Amaanyi.+ 22  Wadde ng’abantu bo ggwe IsirayiriBangi ng’omusenyu gw’ennyanja,Walisigalawo batono nnyo ku bo era be balikomawo.+ Kyasalibwawo nti abantu bo basaanyizibwewo,+Era obwenkanya bulibabuutikira.*+ 23  Kubanga Mukama Afuga Byonna, Yakuwa ow’eggye, yasalawo okusaanyaawo abantu bo,Era ekyo kijja kukolebwa mu nsi eyo yonna.+ 24  N’olwekyo bw’ati Mukama Afuga Byonna, Yakuwa ow’eggye, bw’agamba: “Mmwe abantu bange ababeera mu Sayuuni, temutya Mwasuli oyo eyabakubanga n’omuggo+ era eyabagaluliranga oluga lwe nga Misiri bwe yakolanga.+ 25  Kubanga mu kiseera kitono ekiruyi kirikoma; ndiboolekeza obusungu bwange ne mbazikiriza.+ 26  Yakuwa ow’eggye alimugalulira omuggo nga bwe yakola+ lwe yawangula Midiyaani ku lwazi Olebu.+ Oluga lwe luliba ku nnyanja era alirugalula nga bwe yakola ku Misiri.+ 27  Ku lunaku olwo omugugu gwe guliva ku kibegaabega kyo,+Era n’ekikoligo kye kiriva ku nsingo yo,+Era kirimenyeka+ olw’amafuta.” 28  Atuuse mu Ayasi;+Ayise mu Miguloni;Omugugu gwe aguterese e Mikumasi.+ 29  Bayise ku musomoko;Basuze Geba;+Laama kikankana, abantu b’omu Gibeya+ ekya Sawulo badduse.+ 30  Yogerera waggulu era leekaana, ggwe muwala wa Galimu! Ssaayo omwoyo ggwe Layisa! Ssaayo omwoyo ggwe Anasosi!+ 31  Madumena adduse. Abantu b’omu Gebimu banoonyezza obuddukiro. 32  Ku lunaku olwo aliyimirira e Nobu.+ Afunyiriza olusozi lwa muwala wa Sayuuni ebikonde,Abifunyirizza akasozi ka Yerusaalemi. 33  Laba! Mukama ow’amazima, Yakuwa ow’eggye,Atema amatabi ne gekkata wansi;+Emiti egisinga obuwanvu gitemebwa,N’emigulumivu gisuulibwa wansi. 34  Atema ebisaka eby’omu kibira ng’akozesa ekyuma ekitema,*Era ow’amaanyi alisuula Lebanooni.

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “ne bamulekwa.”
Oba, “Era ekitiibwa kyammwe mulikireka wa?”
Obut., “ndibonereza.”
Oba, “ekibonerezo kiribabuutikira.”
Oba, “embazzi.”