Isaaya 12:1-6
12 Ku lunaku olwo oligamba nti:
“Nkwebaza Ai Yakuwa,Kubanga wadde nga wali onsunguwalidde,Obusungu bwo bwakkakkana mpolampola n’ombudaabuda.+
2 Laba! Katonda bwe bulokozi bwange.+
Nnaamwesiganga ne sitya;+Kubanga Ya* Yakuwa ge maanyi gange era bwe bukuumi bwange,Era afuuse obulokozi bwange.”+
3 Mulisena amazziMu nzizi ez’obulokozi nga mujaganya.+
4 Era ku lunaku olwo muligamba nti:
“Mwebaze Yakuwa, mukoowoole erinnya lye,Mumanyise ebikolwa bye mu mawanga!+
Mulangirire nti erinnya lye ligulumiziddwa.+
5 Muyimbe ennyimba ezitendereza Yakuwa,+ kubanga akoze ebintu eby’ekitalo.+
Kino ka kimanyisibwe mu nsi yonna.
6 Yogerera waggulu era leekaana olw’essanyu ggwe abeera* mu Sayuuni,Kubanga Omutukuvu wa Isirayiri ali wakati mu ggwe mukulu.”
Obugambo Obuli Wansi
^ “Ya” lye linnya Yakuwa nga lisaliddwako.
^ Obut., “ggwe omukazi abeera.” Omukazi ono akiikirira abantu ababeera mu Sayuuni.