Isaaya 15:1-9
-
Obubaka eri Mowaabu (1-9)
15 Obubaka obukwata ku Mowaabu:+
Olw’okuba kizikiriziddwa mu kiro kimu,Ali+ ekya Mowaabu kisirisiddwa.
Olw’okuba kizikiriziddwa mu kiro kimu,Kiri+ ekya Mowaabu kisirisiddwa.
2 Agenze ku Nnyumba* ya bakatonda n’e Diboni,+Ku bifo ebigulumivu okukaaba.
Mowaabu akaabira Nebo+ ne Medeba.+
Emitwe gyonna gimwereddwako enviiri,+ ebirevu byonna bisaliddwa.+
3 Bambadde ebibukutu mu nguudo zaakyo.
Bonna bakubira ebiwoobe waggulu ku nnyumba zaabwe ne mu bibangirizi byabwe ebya lukale;Bakkirira nga bakaaba.+
4 Kesuboni ne Ereyale+ bireekaana;Eddoboozi lyabyo liwulirwa n’e Yakazi.+
Eyo ye nsonga lwaki abalwanyi ba Mowaabu baleekaana.
Akankana.
5 Omutima gwange gukaabira Mowaabu.
Abantu be abanoonya obubudamu badduse ne batuuka e Zowaali+ n’e Egulasu-serisiya.+
Bakaaba nga balinnyalinnya awambukirwa e Lukisi;Nga bali mu kkubo erigenda e Kolonayimu, bakaaba olw’akabi akaguddewo.+
6 Kubanga amazzi ga Nimulimu gakalidde;Omuddo gukaze,Omuddo guweddewo era tewali kintu kya kiragala kisigaddewo.
7 Eyo ye nsonga lwaki batwala ebisigaddewo mu materekero gaabwe era n’eby’obugagga byabwe;Bayita mu kiwonvu ky’emiti emyalava.
8 Okukaaba kuwulirwa mu bitundu bya Mowaabu byonna.+
Ebiwoobe bituuse mu Egirayimu;Ebiwoobe bituuse e Beeru-erimu.
9 Kubanga amazzi ga Dimoni gajjudde omusaayi,Era nkyalina ebirala bye ŋŋenda okuleeta ku Dimoni:
Empologoma eri abantu ba Mowaabu abanaaba bawonyeewoEri abo abanaaba basigaddewo mu nsi eyo.+
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “Yeekaalu.”