Isaaya 16:1-14
-
Obubaka obulala eri Mowaabu (1-14)
16 Muweereze omufuzi w’ensi endiga ennume,Okuva e Seera okuyita mu ddunguOkutuuka ku lusozi lwa muwala wa Sayuuni.
2 Ng’ekinyonyi ekigobeddwa mu kisu kyakyo bwe kiba,+Ne bawala ba Mowaabu bwe batyo bwe baliba ku misomoko gya Alunoni.+
3 “Muwe amagezi, mukole ekyo ekisaliddwawo.
Ekisiikirize kyammwe eky’omu ttuntu mukifuule ng’obudde obw’ekiro.
Mukweke abasaasaanye era abo abadduka temubawaayo.
4 Abantu bange abasaasaanye ka babeere mu ggwe, ggwe Mowaabu.
Beera gye bali ekifo eky’okwekwekamu olw’oyo azikiriza.+
Oyo anyigiriza abalala alituuka ku nkomerero ye,Okuzikiriza kulikoma,Abo abalinnyirira abalala baliggwaawo mu nsi.
5 Olwo entebe y’obwakabaka erinywezebwa mu kwagala okutajjulukuka.
Oyo agituulako mu weema ya Dawudi aliba mwesigwa;+Aliramula mu bwenkanya era alikola eby’obutuukirivu mu bwangu.”+
6 Tuwulidde ku malala ga Mowaabu—alina amalala mangi nnyo+—Okwekulumbaza kwe n’amalala ge n’ekiruyi kye;+Naye ebigambo bye ebitaliimu nsa tebirituukirira.
7 Mowaabu kyaliva akaabira Mowaabu;Bonna balikaaba.+
Abo abakubiddwa balitolotooma olw’ebitole by’ezzabbibu enkalu ez’e Kiri-kalesesi.+
8 Ennimiro z’emizabbibu ez’e Kesuboni+ zikaze,Omuzabbibu gw’e Sibima,+Abafuzi b’amawanga balinnyiridde amatabi gaagwo amamyufu;*
Gaali gatuuse e Yazeri;+Gaali gatuuse mu ddungu.
Emitunsi gyagwo gyalanda ne gituuka ku nnyanja.
9 Eyo ye nsonga lwaki ndikaabira omuzabbibu gw’e Sibima nga bwe nkaabira Yazeri.
Ndikutotobaza n’amaziga gange ggwe Kesuboni naawe Ereyale,+Kubanga okuleekaana kwe baleekaana olw’ebibala byo eby’omu kiseera eky’omusana n’olw’amakungula go kukomye.*
10 Okusanyuka n’okujaganya biggiddwa mu nnimiro y’emiti egy’ebibala,Mu nnimiro z’emizabbibu temukyali nnyimba za ssanyu wadde okuleekaana.+
Omusogozi takyasogola nvinnyo mu masogolero,Kubanga nkomezza okuleekaana.+
11 Eyo ye nsonga lwaki munda munkankana olwa Mowaabu,+Ng’enkoba z’entongooli esunibwa,Era ebyenda byange bijugumira olwa Kiri-kalesesi.+
12 Mowaabu ne bw’ateganira ennyo ku kifo ekigulumivu era n’asabira mu kifo kye ekitukuvu, atawaanira bwereere.+
13 Ekyo kye kigambo Yakuwa kye yayogera edda ku Mowaabu.
14 Kaakano Yakuwa agamba nti: “Mu myaka esatu, ng’emyaka gy’omukozi akolera empeera bwe giba,* ekitiibwa kya Mowaabu kirinyoomebwa wakati mu kuyoogaana okwa buli ngeri, era abo abalisigalawo baliba batono nnyo era nga tebalina mugaso.”+
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “amatabi gaagwo agajjudde ezzabbibu erimyufu.”
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “Kubanga okulaya enduulu z’olutalo kusse ku bibala byo eby’omu kiseera ky’omusana ne ku makungula go.”
^ Oba, “egibaliddwa n’obwegendereza ng’omukozi akolera empeera bw’akola”; kwe kugamba, mu myaka esatu gyennyini.