Isaaya 17:1-14
17 Obubaka obukwata ku Ddamasiko:+
“Laba! Ddamasiko kirirekera awo okuba ekibuga,Era kirifuuka ntuumu ya bifunfugu.+
2 Ebibuga bya Aloweri+ birirekebwawo;Birifuuka bifo ebisibo mwe binaagalamirangaNga tewali abitiisa.
3 Ebibuga ebiriko bbugwe biriggwa mu Efulayimu,+N’obwakabaka buliggwaawo mu Ddamasiko;+Era ab’omu Busuuli abalisigalawoBaliba ng’ekitiibwa ky’Abayisirayiri,”* Yakuwa ow’eggye bw’agamba.
4 “Ku lunaku olwo ekitiibwa kya Yakobo kirikendeera,Era omubiri* gwe omulamu obulungi gulikogga.
5 Kiriba ng’omuntu bw’akungula emmere ey’empeke mu nnimiroOmukono gwe ne gunoga ebirimba by’emmere ey’empeke,Ng’omuntu bw’alonderera emmere ey’empeke mu Kiwonvu ky’Abaleefa.+
6 Walisigalawo ebibala bitono mu nnimiro,Ng’omuti gw’omuzeyituuni bwe guba nga gukubiddwa:
Gusigalako ezzeyituuni ezengedde bbiri oba ssatu zokka ku ttabi erisingayo okuba waggulu,Ezzeyituuni nnya oba ttaano zokka ku matabi gaagwo agabala ebibala,”+ Yakuwa Katonda wa Isirayiri bw’agamba.
7 Ku lunaku olwo omuntu alitunuulira Omutonzi we, era amaaso ge galyekaliriza Omutukuvu wa Isirayiri.
8 Talitunuulira byoto,+ omulimu gw’emikono gye;+ era talyekaliriza ebyo engalo ze bye zaakola, ka bibe ebikondo ebisinzibwa* oba ebyoterezo by’obubaani.
9 Ku lunaku olwo ebibuga bye ebiriko bbugwe birifuuka ng’ekifo ekyalekebwawo mu kibira,+Ng’ettabi eryalekebwawo mu maaso g’Abayisirayiri;Birifuuka matongo.
10 Kubanga weerabidde Katonda+ ow’obulokozi bwo;Tojjukidde Lwazi,+ ekigo kyo.
Eyo ye nsonga lwaki osimba emisiri egirabika obulungiN’ogisimbamu endokwa z’oyo gw’otomanyi.*
11 Emisana ossa olukomera ku musiri gwo,Ku makya omeza ensigo zo,Naye amakungula galiggwaawo ku lunaku olw’obulwadde era olw’obulumi obutasalako.+
12 Wulira! Waliwo oluyoogaano lw’abantu abangi,Abafuukuuse ng’ennyanja!
Waliwo okuwowoggana kw’amawanga,Okulinga okuyira kw’amazzi amangi ennyo!
13 Amawanga galiwuluguma ng’okuwuluguma kw’amazzi amangi.
Aligaboggolera, era galiddukira wala,Ne gafuumuulibwa ng’ebisusunku ebifuumuulibwa empewo ku nsozi,Ng’amatovu agafuumuulibwa embuyaga.
14 Akawungeezi wabaawo entiisa.
Ng’obudde tebunnakya, baggwaawo.
Ogwo gwe mugabo gw’abo abatubbaEra gwe mugabo gw’abo abatunyaga.
Obugambo Obuli Wansi
^ Obut., “abaana ba Isirayiri.”
^ Obut., “amasavu g’omubiri.”
^ Oba, “eza katonda omulala.”