Isaaya 18:1-7
-
Obubaka eri Esiyopiya (1-7)
18 Zisanze ensi erimu ebiwuka ebirina ebiwaawaatiro ebivuumaEri mu kitundu ky’emigga gya Esiyopiya!+
2 Etuma ababaka okuyita ku nnyanja,Bayite ku mazzi nga bali mu maato ag’ebitoogo, ng’egamba nti:
“Mugende mmwe ababaka abadduka ennyo,Eri eggwanga ery’abantu abawanvu era abalina ensusu empeweevu,*Eri abantu abatiibwa buli wamu,+Eri eggwanga ery’amaanyi era eriwanguzi,Eririna ensi ekuluggusibwa emigga.”
3 Mmwe mmwenna abantu b’omu nsi eyo nammwe ababeera ku nsi,Kye mulaba kiriba ng’akabonero* akawanikiddwa ku nsozi,Era muliwulira eddoboozi eriringa ery’eŋŋombe efuuyibwa.
4 Bw’ati Yakuwa bwe yaŋŋamba:
“Ndisirika ne ntunuulira ekifo kyange,*Okufaananako ebbugumu ery’akasana,Okufaananako omusulo ogugwa mu bbugumu ery’amakungula.
5 Ng’amakungula tegannatandika,Ng’okumulisa kuwedde era ng’ebimuli bifuuse ezzabbibu ennyengevu,Amatabi galisalwako n’ebiwabyoEra amatabi agalanda galitemebwa ne gaggibwako.
6 Gonna galirekerwa ebinyonyi by’omu nsozi ebirya ennyamaN’ensolo ez’omu nsi.
Ebinyonyi ebirya ennyama birimalako ekiseera eky’omusana nga biri okwo,N’ensolo zonna ez’omu nsi zirimalako ekiseera eky’amakungula nga ziri okwo.
7 Mu kiseera ekyo ekirabo kirireetebwa eri Yakuwa ow’eggye,Okuva eri eggwanga ery’abantu abawanvu era abalina ensusu empeweevu,*Okuva eri abantu abatiibwa buli wamu,Okuva eri eggwanga ery’amaanyi era eriwanguzi,Eririna ensi ekuluggusibwa emigga;Kirireetebwa mu kifo ekiyitibwa erinnya lya Yakuwa ow’eggye, Olusozi Sayuuni.”+
Obugambo Obuli Wansi
^ Obut., “eggwanga eryawanvuyizibwa era eryakuutibwa.”
^ Oba, “ng’ekikondo.”
^ Oba, “ne ntunula nga nnyima mu kifo kyange.”
^ Obut., “eggwanga eryawanvuyizibwa era eryakuutibwa.”