Isaaya 19:1-25
19 Obubaka obukwata ku Misiri:+
Laba! Yakuwa yeebagadde ekire ekidduka ennyo era agenda Misiri.
Bakatonda ba Misiri abatalina mugaso balikankanira mu maaso ge,+N’omutima gwa Misiri gulisaanuuka.
2 “Ndireetera Abamisiri okwefuulira Bamisiri bannaabwe,Era buli omu alirwana ne munne,Buli muntu alirwana ne muganda we era ne muliraanwa we,Ekibuga kirirwana n’ekibuga, n’obwakabaka bulirwana n’obwakabaka.
3 Abamisiri balisoberwa nnyo,Era nditabulatabula enteekateeka zaabwe.+
Balyebuuza ku bakatonda abatalina mugaso,Ku balogo ne ku balaguzi ne ku bafumu.+
4 Ndiwaayo Misiri eri omwami omuzibu,Era kabaka ow’ettima alibafuga,”+ Mukama ow’amazima, Yakuwa ow’eggye bw’agamba.
5 Amazzi g’ennyanja galikalira,N’omugga gulikala era guliggweeramu ddala amazzi.+
6 Era emigga giriwunya ekivundu;Amazzi g’obugga bw’e Misiri obuva ku Kiyira galikendeera era galikalira.
Ebisaalu n’omuddo omuwanvu birivunda.+
7 Ebimera ebiri ku lubalama lw’Omugga Kiyira, ku mumwa gwa Kiyira,N’ebitundu byonna ebisigibwamu ensigo ku lubalama lwa Kiyira+ birikala.+
Birikunsibwa embuyaga ne biviirawo ddala.
8 Abavubi balikaaba,Abo abasuula amalobo gaabwe mu Mugga Kiyira balikuba ebiwoobe,N’abo abasuula obutimba bwabwe ku mazzi balinafuwa.
9 Abo abakola engoye okuva mu bigoogwa* ebisunsule,+N’abo abalukira engoye enjeru ku muti ogulukirwako baliswala.
10 Abalusi baayo balinyolwa;Abakozi bonna abakolera empeera balinakuwala nnyo.
11 Abaami ba Zowani+ basirusiru.
Abawi b’amagezi aba Falaawo abasingayo okuba abagezi bawa magezi ga busirusiru.+
Muyinza mutya okugamba Falaawo nti:
“Ndi muzzukulu w’ab’amagezi,Muzzukulu wa bakabaka ab’edda”?
12 Kale abasajja bo abagezigezi bali ludda wa?+
Bwe baba nga bamanyi, ka bakubuulire Yakuwa ow’eggye ky’asazeewo okukolera Misiri.
13 Abaami ba Zowani bakoze eby’obusirusiru;Abaami ba Noofu*+ balimbiddwalimbiddwa;Abakulu b’ebika bye bawabizza Misiri.
14 Yakuwa agifuseeko omwoyo ogw’okutabulwatabulwa;+Era bawabizza Misiri mu byonna by’ekola,Eringa omutamiivu atagalira mu bisesemye bye.
15 Misiri teriba na mulimu gwonna gwa kukola,Ka gube gwa mutwe oba gwa mukira, gwa mutunsi oba gwa muddo omuwanvu.
16 Ku lunaku olwo Misiri erifuuka ng’abakazi, erikankana era n’etya olw’omukono ogw’entiisa Yakuwa ow’eggye gw’aligigololera.+
17 Era ensi ya Yuda eriba ya ntiisa eri Misiri. Balitya nnyo nga bawulidde agyogerako, olw’ekyo Yakuwa ow’eggye ky’asazeewo okubakola.+
18 Ku lunaku olwo walibaawo ebibuga bitaano mu nsi ya Misiri ebyogera olulimi lw’omu Kanani*+ era ebirayira okubeera ebyesigwa eri Yakuwa ow’eggye. Ekibuga ekimu kiriyitibwa Ekibuga eky’Okumenyaamenya.
19 Ku lunaku olwo walibaawo ekyoto ekiriba kiweereddwayo eri Yakuwa wakati mu nsi ya Misiri, ne ku nsalo yaayo walibaayo empagi eriba eweereddwayo eri Yakuwa.
20 Biriba kabonero era bujulizi eri Yakuwa ow’eggye mu nsi ya Misiri; kubanga balikaabirira Yakuwa olw’abo ababanyigiriza, era alibasindikira omulokozi omukulu alibanunula.
21 Yakuwa alimanyibwa Abamisiri, era Abamisiri balimanya Yakuwa ku lunaku olwo; baliwaayo ssaddaaka n’ebirabo era balyeyama eri Yakuwa ne batuukiriza obweyamo obwo.
22 Yakuwa alikuba Misiri,+ aligikuba ate n’agiwonya; balidda eri Yakuwa, era aliwulira okwegayirira kwabwe n’abawonya.
23 Ku lunaku olwo walibaawo oluguudo olunene+ oluva e Misiri nga lugenda e Bwasuli. Abaasuli baligenda e Misiri n’Abamisiri baligenda e Bwasuli, era Abamisiri baliweereza Katonda nga bali wamu n’Abaasuli.
24 Ku lunaku olwo Isirayiri eryegatta ku Misiri ne ku Bwasuli,+ era eribeera mukisa wakati mu nsi,
25 kubanga Yakuwa ow’eggye aliba abawadde omukisa ng’agamba nti: “Baweebwe omukisa abantu bange, Misiri, n’omulimu gw’emikono gyange, Bwasuli, n’obusika bwange, Isirayiri.”+
Obugambo Obuli Wansi
^ Ekimera ekibadde kirimwa okuviira ddala mu biseera eby’edda. Baakikolangamu engoye za kitaani.
^ Oba, “Menfisi.”
^ Kwe kugamba, olulimi Olwebbulaniya.