Isaaya 23:1-18

  • Obubaka obukwata ku Ttuulo (1-18)

23  Obubaka obukwata ku Ttuulo:+ Mukube ebiwoobe, mmwe ebyombo by’e Talusiisi!+ Kubanga omwalo gusaanyiziddwawo; tekikyasoboka kuguyingira. Kino kibabikkuliddwa okuva mu nsi ya Kittimu.+   Musirike mmwe ababeera ku lubalama lw’ennyanja. Abasuubuzi b’e Sidoni+ abasomoka ennyanja babajjuzza.   Ku mazzi amangi kwayitako emmere ey’empeke* ey’e Sikoli,*+Ebikungulwa ebya Kiyira, omusolo gwe,Ne bireeta amagoba g’amawanga.+   Kwatibwa ensonyi ggwe Sidoni, ggwe ekigo ky’ennyanja,Kubanga ennyanja egambye nti: “Sirumwanga ku bisa, era sizaalangako,Wadde okukuza abaana ab’obulenzi oba ab’obuwala.”*+   Nga bwe kyali nga bawulidde ebikwata ku Misiri,+Abantu balinyolwa nnyo bwe baliwulira ebikwata ku Ttuulo.+   Musomoke mugende e Talusiisi! Mukube ebiwoobe mmwe ababeera ku lubalama lw’ennyanja!   Kino kye kibuga kyammwe ekyalimu okujaganya okuva edda ennyo, okuva mu biseera byakyo ebyasooka? Ebigere byakyo byakitwalanga mu nsi ez’ewala kibeere eyo.   Ani asazeewo kino kituuke ku Ttuulo,Ekyatikkiranga abalala engule,Ekyalina abasuubuzi abaali abaami,Ekyalina abasuubuzi abaali bassibwamu ekitiibwa mu nsi yonna?+   Ekyo Yakuwa ow’eggye y’akisazeewo,Amalewo amalala ge kirina olw’obulungi bwakyo,Afeebye abo bonna abaali bassibwamu ekitiibwa mu nsi yonna.+ 10  Ggwe muwala wa Talusiisi, yanjaala mu nsi yo ng’Omugga Kiyira. Tewakyali kifo na kimu we bakolera maato.+ 11  Agolodde omukono gwe ku nnyanja;Akankanyizza obwakabaka. Yakuwa alagidde ebigo bya Foyiniikiya bizikirizibwe.+ 12  Agamba nti: “Toliddamu kujaganya,+Ggwe anyigirizibwa, ggwe muwala wa Sidoni embeerera. Situka ogende e Kittimu.+ Naye n’eyo tolifunirayo kiwummulo.” 13  Laba! Ensi y’Abakaludaaya.+ Ab’eggwanga lino—so si Bwasuli+Baakifuula kifo kya nsolo ezibeera mu ddungu. Baazimba eminaala egisinziirwako okukirwanyisa;Baamenya embiri zaakyo,+Baakifuula bifunfugu. 14  Mukube ebiwoobe mmwe ebyombo by’e Talusiisi,Kubanga ebigo byammwe bisaanyiziddwawo.+ 15  Ku lunaku olwo Ttuulo kiryerabirwa okumala emyaka 70,+ ng’emyaka* kabaka gy’awangaala bwe giba. Emyaka 70 bwe giriggwaako, Ttuulo kiriba nga malaaya ayogerwako mu luyimba luno: 16  “Kwata entongooli weetooloole ekibuga, ggwe malaaya eyeerabirwa. Suna bulungi entongooli yo;Yimba ennyimba nnyingiBasobole okukujjukira.” 17  Emyaka 70 bwe giriggwaako, Yakuwa aliddamu okulowooza ku Ttuulo, era kiriddamu okufuna empeera; kiriddamu okwenda n’obwakabaka bwonna obw’omu nsi. 18  Naye amagoba gaakyo n’empeera yaakyo birifuuka bitukuvu eri Yakuwa. Tebiriterekebwa so tebiriteekebwa ku bbali, kubanga empeera yaakyo eriba yaabo ababeera mu maaso ga Yakuwa, basobole okulya bakkute era bambale engoye ennungi.+

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “ensigo.”
Kwe kugamba, akagga akava ku Mugga Kiyira.
Obut., “embeerera.”
Obut., “ng’ennaku.”