Isaaya 35:1-10
35 Olukoola n’ensi enkalu birijaganya,+N’eddungu lirisanyuka era lirimulisa ng’amalanga.+
2 Teririrema kumulisa;+Lirisanyuka era lirireekaana olw’essanyu.
Liriweebwa ekitiibwa kya Lebanooni,+Liriweebwa obulungi bwa Kalumeeri+ ne Saloni.+
Baliraba ekitiibwa kya Yakuwa; baliraba obulungi bwa Katonda waffe.
3 Munyweze emikono eminafu,Mugumye amaviivi agakankana.+
4 Mugambe abo abeeraliikirivu mu mutima nti:
“Mugume. Temutya.
Laba! Katonda wammwe alijja okuwoolera eggwanga,Katonda alijja okwesasuza.+
Alijja n’abalokola.”+
5 Mu kiseera ekyo amaaso ga bamuzibe galizibuka,+N’amatu ga bakiggala galiwulira.+
6 Mu kiseera ekyo omulema alibuuka ng’empeewo,+N’olulimi lw’oyo atasobola kwogera lulireekaana olw’essanyu.+
Kubanga amazzi galifukumuka mu lukoola,N’emigga mu ddungu.
7 Ettaka ekkalu lirifuuka kidiba kya mazzi,Era ettaka erirakaasidde lirifuuka ensulo z’amazzi.+
Mu bifo ebibe gye byabeeranga,+Walibaayo omuddo n’ebisaalu n’ebitoogo.
8 Eribaayo oluguudo olunene,+Era luliyitibwa Ekkubo ery’Obutukuvu.
Atali mulongoofu taliritambuliramu.+
Oyo yekka atambulira mu kkubo y’aliritambuliramu;Tewali musirusiru aliritambuliramu.
9 Teriribaamu mpologoma,Era n’ensolo enkambwe teziririyitamu.
Teziriribeeramu;+Abo bokka abaliba banunuddwa be baliriyitamu.+
10 Abo Yakuwa b’aliba anunudde balikomawo+ ne bajja mu Sayuuni nga boogerera waggulu n’essanyu.+
Essanyu ery’olubeerera liribeera ku mitwe gyabwe ng’engule.+
Balisanyuka era balijaganya,Era okunakuwala n’okusinda biriggwaawo.+