Isaaya 37:1-38
37 Kabaka Keezeekiya olwawulira ebyo, n’ayuza ebyambalo bye n’ayambala ebibukutu, n’agenda mu nnyumba ya Yakuwa.+
2 Awo n’atuma Eriyakimu eyalabiriranga ennyumba ya* kabaka, ne Sebuna omuwandiisi, n’abakulu ba bakabona, eri nnabbi Isaaya+ mutabani wa Amozi, ne bagenda nga bambadde ebibukutu.
3 Ne bamugamba nti: “Bw’ati Keezeekiya bw’agamba: ‘Olunaku luno lunaku lwa buyinike, lunaku lwa kunenyezebwa* na kuswala; tulinga omukazi atuusizza okuzaala, kyokka nga talina maanyi ga kusindika mwana.+
4 Oboolyawo Yakuwa Katonda wo anaawulira ebigambo bya Labusake, eyatumibwa mukama we kabaka wa Bwasuli okuvuma Katonda omulamu,+ era oboolyawo Yakuwa Katonda wo anaamubonereza olw’ebigambo by’awulidde. Kale sabira+ abo abasigaddewo.’”+
5 Awo abaweereza ba Kabaka Keezeekiya ne bagenda eri Isaaya,+
6 Isaaya n’abagamba nti: “Mugambe mukama wammwe nti, ‘Bw’ati Yakuwa bw’agamba: “Totya+ olw’ebigambo by’owulidde, abaweereza ba kabaka wa Bwasuli+ bye boogedde nga banzivoola.
7 Ŋŋenda kuteeka ekirowoozo mu mutima gwe,* era ajja kubaako amawulire g’awulira addeyo mu nsi ye;+ era nja kumuleetera okuttibwa n’ekitala mu nsi ye.”’”+
8 Labusake bwe yawulira nti kabaka wa Bwasuli avudde e Lakisi, n’addayo gy’ali n’amusanga ng’alwanyisa Libuna.+
9 Awo kabaka wa Bwasuli n’awulira nga bagamba nti Kabaka Tiraka owa Esiyopiya yali azze okumulwanyisa. Ekyo bwe yakiwulira, n’addamu n’atuma ababaka eri Keezeekiya,+ n’agamba nti:
10 “Mugambe Kabaka Keezeekiya owa Yuda nti, ‘Katonda wo gwe weesiga takulimba ng’akugamba nti: “Yerusaalemi tekijja kuweebwayo mu mukono gwa kabaka wa Bwasuli.”+
11 Wawulira ekyo bakabaka ba Bwasuli kye baakola ensi zonna bwe baazizikiriza.+ Kati olwo ggwe wekka anaawonawo?
12 Bakatonda b’amawanga bajjajjange ge baazikiriza baasobola okuganunula?+ Gozani ne Kalani+ ne Lezefu biri ludda wa? Abantu b’omu Edeni abaali mu Teru-Sali bali ludda wa?
13 Kabaka wa Kamasi, n’owa Alupadi, n’ow’ekibuga Sefavayimu,+ n’ow’ekibuga Kena, n’ow’ekibuga Yiva, bali ludda wa?’”
14 Awo Keezeekiya n’aggya ebbaluwa ku babaka n’azisoma, oluvannyuma n’agenda mu nnyumba ya Yakuwa, n’azanjuluza* mu maaso ga Yakuwa.+
15 Keezeekiya n’asaba Yakuwa+ ng’agamba nti:
16 “Ai Yakuwa ow’eggye,+ Katonda wa Isirayiri, atuula waggulu* wa bakerubi, ggwe wekka ggwe Katonda ow’amazima ow’obwakabaka bwonna obw’omu nsi. Ggwe wakola eggulu n’ensi.
17 Ai Yakuwa, tega okutu kwo owulire!+ Ai Yakuwa, zibula amaaso go olabe!+ Wulira ebigambo byonna ebiri mu bubaka Sennakeribu bw’aweerezza okuvuma Katonda omulamu.+
18 Ai Yakuwa, kyo kituufu nti bakabaka ba Bwasuli baafaafaaganya ensi zonna+ era n’ensi yaabwe.
19 Baasuula bakatonda b’amawanga ago mu muliro,+ olw’okuba tebaali bakatonda ba ddala, wabula miti na mayinja, omulimu gw’emikono gy’abantu.+ Eyo ye nsonga lwaki baasobola okubazikiriza.
20 Naye kaakano Ai Yakuwa Katonda waffe, tununule mu mukono gwe, obwakabaka bwonna mu nsi bulyoke bumanye nti ggwe, Ai Yakuwa, ggwe Katonda wekka.”+
21 Awo Isaaya mutabani wa Amozi n’aweereza Keezeekiya obubaka obugamba nti: “Bw’ati Yakuwa Katonda wa Isirayiri bw’agamba, ‘Olw’okuba onsabye ku bikwata ku Kabaka Sennakeribu owa Bwasuli,+
22 bino bye bigambo Yakuwa by’ayogedde ku ye:
“Muwala wa Sayuuni embeerera akunyooma, akusekerera.
Muwala wa Yerusaalemi akunyeenyeza omutwe.
23 Ani gw’ovumye+ era gw’ovvodde?
Ani gw’oleekaanidde+Era gw’oyimusirizza amaaso go ag’amalala?
Obikoze Mutukuvu wa Isirayiri!+
24 Oyise mu baweereza bo n’ovuma Yakuwa+ ng’ogamba nti,‘Nga nkozesa amagaali gange amangi ag’olutaloNja kwambuka ensozi ezisingayo obuwanvu,+Mu bitundu bya Lebanooni ebisingayo okuba ewala.
Nja kutema emiti gyayo egy’entolokyo emiwanvu n’emiti gy’emiberosi egisinga obulungi.
Nja kugenda mu bifo byayo ebisirifu ebisingayo okuba waggulu, ebibira byayo ebisingayo okuba ebiziyivu.
25 Nja kusima enzizi nnywe amazzi;Nja kukaliza emigga* gy’e Misiri n’ebigere byange.’
26 Towuliranga? Kyasalibwawo* kuva dda.
Nnakiteekateeka* okuva mu biseera ebyayita.+
Kaakano nja kukituukiriza.+
Ebibuga ebiriko bbugwe ojja kubifuula ntuumu za bifunfugu.+
27 Ababibeeramu bajja kuggwaamu amaanyi;Bajja kutya era bajja kuswazibwa.
Bajja kuba ng’ebimera eby’oku ttale, era ng’omuddo,Bajja kuba ng’essubi ery’oku nnyumba erikaze olw’empewo ey’ebuvanjuba.
28 Naye mmanyi bulungi ddi lw’otuula, lw’ofuluma, ne lw’oyingira,+Era ne lw’oba ng’onsunguwalidde,+
29 Kubanga obusungu bw’olina gye ndi+ n’okuwuluguma kwo bituuse mu matu gange.+
N’olwekyo nja kuteeka eddobo lyange mu nnyindo zo n’olukoba lwange+ mu kamwa ko,Era nja kukuddizaayo mu kkubo lye wajjiramu.”
30 “‘Kano ke kanaaba akabonero gy’oli:* Mu mwaka guno, mujja kulya ebyo ebyemeza byokka;* ate mu mwaka ogw’okubiri mujja kulya emmere ey’empeke eneemera okuva mu ebyo; naye mu mwaka ogw’okusatu mujja kusiga ensigo era mukungule, era mujja kusimba ennimiro z’emizabbibu mulye ebibala byamu.+
31 Ab’ennyumba ya Yuda abanaawonawo, kwe kugamba, abo abanaasigalawo,+ bajja kusimba emirandira mu ttaka babale ebibala waggulu.
32 Abo abanaaba basigaddewo bajja kuva mu Yerusaalemi, n’abo abanaaba bawonyeewo bajja kuva ku Lusozi Sayuuni.+ Obunyiikivu bwa Yakuwa ow’eggye bulikituukiriza.+
33 “‘Kale bw’ati Yakuwa bw’ayogera ku kabaka wa Bwasuli:+
“Tajja kuyingira mu kibuga kino,+Wadde okulasaamu akasaale,Wadde okukirumba n’engabo,Wadde okukola ekifunvu eky’okuyimako okukirwanyisa.”’+
34 ‘Ajja kuddirayo mu kkubo lye yajjiramu;Era tajja kuyingira mu kibuga kino,’ Yakuwa bw’agamba.
35 ‘Nja kulwanirira ekibuga kino+ nkinunule ku lw’erinnya lyange,+Era ne ku lwa Dawudi omuweereza wange.’”+
36 Awo malayika wa Yakuwa n’agenda mu lusiisira lw’Abaasuli n’atta abasajja 185,000. Abantu bwe baazuukuka ku makya, ne balaba emirambo gyabwe gyonna.+
37 Awo Kabaka Sennakeribu owa Bwasuli n’avaayo, n’addayo e Nineeve,+ n’abeera eyo.+
38 Lumu bwe yali avunnamye mu nnyumba* ya katonda we Nisuloki, batabani be bennyini, Adulammereki ne Salezeeri ne bamutta n’ekitala,+ ne baddukira mu kitundu ky’e Alalati.+ Mutabani we Esalu-kaddoni+ n’amusikira ku bwakabaka.
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “olubiri lwa.”
^ Oba, “kuvumibwa.”
^ Obut., “kumuteekamu omwoyo.”
^ Obut., “n’agyanjuluza.”
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “wakati.”
^ Oba, “obugga obuva ku Kiyira.”
^ Obut., “Kyakolebwa.”
^ Oba, “Nnakikola.”
^ Oba, “emmere eyamera okuva mu nsigo ezaakunkumuka.”
^ Kwe kugamba, eri Keezeekiya.
^ Oba, “yeekaalu.”