Isaaya 38:1-22

  • Keezeekiya alwala era awona (1-22)

    • Oluyimba olw’okwebaza (10-20)

38  Mu kiseera ekyo, Keezeekiya yalwala nnyo n’abulako katono okufa.+ Nnabbi Isaaya+ mutabani wa Amozi n’agenda gy’ali n’amugamba nti: “Bw’ati Yakuwa bw’agamba, ‘Wa ab’omu nnyumba yo ebiragiro, kubanga ogenda kufa; tojja kuwona.’”+  Awo Keezeekiya n’akyuka n’atunula ku kisenge n’asaba Yakuwa ng’agamba nti:  “Ai Yakuwa, nkwegayiridde, jjukira+ bwe ntambulidde mu maaso go n’obwesigwa era n’omutima gwange gwonna,+ era nkoze ebirungi mu maaso go.” Awo Keezeekiya n’akaaba nnyo.  Yakuwa n’agamba Isaaya nti:  “Ddayo ogambe Keezeekiya nti,+ ‘Bw’ati Yakuwa, Katonda wa Dawudi jjajjaawo bw’agamba: “Mpulidde essaala yo+ era ndabye amaziga go.+ Obulamu bwo* nja kubwongerako emyaka emirala 15,+  era nja kukununula ggwe n’ekibuga kino mu mukono gwa kabaka wa Bwasuli, era nja kulwanirira ekibuga kino.+  Kano ke kabonero okuva eri Yakuwa okukulaga nti Yakuwa ajja kukola ekyo ky’agambye:+  Ekisiikirize ekiri ku madaala* ga Akazi nja kukizza emabega amadaala kkumi.”’”+ Awo ekisiikirize ekyali kisse ku madaala ne kiddayo emabega amadaala kkumi.  Bino bye bigambo Keezeekiya kabaka wa Yuda bye yawandiika bwe yalwala, oluvannyuma n’awona. 10  Nnagamba nti: “Mu makkati g’obulamu bwange Nja kuyingira mu miryango gy’emagombe.* Nja kuggibwako emyaka gyange egisigaddeyo.” 11  Nnagamba nti: “Siriraba Ya,* siriraba Ya mu nsi y’abalamu.+ Siriddayo kulaba bantuNga ndi wamu n’abo ababeera mu kifo ekitaliimu bulamu. 12  Ekifo mwe mbeera kiringa weema y’omusumbaEsimbuliddwayo n’etwalibwa.+ Obulamu bwange mbuzinzeeko ng’omulusi w’engoye bw’azingako olugoye lw’amalirizza okuluka;Ansalako ng’ewuzi eziri ku muti kwe balukira engoye. Ommalirawo ddala+ okuva ku makya okutuusa obudde lwe buziba. 13  Mbeera mukkakkamu okutuusa ku makya. Amenyaamenya amagumba gange gonna ng’empologoma;Ommalirawo ddala+ okuva ku makya okutuusa obudde lwe buziba. 14  Nkaaba+ ng’akataayi oba nga ssossolye;*Nkaaba ng’ejjiba.+ Amaaso gange gakooye olw’okutunula waggulu:+ ‘Ai Yakuwa, ndi munakuwavu nnyo;Nnyamba!’+ 15  Njogere ki? Yayogera nange era n’abaako ky’akolawo. Nja kutambula nga nneewombeese emyaka gyange gyonnaOlw’ennaku ennyingi gye nnina. 16  ‘Ai Yakuwa, olw’ebintu ebyo* buli muntu abeera mulamu,Era mu byo mwe muli obulamu bw’omwoyo gwange. Ojja kumponya era onkuume nga ndi mulamu.+ 17  Laba! Mu kifo ky’okuba n’emirembe nnalina obulumi obw’amaanyi;Naye olw’okwagala kw’olina gye ndi,Wamponya ekinnya eky’okuzikirira.+ Ebibi byange byonna obisudde emabega wo.*+ 18  Amagombe* tegasobola kukugulumiza,+Okufa tekusobola kukutendereza.+ Abo abakka mu kinnya tebasobola kuba na ssuubi mu bwesigwa bwo.+ 19  Abalamu, abalamu be basobola okukutenderezaNga bwe nkutendereza leero. Taata asobola okubuulira abaana be ebikwata ku bwesigwa bwo.+ 20  Ai Yakuwa, ndokola,Era tujja kuyimba ennyimba zange nga tukuba ebivuga eby’enkoba+Ennaku zonna ze tunaamala nga tuli balamu mu nnyumba ya Yakuwa.’”+ 21  Awo Isaaya n’agamba nti: “Muleete ekitole ky’ettiini ekkalu mukiteeke ku jjute asobole okuwona.”+ 22  Keezeekiya yali abuuzizza nti: “Kabonero ki akalaga nti nja kugenda ku nnyumba ya Yakuwa?”+

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “Ennaku zo.”
Kirabika amadaala gano gaakozesebwanga okubala essaawa.
Laba Awanny.
“Ya” lye linnya Yakuwa nga lisaliddwako.
Era kiyinza okuvvuunulwa, “ŋŋaali.”
Kwe kugamba, ebigambo bya Katonda n’ebikolwa bye.
Oba, “ebibi byange byonna obiggye mu maaso go.”
Laba Awanny.