Isaaya 4:1-6

  • Abakazi musanvu ku musajja omu (1)

  • Yakuwa ky’ameza kiriba kya kitiibwa (2-6)

4  Ku lunaku olwo, abakazi musanvu balyekwata ku musajja omu+ ne bagamba nti: “Emmere gye tunaalya ejja kuba yaffeN’engoye ze tunaayambala zijja kuba zaffe;Kye tukusaba kiri kimu, kuyitibwa linnya lyoTusobole okuggibwako ekivume.”*+  Mu kiseera ekyo Yakuwa ky’alimeza kiriba kirungi era kya kitiibwa, era Abayisirayiri abaliba bawonyeewo balyenyumiririza mu bibala by’ensi, era biriba birungi gye bali.+  Buli alisigala mu Sayuuni era alirekebwa mu Yerusaalemi aliyitibwa mutukuvu, abo bonna abaliba bawandiikiddwa okubeera mu Yerusaalemi.+  Yakuwa bw’alinaazaako bawala ba Sayuuni obucaafu,*+ n’aggyawo okuyiwa omusaayi mu Yerusaalemi ng’akisalira omusango era ng’akibuubuukizaako obusungu bwe,+  Yakuwa era aliteeka ekire n’omukka, emisana, waggulu w’Olusozi Sayuuni lwonna ne waggulu w’ekifo kyalwo ekikuŋŋaanirwamu, ate ekiro, aliteekayo omuliro ogwaka ennyo era ogubumbujja;+ kubanga ebintu byonna eby’ekitiibwa biribaako ekibibisseeko.  Era walibaawo ensiisira ey’okwewogomamu omusana,+ ate era ey’okuddukiramu n’okwekwekamu ng’eriyo kibuyaga n’enkuba.+

Obugambo Obuli Wansi

Kwe kugamba, obuswavu obw’obutaba bafumbo n’obutaba na baana.
Obut., “empitambi.”