Isaaya 43:1-28
43 Kaakano bw’ati Yakuwa bw’agamba,Oyo eyakutonda ggwe Yakobo, Oyo eyakubumba ggwe Isirayiri:+
“Totya, kubanga nnakununula.+
Nnakuyita erinnya lyo.
Oli wange.
2 Bw’oliyita mu mazzi, ndibeera wamu naawe,+Era bw’oliyita mu migga, tegirikusaanyaawo.+
Bw’oliyita mu muliro, tegulikwokya,Wadde ennimi zaagwo okukubabula.
3 Kubanga nze Yakuwa Katonda wo,Omutukuvu wa Isirayiri, Omulokozi wo.
Mpaddeyo Misiri okuba ekinunulo kyo,Mpaddeyo Esiyopiya ne Seeba mu kifo kyo.
4 Kubanga wafuuka wa muwendo gye ndi,+Waweebwa ekitiibwa, era nkwagala.+
Kyendiva mpaayo abantuN’amawanga okuwonya obulamu bwo.
5 Totya, kubanga ndi wamu naawe.+
Ndiggya ezzadde lyo ebuvanjubaNdibakuŋŋaanya mmwe okuva ebugwanjuba.+
6 Ndigamba obukiikakkono nti, ‘Baleke!’+
N’obukiikaddyo nti, ‘Tobalemera.
Leeta abaana bange ab’obulenzi okuva ewala, n’abaana bange ab’obuwala okuva ensi gy’ekoma,+
7 Buli ayitibwa erinnya lyange+Era gwe nnatonda olw’ekitiibwa kyange,Gwe nnabumba era gwe nnakola.’+
8 Leeta abantu abatalaba, wadde nga balina amaaso,Era abatawulira, wadde nga balina amatu.+
9 Amawanga gonna ka gakuŋŋaanire mu kifo kimu,Era abantu ka bakuŋŋaane wamu.+
Ani ku bo* ayinza okwogera kino?
Oba, bayinza okutumanyisa ebintu ebisooka?*+
Ka baleete abajulirwa baabwe bakakase nti batuufu,Oba ka bawulire bagambe nti, ‘Ago ge mazima!’”+
10 “Mmwe muli bajulirwa bange,”+ Yakuwa bw’agamba,“Omuweereza wange gwe nnalonda,+Musobole okummanya era munzikiririzeemu*Era mutegeere nti sikyuka.+
Tewali Katonda yakolebwa okusooka nze,Era tewali mulala yanziririra.+
11 Nze Yakuwa;+ tewali mulokozi mulala, okuggyako nze.”+
12 “Nze nnalangirira, ne ndokola, era ne mmanyisaBwe waali nga tewali katonda mulala mu mmwe.+
N’olwekyo muli bajulirwa bange,” Yakuwa bw’agamba, “era nze Katonda.+
13 Era sikyuka;+Tewali n’omu ayinza kuggya kintu mu mukono gwange.+
Bwe mbaako kye nkola, ani ayinza okukiziyiza?”+
14 Bw’ati Yakuwa bw’agamba, Omununuzi wo,+ Omutukuvu wa Isirayiri:+
“Ku lwammwe ndituma e Babulooni ne bamenya ebisiba enzigi byonna,+Era Abakaludaaya balikaabira mu byombo byabwe nga bali mu buyinike.+
15 Nze Yakuwa, Omutukuvu wammwe,+ Omutonzi wa Isirayiri,+ Kabaka wammwe.”+
16 Bw’ati Yakuwa bw’agamba,Oyo akola oluguudo mu nnyanjaN’ekkubo mu mazzi agafuukuuse,+
17 Oyo afulumya eggaali ly’olutalo n’embalaasi,+Eggye n’abalwanyi ab’amaanyi:
“Baligalamira ne batagolokoka.+
Balizikizibwa, balizikira ng’olutambi olwaka.”
18 “Temujjukira bintu ebyayita,Era temulowooza ku bintu eby’edda.
19 Laba! Nkola ekintu ekipya;+Ne kaakano kitandise okweyoleka.
Temukiraba?
Nja kukola ekkubo mu lukoola+Era nja kuyisa emigga mu ddungu.+
20 Ensolo ez’omu nsiko zijja kumpa ekitiibwa,Ebibe ne maaya,Kubanga ndeeta amazzi mu lukoola,Emigga mu ddungu,+Abantu bange, abalonde bange,+ banywe,
21 Abantu be nnatondaBasobole okulangirira ettendo lyange.+
22 Naye tonkoowodde, ggwe Yakobo,+Kubanga wankoowa, ggwe Isirayiri.+
23 Tondeetedde ndiga ez’ebiweebwayo byo ebyokebwaWadde okungulumiza ne ssaddaaka zo.
Sikuwalirizza kundeetera kiraboWadde okukukooya nga nkusaba obubaani obweru.+
24 Tewawaayo ssente kungulira kaane ow’akaloosa,*Era tewanzikusa na masavu ga ssaddaaka zo.+
Mu kifo ky’ekyo wantikka mugugu gwa bibi byoEra n’onkooya n’ensobi zo.+
25 Nze kennyini nze nsangula ebyonoono byo*+ ku lw’erinnya lyange,+Era sirijjukira bibi byo.+
26 Nzijukiza; ka buli omu ayogere ky’avunaana munne;Weewozeeko olage nti oli mutuufu.
27 Jjajjaawo eyasooka yayonoona,Era n’aboogezi* bo banjeemedde.+
28 Kyendiva mmalamu ekitiibwa abaami b’omu kifo ekitukuvu;Ndiwaayo Yakobo okuzikirizibwaEra ndireka Isirayiri okuvumibwa.+
Obugambo Obuli Wansi
^ Kirabika ebintu ebinaasooka okubaawo mu biseera eby’omu maaso bye byogerwako wano.
^ Kirabika bakatonda ab’obulimba be boogerwako wano.
^ Oba, “munneesige.”
^ Ekika ky’olumuli oluwunya akawoowo.
^ Oba, “ebikolwa byo eby’obujeemu.”
^ Kirabika abayigiriza Amateeka be boogerwako wano.