Isaaya 46:1-13
46 Beri akutama,+ Nebo yeeweta.
Ebifaananyi byabwe bitikkiddwa ku nsolo, ku nsolo ezeetikka emigugu.+
Biringa omugugu oguzitoowerera ensolo ezikooye.
2 Beeweta era bombi bakutama;Tebayinza kununula migugu,*Era nabo bennyini batwalibwa mu buwambe.
3 “Mumpulirize mmwe ennyumba ya Yakobo, nammwe mmwenna ab’ennyumba ya Isirayiri abasigaddewo,+Mmwe be nnasitula okuva lwe mwazaalibwa era be nnalabirira okuviira ddala mu lubuto.+
4 N’okutuusa lw’olikaddiwa, sirikyuka;+N’okutuusa lw’olifuna envi, nja kukuwaniriranga.
Nja kukusitula, nkuwanirire, era nkununule, nga bwe nkoze.+
5 Ani gwe mulinfaananya oba gwe mulinnenkanya oba gwe mulingeraageranyaako,+Tube nga tufaanagana?+
6 Waliwo abo abafukumula zzaabu okuva mu nsawo zaabwe;Bapima ffeeza ku minzaani.
Bapangisa omuweesi n’amukolamu katonda.+
Awo ne bavunnama, weewaawo ne bamusinza.+
7 Bamusitulira ku bibegaabega byabwe;+Bamusitula ne bamuteeka mu kifo kye, n’ayimirira awo.
Tava mu kifo kye.+
Bamukoowoola, naye tabaanukula;Tasobola kununula muntu n’omu mu buzibu bw’abaamu.+
8 “Mujjukire kino, era mube bavumu.
Mukisse ku mutima gwammwe, mmwe aboonoonyi.
9 Mujjukire ebintu ebyayita* eby’omu biseera eby’edda,Nti nze Katonda, era teri mulala.
Nze Katonda, era teriiyo alinga nze.+
10 Okuva ku lubereberye nnangirira ebintu ebiribaawo,Okuva edda n’edda nnangirira ebintu ebitannaba kukolebwa.+
Ŋŋamba nti, ‘Ekyo kye nsalawo* kijja kutuukirira,+Era nja kukola kyonna kye njagala.’+
11 Mpita ekinyonyi ekirya ennyama okuva ebuvanjuba,+Mpita omuntu okuva mu nsi eri ewala okutuukiriza kye nsazeewo.*+
Njogedde, era nja kukituukiriza.
Nkiteeseteese, era nja kukikola.+
12 Mumpulirize mmwe abalina omutima omukakanyavu,*Mmwe abali ewala ennyo n’obutuukirivu.
13 Obutuukirivu bwange mbusembezza kumpi;Tebuli wala,Era obulokozi bwange tebulirwa.+
Ndireeta obulokozi mu Sayuuni, ndireeta ekitiibwa kyange mu Isirayiri.”+
Obugambo Obuli Wansi
^ Kwe kugamba, ebifaananyi ebitikkiddwa ku nsolo.
^ Obut., “ebyasooka.”
^ Oba, “Ekigendererwa kyange.”
^ Oba, “ekigendererwa kyange.”
^ Obut., “ogw’amaanyi.”