Isaaya 47:1-15

  • Okugwa kwa Babulooni (1-15)

    • Abalaguzisa emmunyeenye baanikibwa (13-15)

47  Kka wansi otuule mu nfuufu,Ggwe muwala wa Babulooni embeerera.+ Tuula wansi ku ttaka awatali ntebe ya bwakabaka,+Ggwe muwala w’Abakaludaaya,Kubanga abantu tebaliddamu kukuyita mwenaanyi era eyakuzibwa ekyejo.   Kwata olubengo ose ensaano. Ggyako ekitambaala eky’oku mutwe. Weeyambule olugoye, bikkula amagulu go. Somoka emigga.   Obwereere bwo bulibikkulwa. Obuswavu bwo bulirabibwa. Ndiwoolera eggwanga,+ era tewaliba muntu n’omu anziyiza.   “Omununuzi waffe—Yakuwa ow’eggye lye linnya lye—Ye Mutukuvu wa Isirayiri.”+   Tuula awo ng’osirise era genda mu kizikiza,Ggwe muwala w’Abakaludaaya;+Tebaliddamu kukuyita Nnaabakyala w’Obwakabaka obungi.+   Nnasunguwalira abantu bange.+ Nnayonoona obusika bwange,+Ne mbawaayo mu mukono gwo.+ Naye tewabasaasira.+ N’omukadde wamussaako ekikoligo ekizito ennyo.+   Wagamba nti: “Nja kubeera Nnaabakyala emirembe n’emirembe.”+ Ebintu bino tewabissaako mwoyo;Tewalowooza ku byandivuddemu.   Kaakano wulira kino ggwe ayagala eby’amasanyu,+Ggwe atudde entende, era agamba mu mutima gwe nti: “Nze ndiwo, teri mulala wabula nze.+ Sirifuuka nnamwandu. Sirifiirwa baana.”+   Naye ebintu bino byombi birikutuukako mbagirawo, ku lunaku lumu:+ Okufiirwa abaana n’okufuuka nnamwandu. Birikutuukako ku kigero ekijjuvu+Olw’eby’obufumu byo ebingi, n’olw’eby’obulogo byo byonna eby’amaanyi.+ 10  Weesiga ebintu ebibi by’okola. Wagamba nti: “Tewali andaba.” Amagezi go n’okumanya kwo bye byakuwabya,Era ogamba mu mutima gwo nti: “Nze ndiwo, teri mulala wabula nze.” 11  Naye akabi kalikutuukako,Era obulogo bwo tebulikaziyiza. Ebizibu birikujjira; tolisobola kubiziyiza. Okuzikirira okw’amangu kw’otomanyi kulikutuukako.+ 12  Kale genda mu maaso n’eby’obulogo byo era n’eby’obufumu byo ebingi,+By’oteganye nabyo okuva mu buvubuka bwo. Oboolyawo onooganyulwa;Oboolyawo onooleetera abantu okutya. 13  Abawi b’amagezi b’olina abangi bakukooyezza. Kaakano ka bayimirire bakulokole,Abo abasinza eggulu,* abatunuulira emmunyeenye,+Abo abakubuulira ng’omwezi guboneseEbintu ebirikutuukako. 14  Laba! Balinga ebisubi. Omuliro gulibookya. Tebasobola kwerokola okuva mu maanyi g’omuliro. Gano si manda ga kwota,Era guno si muliro gwa kwota. 15  Bwe batyo abalogo bo bwe baliba gy’oli,Abo b’oteganye nabo okuva mu buvubuka bwo. Balisaasaana, buli omu alikwata lirye.* Tewalibaawo n’omu akulokola.+

Obugambo Obuli Wansi

Era kiyinza okuvvuunulwa, “Abo abagabanyaamu eggulu; Abalaguzisa emmunyeenye.”
Obut., “aligenda mu kitundu kye.”