Isaaya 5:1-30
5 Ka nnyimbire omwagalwa wangeOluyimba olukwata ku mwagalwa wange n’ennimiro ye ey’emizabbibu.+
Omwagalwa wange yalina ennimiro y’emizabbibu ku lusozi olugimu.
2 Yagirima n’agiggyamu amayinja.
Yagisimbamu emizabbibu emirungi emimyufu,N’azimba omunaala wakati mu yo,N’agisimamu essogolero.+
Yalindirira ng’asuubira nti ejja kubala ezzabbibu eddungi,Kyokka yabala zzabbibu lya mu nsiko.+
3 “Kaakano mmwe abantu b’omu Yerusaalemi ne Yuda,Mbasaba musale omusango wakati wange n’ennimiro yange ey’emizabbibu.+
4 Kiki ekirala kye nnandikoledde ennimiro yangeKye saagikolera?+
Bwe nnali ngisuubira okubala ezzabbibu eddungi,Teyabala zzabbibu lya mu nsiko?
5 Kaakano ka mbabuulireKye nnaakolera ennimiro yange ey’emizabbibu:
Nja kuggyawo olukomera lwayo,Era lujja kwokebwa.+
Nja kumenya ekisenge ky’amayinja ekigyetoolodde,Era kijja kulinnyirirwa.
6 Nja kugifuula kifo ekyazika;+Tejja kusalirwa wadde okukoolebwa.
Ejja kumeramu obuti obw’amaggwa n’omuddo,+Era nja kulagira ebire bireme kugitonnyesaamu nkuba.+
7 Ennimiro y’emizabbibu eya Yakuwa ow’eggye ye nnyumba ya Isirayiri;+Abasajja ba Yuda ye nnimiro gye yali ayagala ennyo.
Yali asuubira bwenkanya,+Naye laba! waaliwo butali bwenkanya;Yali asuubira butuukirivu,Naye laba! waaliwo kukaaba.”+
8 Zibasanze abo abagatta ennyumba ku ginnaayo,+Abagatta ennimiro ku ginnaayo+Ne batuuka n’okuba nga tebalina we babiteekaNe basigala bokka mu kitundu.
9 Yakuwa ow’eggye alayidde nga mpuliraNti amayumba mangi, wadde nga manene era nga malungi,Galifuuka ekintu eky’entiisa,Nga tewali agabeeramu.+
10 Yiika kkumi ez’ennimiro y’emizabbibu zirivaamu ekigera kya basi* kimu,N’ekigera kimu ekya komeri* y’ensigo kirivaamu efa* emu yokka.+
11 Zibasanze abo abakeera ku makya okunywa omwenge,+Abagunywa okutuusa ekiro mu ttumbi, okutuusa lwe gubalalusa!
12 Baba n’entongooli n’ebivuga ebirala eby’enkoba,N’obugoma obutono, n’endere, n’omwenge ku bijjulo byabwe;Naye tebalowooza ku bikolwa bya Yakuwa,Era tebalaba mirimu gya mikono gye.
13 N’olwekyo, abantu bange baligenda mu buwaŋŋanguseOlw’okuba tebammanyi;+Abasajja baabwe ab’ebitiibwa balirumwa enjala,+N’abantu baabwe bonna balirumwa ennyonta.
14 Amagombe* kyegavudde geegaziyaEra gaasamirizza ddala akamwa kaago;+Abakungu ba Yerusaalemi, ebibinja by’abantu baamu abawoggana, n’abo ababeera mu binyumuBalikka omwo.
15 Era omuntu alitoowazibwa,Omuntu alifeebezebwa,Abantu ab’amalala balikoteka emitwe gyabwe.
16 Yakuwa ow’eggye aligulumizibwa olw’okusala omusango;*Katonda ow’amazima, Omutukuvu,+ alyetukuza okuyitira mu butuukirivu.+
17 Endiga ento zirirya omuddo nga ziringa eziriira mu malundiro gaazo;Abagwira baliriira mu bifo ebyafuuka amatongo ebyalinga bibeeramu ensolo eziriisibwa obulungi.
18 Zibasanze abo abawalula ensobi zaabwe nga bakozesa emiguwa egy’obulimbaAbo abawalula ebibi byabwe nga bakozesa emiguwa gy’ekigaali ekisikibwa ensolo;
19 Abo abagamba nti: “Ayanguyeeko omulimu gwe;Ka gukolebwe mangu tugulabe.
Ekigendererwa ky’Omutukuvu wa Isirayiri* ka kituukirireTukimanye!”+
20 Zibasanze abo abayita ekirungi ekibi, ate ekibi ne bakiyita ekirungi,+Abo abateeka ekizikiza mu kifo ky’ekitangaala, n’ekitangaala mu kifo ky’ekizikiza,Abo abateeka ekikaawa mu kifo ky’ekiwoomerera, n’ekiwoomerera mu kifo ky’ekikaawa!
21 Zibasanze abo abeetwala okuba ab’amageziEra abeetwala okuba nti bategeera nnyo!+
22 Zibasanze abo abazira mu kunywa omwenge,N’abantu abakugu mu kutabula emyenge,+
23 Abo abalya enguzi ne bejjeereza omubi+Era abatalamula mutuukirivu mu bwenkanya!+
24 Kale ng’olulimi lw’omuliro bwe lwokya ebisubiEra ng’essubi ekkalu bwe liggweerera mu nnimi z’omuliro,N’emirandira gyabwe bwe gityo bwe girivunda,Era n’ebimuli byabwe birifuumuuka ng’obuwunga,Kubanga baagaana amateeka ga* Yakuwa ow’eggyeEra baanyooma ekigambo ky’Omutukuvu wa Isirayiri.+
25 Obusungu bwa Yakuwa kyebuva bubuubuukira abantu be,Era aligolola omukono gwe n’ababonereza.+
Ensozi zirikankana,Era emirambo gyabwe giriba ng’ebisasiro mu nguudo.+
N’olw’ensonga eyo akyali musunguwavu,Era akyagolodde omukono gwe okubonereza.
26 Awanikidde eggwanga eriri ewala akabonero;*+Afuuye oluwa okubayita okuva ensi gy’ekoma;+Era bajja mangu nnyo.+
27 Tewali n’omu ku bo akooye oba eyeesittala n’agwa.
Tewali n’omu asumagira oba eyeebaka.
Emisipi egiri mu biwato byabwe tegiragaya,N’obukoba bw’engatto zaabwe tebukutuse.
28 Obusaale bwabwe bwonna bwogiN’emitego gyabwe gyonna egy’obusaale gireegeddwa.
Ebinuulo by’embalaasi zaabwe biringa amayinja g’embaalebaale,Ne nnamuziga zaabwe ziringa embuyaga.+
29 Okuwuluguma kwabwe kulinga okw’empologoma;Bawuluguma ng’empologoma envubuka.+
Balifugula ne bakwata omuyiggoNe bagutwala era tewaliba agununula.
30 Ku lunaku olwo baliguwulugumirakoNg’ennyanja bw’ewuluguma.+
Omuntu yenna alitunuulira ensi aliraba ekizikiza eky’entiisa;Nga n’ekitangaala kifuuse kizikiza olw’ebire.+
Obugambo Obuli Wansi
^ Laba Ebyong. B14.
^ Laba Ebyong. B14.
^ Laba Ebyong. B14.
^ Oba, “olw’okuba omwenkanya.”
^ Oba, “Ekyo Omutukuvu wa Isirayiri ky’asazeewo.”
^ Oba, “obulagirizi bwa.”
^ Oba, “ekikondo.”