Isaaya 56:1-12

  • Emikisa egiweebwa abagwira n’abalaawe (1-8)

    • Ennyumba ey’okusabirwamu bonna (7)

  • Abakuumi abazibe b’amaaso, embwa ezitaboggola (9-12)

56  Bw’ati Yakuwa bw’agamba: “Mukole eby’obwenkanya,+ era mukole eby’obutuukirivu,Kubanga obulokozi bwange bunaatera okujja,N’obutuukirivu bwange bujja kubikkulwa.+   Alina essanyu omuntu akola ekyo;Omwana w’omuntu akinywererako,Akwata Ssabbiiti era atakola bintu bigimalamu kitiibwa,+Era aziyiza omukono gwe okukola ekintu kyonna ekibi.   Omugwira eyeegatta ku Yakuwa+ tagambanga nti,‘Mazima ddala Yakuwa ajja kunzigya mu bantu be.’ N’omulaawe tagambanga nti, ‘Laba! Ndi muti mukalu.’”  Kubanga bw’ati Yakuwa bw’agamba: “Abalaawe abakwata ssabbiiti zange era abalondawo ebyo ebinsanyusa era abanywerera ku ndagaano yange,   Ndibawa ekijjukizo n’erinnya mu nnyumba yange, ne munda w’ebisenge byange;Ndibawa ekintu ekisinga abaana ab’obulenzi n’ab’obuwala. Ndibawa erinnya ery’olubeerera,Eritaliggwaawo.   Ate bo abagwira abeegatta ku Yakuwa okumuweerezanga,N’okwagalanga erinnya lya Yakuwa,+N’okubeeranga abaweereza be,Abo bonna abakwata Ssabbiiti era abatakola bintu bigimalamu kitiibwaEra abanywerera ku ndagaano yange,   Ndibaleeta ku lusozi lwange olutukuvu+Ne mbawa essanyu mu nnyumba yange ey’okusabiramu. Ebiweebwayo byabwe ebyokebwa ne ssaddaaka zaabwe birikkirizibwa ku kyoto kyange. Kubanga ennyumba yange eriyitibwa nnyumba ya kusabirwamu amawanga gonna.”+  Yakuwa Mukama Afuga Byonna, akuŋŋaanya abantu ba Isirayiri abaasaasaana,+ agamba nti: “Ndimukuŋŋaanyiza abalala mbagatte ku abo abaakuŋŋaanyizibwa.”+   Mmwe mmwenna ensolo ez’omu nsiko, mujje mulye;Mmwe mmwenna ensolo eziri mu kibira.+ 10  Abakuumi be bazibe ba maaso,+ tewali n’omu ku bo alabye.+ Bonna mbwa ezitanyega, ezitasobola kuboggola.+ Bawejjawejja era bagalamidde wansi; banyumirwa kwebaka. 11  Mbwa ezaagala ennyo okulya;Tebakkuta. Basumba abatategeera.+ Buli omu akutte kkubo lye;Buli omu ku bo yeenoonyeza okubaako bye yeefunira mu makubo amakyamu, era agamba nti: 12  “Mujje, ka ndeete omwenge,Ka tugwekamirire.+ N’olw’enkya lujja kuba ng’olwa leero, era n’okulusinga!”

Obugambo Obuli Wansi