Isaaya 65:1-25
65 “Nnakkiriza okunoonyezebwa abo abaali batambuulirizaako;Nnakkiriza okuzuulibwa abo abatannoonya.+
Nnagamba eggwanga eryali litakoowoola linnya lyange+ nti, ‘Nzuuno, nzuuno!’
2 Olunaku lwonna ngololedde abantu abajeemu emikono gyange,+Abatambulira mu kkubo eritali ddungi,+Abagendera ku bye balowooza;+
3 Abantu abakola mu lujjudde buli kiseera ebintu ebinnyiiza,+Abaweerayo ssaddaaka mu nnimiro+ era abanyookereza omukka gwa ssaddaaka ku matoffaali.
4 Batuula mu malaalo,+Era ekiro kyonna bakimala mu bifo ebyekusifu,*Nga balya ennyama y’embizzi,+Era ssupu w’ebintu ebyenyinyaza* ali mu bibya byabwe.+
5 Bagamba nti, ‘Beera eyo wekka; tonsemberera,Kubanga ndi mutukuvu okukusinga.’*
Bano mukka mu nnyindo zange, muliro ogwaka okuzibya obudde.
6 Laba! Kiwandiikiddwa mu maaso gange;Sijja kuyimirira buyimirizi,Naye nja kubasasula,+Nja kubasasula mu bujjuvu*
7 Olw’ensobi zaabwe n’olw’ensobi za bajjajjaabwe,”+ Yakuwa bw’agamba.
“Olw’okuba banyookerezza omukka gwa ssaddaaka ku nsoziEra banzivooledde ku busozi,+Nja kusooka kubapimira empeera yaabwe mu bujjuvu.”*
8 Bw’ati Yakuwa bw’agamba:
“Ng’omwenge omusu bwe gusangibwa mu kirimba ky’ezzabbibu,Omuntu n’agamba nti, ‘Tokyonoona, kubanga kirimu ekintu ekirungi,’*
Bwe ntyo bwe nja okukola ku lw’abaweereza bange;Sijja kubazikiriza bonna.+
9 Nja kuggya mu Yakobo ezzadde,Nja kuggya mu Yuda oyo anaasikira ensozi zange;+Abalonde bange bajja kutwala ensi yange ey’ensozi,Era abaweereza bange bajja kubeera eyo.+
10 Saloni+ kijja kubeera ddundiro lya ndiga,Era Ekiwonvu Akoli+ kijja kubeera kifoEnte z’abantu bange abannoonya mwe ziwummulira.
11 Naye mmwe bamu ku abo abaleka Yakuwa,+Abo abeerabira olusozi lwange olutukuvu,+Abo abategekera katonda Mukisa emmeeza,Era abo abajjuliza katonda Omugeresi ebikopo by’omwenge omutabule.
12 N’olwekyo, nja kubagerekera ekitala,+Era mmwenna mujja kukutama wansi muttibwe,+Kubanga nnabayita naye temwayitaba,Nnayogera naye temwawuliriza;+Mwakolanga ebintu ebibi mu maaso gange,Era mwalondawo ebitansanyusa.”+
13 N’olwekyo, bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba:
“Laba! Abaweereza bange balirya, naye mmwe mulirumwa enjala.+
Laba! Abaweereza bange balinywa,+ naye mmwe mulirumwa ennyonta.
Laba! Abaweereza bange balisanyuka,+ naye mmwe muliswala.+
14 Laba! Abaweereza bange balyogerera waggulu n’essanyu, olw’essanyu eririba mu mitima gyabwe,Naye mmwe mulikaaba olw’obulumi obuliba mu mitima gyammwe,Era mulikuba ebiwoobe olw’okwennyamira mu mwoyo.
15 Mulirekawo erinnya abalonde bange lye balikozesa ng’ekikolimo,Era Yakuwa Mukama Afuga Byonna alibatta mmwenna.
Naye abaweereza be alibayita erinnya eddala;+
16 Bwe kityo buli eyeenoonyeza omukisa mu nsiKatonda ow’amazima* alimuwa omukisa,Era buli alirayira mu nsiAlirayira mu linnya lya Katonda ow’amazima.*+
Ebizibu ebyasooka tebirijjukirwa;Biriggibwa mu maaso gange.+
17 Kubanga laba! Ntonda eggulu eriggya n’ensi empya;+Ebintu ebyasooka tebirijjukirwa,Era tebirisigala mu mutima.+
18 N’olwekyo musanyuke era mujaganye emirembe gyonna olw’ekyo kye ntonda.
Kubanga laba! Ntonda Yerusaalemi okuba ekintu ekireeta essanyu,N’abantu baamu okuba ekintu ekisanyusa.+
19 Nja kusanyuka olwa Yerusaalemi, era nja kujaguza olw’abantu bange;+Tewajja kuddamu kuwulirwayo ddoboozi lya kukaaba oba okutema emiranga olw’ennaku.”+
20 “Eyo teriddayo kubaayo mwana muwere afa nga yaakamala nnaku bunaku,Wadde omukadde atalimalayo nnaku ze.
Oyo alifiira ku myaka kikumi alitwalibwa ng’abadde akyali omwana obwana,Era omwonoonyi alikolimirwa ne bw’aliba ng’aweza emyaka kikumi.*
21 Balizimba ennyumba ne bazibeeramu,+Era balisimba ennimiro z’emizabbibu ne balya ebibala byamu.+
22 Tebalizimba omulala n’abeeramu,Era tebalisimba abalala ne balya.
Kubanga ennaku z’abantu bange ziriba ng’ennaku z’omuti,+Era abalonde bange balyeyagalira mu mirimu gy’emikono gyabwe.
23 Tebaliteganira bwereere,+Era tebalizaala baana ba kulaba nnaku,Kubanga lye zzadde ly’abo Yakuwa be yawa omukisa,+Awamu ne bazzukulu baabwe.+
24 Ne bwe baliba tebannankowoola, ndiyitaba;Bwe baliba bakyayogera, ndiwulira.
25 Omusege n’omwana gw’endiga biririira wamu,Empologoma erirya omuddo ng’ente,+Era enfuufu y’eriba emmere y’omusota.
Tebirikola kabi konna wadde okuzikiriza ku lusozi lwange lwonna olutukuvu,”+ Yakuwa bw’agamba.
Obugambo Obuli Wansi
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “busiisira bw’abakuumi.”
^ Oba, “ebitali birongoofu.”
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “Kubanga nja kukuwa obutukuvu bwange.”
^ Obut., “mu kifuba kyabwe.”
^ Obut., “mu kifuba kyabwe.”
^ Obut., “kirimu omukisa.”
^ Oba, “ow’obwesigwa.” Obut., “Amiina.”
^ Oba, “ow’obwesigwa.” Obut., “Amiina.”
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “Era oyo ataliweza myaka kikumi alitwalibwa ng’eyakolimirwa.”