Kaabakuuku 1:1-17
1 Obubaka nnabbi Kaabakuuku* bwe yafuna mu kwolesebwa:
2 Ai Yakuwa, ndituusa wa okukukoowoola onnyambe, naye n’otowuliriza?+
Ndituusa wa okukukoowoola otuwonye ebikolwa eby’obukambwe, naye n’otobaako ky’okolawo?*+
3 Lwaki ondeka okulaba ebikolwa ebibi?
Era lwaki ogumiikiriza ebikolwa eby’okubonyaabonya abalala?
Lwaki okuzikiriza n’ebikolwa eby’obukambwe biri mu maaso gange?
Era lwaki ennyombo n’enkaayana bingi nnyo?
4 Amateeka tegakyakolaEra tewakyali bwenkanya.
Ababi bakajjala ku batuukirivu,Eyo ye nsonga lwaki obwenkanya bunyooleddwanyooleddwa.+
5 “Mutunuulire amawanga, mwetegereze!
Musamaalirire era muwuniikirire;Waliwo ekijja okubaawo mu nnaku zammweKye mutajja kukkiriza ne bwe kinaabagambibwa.+
6 Laba ndeeta Abakaludaaya,+Eggwanga ekkambwe era eribama obubami.
Batalaaga ebitundu by’ensi eby’ewalaOkutwala ensi ezitali zaabwe.+
7 Ba ntiisa era abantu babatya.
Beeteerawo amateeka era beewa obuyinza.+
8 Embalaasi zaabwe zidduka okusinga engo,Era nkambwe okusinga emisege bwe gibeera ekiro.+
Embalaasi zaabwe ez’olutalo ziwenyuka;Embalaasi zaabwe ziva wala nnyo.
Zikka ng’empungu eyanguwa okukwata eky’okulya.+
9 Bonna bajja nga bamaliridde okukola eby’obukambwe.+
Amaaso gaabwe gatunudde gye balaga ng’embuyaga ey’ebuvanjuba.+
Era bakuŋŋaanya abawambe ng’omusenyu.
10 Banyooma bakabaka,Era basekerera abaami.+
Basekerera buli kigo;+Batuuma ettaka ne bakiwamba.
11 Oluvannyuma beeyongerayo nga balinga embuyaga ne bayita mu nsi,Naye balibaako omusango+Olw’okuba bagamba nti katonda waabwe y’abawa amaanyi.”*+
12 Ai Yakuwa, tobaddeewo okuva edda n’edda?+
Ai Katonda wange, Omutukuvu wange, ggwe tofa.*+
Ai Yakuwa, wabalonda okutuukiriza omusango ogwasalibwa;Ai ggwe Olwazi lwange,+ wabateekawo okutubonereza.*+
13 Amaaso go malongoofu nnyo, tegasobola kutunuulira bintu bibi,Era tosobola kugumiikiriza bintu bibi.+
Kati lwaki ogumiikiriza abakuusakuusa+Era n’osirika busirisi ng’omubi amira oyo amusinga obutuukirivu?+
14 Lwaki oleka abantu okuyisibwa ng’ebyenyanja ebiri mu nnyanja,Ng’ebyewalula ebitalina abifuga?
15 Abo bonna abaggyayo* ng’akozesa eddobo.
Abawalulira mu kitimba kye,Era abakuŋŋaanyiza mu katimba ke.
Eyo ye nsonga lwaki asanyuka nnyo.+
16 Eyo ye nsonga lwaki awaayo ssaddaaka* eri ekitimba kye,Era awaayo ssaddaaka eri akatimba ke;Kubanga bireetera omugabo gwe okuba omusava,N’emmere ye nnungi nnyo.
17 Kati olwo aneeyongera bweyongezi kufukumula ebiri mu kitimba kye?*
Anaagenda mu maaso okutta amawanga awatali kusaasira?+
Obugambo Obuli Wansi
^ Liyinza okuba litegeeza, “Okuwambaatira n’Amaanyi.”
^ Oba, “n’otolokola.”
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “amaanyi gaabwe ye katonda waabwe.”
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “tetulifa.”
^ Oba, “okutukangavvula.”
^ Kwe kugamba, Abakaludaaya.
^ Oba, “omukka gwa ssaddaaka.”
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “okusowolayo ekitala kye?”