Kaabakuuku 3:1-19
3 Okusaba kwa nnabbi Kaabakuuku, mu bigambo eby’okukungubaga:*
2 Ai Yakuwa, mpulidde ebikukwatako.
Ai Yakuwa, ntidde olw’ebikolwa byo.
Ddamu obikole wakati mu myaka!*
Bimanyise wakati mu myaka.*
Jjukira okusaasira mu kiseera ekya kazigizigi.+
3 Katonda yajja ng’ava mu Temani,Omutukuvu yava ku Lusozi Palani.+ (Seera)*
Ekitiibwa kye kyabikka eggulu;+Ensi yajjula ettendo lye.
4 Yali ayaka nnyo ng’omusana.+
Ebimyanso bibiri byava mu mukono gwe,Amaanyi ge mwe gaali gakwekeddwa.
5 Obulwadde obw’amaanyi bwamukulemberamu,+Omusujja ne gumuvaako emabega.
6 Yayimirira n’akankanya ensi.+
Yatunuulira amawanga n’agaleetera okukankana.+
Ensozi ez’olubeerera zaabetentebwa,Obusozi obw’edda bwavunnama.+
Amakubo ag’edda gage.
7 Nnalaba omutawaana mu weema za Kusani.
Engoye za weema z’ensi ya Midiyaani zaakankana.+
8 Ai Yakuwa, emigga gy’osunguwalidde,Obusungu bwo bubuubuukira migga?
Oba ennyanja gy’olinako ekiruyi?+
Weebagala embalaasi zo;+Amagaali go gaawangula.*+
9 Omutego gwo ogw’obusaale gubikkuddwa era guteekeddwateekeddwa.
Emiggo* giweereddwa emirimu gyagyo okusinziira ku kirayiro. (Seera)
Ensi wagyasaamu ng’okozesa emigga.
10 Ensozi zaakulaba ne zeenyoola olw’obulumi obw’amaanyi.+
Enkuba ey’amaanyi yabuna wonna.
Obuziba bwawuluguma.+
Bwayimusa emikono gyabwo waggulu.
11 Enjuba n’omwezi byayimirira mu bifo byabyo waggulu.+
Obusaale bwo obutemegana bwafubutukayo.+
Effumu lyo lyali litemagana ng’ekimyanso.
12 Watambula n’oyita mu nsi ng’osunguwadde.
Walinnyirira* amawanga mu busungu.
13 Wagenda okulokola abantu bo, okulokola owuwo eyafukibwako amafuta.
Wabetenta omukulembeze* w’ennyumba y’omubi.
Ennyumba yamenyebwamenyebwa okuva ku musingi okutuuka ku kasolya.* (Seera)
14 Wakozesa eby’okulwanyisa bye* n’ofumita omutwe gw’abalwanyi be,Bwe baafubutuka okujja okunsaasaanya.
Baasanyuka nnyo okusaanyaawo omunaku mu kyama.
15 Wayita mu nnyanja n’ogirinnyirira n’embalaasi zo,Wayita mu mazzi amangi agabimba.
16 Nnawulira, olubuto lwange ne lukankana;*Emimwa gyange gyakankana olw’amawulire.
Okuvunda kwayingira mu magumba gange;+Amagulu gange gaakankana.
Naye nnindirira n’obukkakkamu olunaku olw’obuyinike,+Kubanga lujjira abo abatulumba.
17 Omutiini ne bwe gutaamulise,Era n’emizabbibu ne gitabala;Emizeyituuni ne bwe gitasseeko bibala,N’ennimiro ne zitabaamu mmere;Ebisibo ne bwe bitaabeemu bisolo,Era n’ebiraalo ne bitabaamu nte;
18 Nze nja kusanyukira mu Yakuwa;Nja kujaguliza mu Katonda ow’obulokozi bwange.+
19 Yakuwa Mukama Afuga Byonna ge maanyi gange;+Ebigere byange ajja kubifuula ng’eby’empeewo,Antambulize ku bifo ebigulumivu.+
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “mu nnyimba ez’okukungubaga.”
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “mu kiseera kyaffe.”
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “mu kiseera kyaffe.”
^ Oba, “bwe bwali obulokozi.”
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “Obusaale.”
^ Obut., “Wawuula.”
^ Obut., “omutwe.”
^ Obut., “mu bulago.”
^ Obut., “emiggo gye.”
^ Oba, “ne nkankana munda yange.”