Koseya 10:1-15

  • Isirayiri, omuzabbibu omubi gujja kwonoonebwa (1-15)

    • Okusiga n’okukungula (12, 13)

10  “Isirayiri muzabbibu mwonoonefu ogubala ebibala.+ Ebibala bye gye bikoma okuba ebingi, gy’akoma okuzimba ebyoto;+Ensi ye gy’ekoma okubala, empagi ze ezisinzibwa gye zikoma okulabika obulungi.+   Omutima gwabwe munnanfuusi;*Kaakano bajja kubaako omusango. Waliwo alimenyaamenya ebyoto byabwe era alyonoona empagi zaabwe.   Baligamba nti, ‘Tetulina kabaka,+ kubanga tetutidde Yakuwa. Kiki kabaka ky’ayinza okutukolera?’   Boogera ebigambo ebitaliimu nsa, balayira eby’obulimba,+ era bakola endagaano;Obutali butuukirivu busaasaanye ng’omuddo ogw’obutwa mu nnimiro.+   Abantu b’omu Samaliya balitya olw’ekifaananyi ky’ennyana eky’e Besi-aveni.+ Abantu baakyo balikikungubagira,Awamu ne bakabona baakyo abaakyenyumiririzangamu era abeenyumiririzanga mu kitiibwa kyakyo,Kubanga kiribavaako ne kigenda mu buwaŋŋanguse.   Kiritwalibwa e Bwasuli ng’ekirabo eri kabaka ow’amaanyi.+ Efulayimu alikwatibwa ensonyi,Era Isirayiri aliswala olw’amagezi ge yagoberera.+   Samaliya kirizikirizibwa* ne kabaka waakyo,+Ng’akatabi k’omuti akamenyeddwa akali ku mazzi.   Ebifo ebigulumivu eby’e Besi-aveni,+ ekibi kya Isirayiri,+ birizikirizibwa.+ Amaggwa n’amatovu birimera ku byoto byabwe.+ Abantu baligamba ensozi nti, ‘Mutubuutikire!’ N’obusozi nti, ‘Mutugweko!’+   Okuva mu nnaku z’e Gibeya, ggwe Isirayiri obadde oyonoona.+ Eyo gye baalemera mu kibi ekyo. Olutalo terwazikiririza ddala bantu batali batuukirivu mu Gibeya. 10  Era ndibakangavvula bwe ndiba njagadde. Amawanga galikuŋŋaanyizibwa okubalwanyisa,Ebibi byabwe ebibiri bwe biriba bibasibiddwako.* 11  Efulayimu yali nte nduusi eyatendekebwa era eyayagalanga okuwuula,Nnayita ku nsingo ye erabika obulungi. Ndireetera omuntu okwebagala Efulayimu.+ Yuda alirima; Yakobo alimukubira amavuunike. 12  Musige ensigo mu butuukirivu, mukungule okwagala okutajjulukuka. Mukabale ettaka eritali ddime+Nga wakyaliwo ekiseera eky’okunoonya Yakuwa,+Okutuusa lw’alijja n’abayigiriza mu butuukirivu.+ 13  Naye musize ebintu ebibi,Mukungudde obutali butuukirivu,+Mulidde ebibala eby’obulimba,Kubanga mwesize ekkubo lyammwe,Mwesize abalwanyi bammwe abangi. 14  Walibaawo oluyoogaano mu bantu bammwe,Era ebibuga byammwe byonna ebiriko bbugwe birizikirizibwa,+Ng’okuzikiriza kwa Salumaani ow’ennyumba ya Aluberi bwe kwali,Ku lunaku olw’olutalo abakazi lwe baabetentebwa awamu n’abaana baabwe. 15  Ekyo kye bajja okukukola ggwe Beseri,+ olw’ebintu ebibi ebingi by’okola. Kabaka wa Isirayiri alizikirizibwa* ng’obudde bukya.”+

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “guseerera; muweweevu,”
Obut., “kirisirisibwa.”
Kwe kugamba, bwe baweebwa ekibonerezo ne kibabeerera ng’ekikoligo.
Obut., “alisirisibwa.”