Koseya 12:1-14
12 “Efulayimu alya mpewo.
Olunaku lwonna agoba mpewo ey’ebuvanjuba.
Ayitiriza okulimba n’okukola ebikolwa eby’obukambwe.
Bakola endagaano ne Bwasuli,+ era batwala amafuta e Misiri.+
2 Yakuwa alina ky’avunaana Yuda;+Ajja kubonereza Yakobo ng’amakubo ge bwe gali,Era ajja kumusasula ng’ebikolwa bye bwe biri.+
3 Bwe yali mu lubuto yakwata muganda we ekisinziiro,+Era yalwana ne Katonda n’amaanyi ge gonna.+
4 Yalwana ne malayika era n’awangula.
Yakaaba ne yeegayirira aweebwe omukisa.”+
Katonda yamusanga e Beseri, era eyo gye yayogerera naffe,+
5 Yakuwa Katonda ow’eggye,+Yakuwa lye linnya kw’ajjukirirwa.+
6 “Kale dda eri Katonda wo,+Oyolekenga okwagala okutajjulukuka n’obwenkanya;+Era essuubi lyo libeerenga mu Katonda wo bulijjo.
7 Omusuubuzi alina minzaani ey’obulimba mu mukono gwe;Ayagala okukumpanya.+
8 Efulayimu agamba nti, ‘Ngaggawadde;+Nfunye obugagga.+
Era tebaliraba kikyamu kyonna oba kibi kyonna mu kutegana kwange kwonna.’
9 Naye nze Yakuwa Katonda wo okuviira ddala ng’okyali mu nsi ya Misiri.+
Nja kuddamu okukubeeza mu weemaNga bwe kiba mu nnaku z’embaga.
10 Nnayogeranga ne bannabbi,+Nnabawa okwolesebwa kungi,Era nnayogeranga engero nga mpita mu bannabbi.
11 Mu Gireyaadi mulimu obulimba+ n’ebitali bya mazima.
Bawaddeyo ssaddaaka z’ente ennume mu Girugaali.+
Ebyoto byabwe biringa entuumu z’amayinja mu mbibiro z’ennimiro.+
12 Yakobo yadduka n’agenda mu nsi ya Alamu;*+Isirayiri+ yaweerereza eyo okufuna omukazi,+Era yalunda endiga okusobola okufuna omukazi.+
13 Yakuwa yakozesa nnabbi okuggya Isirayiri mu Misiri,+Era yakozesa nnabbi okumukuuma.+
14 Efulayimu yanyiiza nnyo Katonda,+Era alina omusango gw’okuyiwa omusaayi.
Mukama we alimusasula olw’ekivume kye yamuleetako.”+
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “Busuuli.”