Koseya 4:1-19
4 Muwulire ekigambo kya Yakuwa mmwe abantu ba Isirayiri;Yakuwa avunaana abantu b’omu nsi eno,+Kubanga mu nsi eno temuli mazima wadde okwagala okutajjulukuka wadde okumanya Katonda.+
2 Okulayira eby’obulimba n’okulimba+ n’okutemula+N’okubba n’okwenda+ bibunye buli wamu,Era ebikolwa eby’okuyiwa omusaayi biddiriŋŋana.+
3 Eyo ye nsonga lwaki ensi erikungubaga,+Era abantu bonna abagibeeramu baliyongobera;Ensolo ez’omu nsiko n’ebinyonyi eby’omu bbanga,N’eby’ennyanja eby’omu nnyanja, birifa.
4 “Kyokka tewabaawo omuntu yenna awakana oba anenya abantu,+Kubanga abantu bo balinga abo abawakanya kabona.+
5 Olyesittala misana,Ne nnabbi alyesittala wamu naawe nga gy’obeera nti budde bwa kiro.
Era nnyoko ndimuzikiriza.*
6 Abantu bange balisaanawo* kubanga tebammanyi.
Olw’okuba mugaanye okummanya,+Nange nja kubagaana okumpeereza nga bakabona;Era olw’okuba mwerabira amateeka* ga Katonda wammwe,+Nange nja kwerabira abaana bammwe.
7 Gye baakoma obungi gye baakoma okwonoona.+
Ekitiibwa kyabwe ndikifuula ensonyi.*
8 Ku kibi ky’abantu bange kwe balya,Era balulunkanira okwonoona kwabwe.
9 Ekirituuka ku bantu kye kirituuka ne ku bakabona;Ndibavunaana olw’amakubo gaabwe,Era ndibabonereza ng’ebikolwa byabwe bwe biri.+
10 Balirya naye tebalikkuta.+
Baliyenda* naye tebalyeyongera bungi,+Kubanga balekedde awo okuwuliriza Yakuwa.
11 Obwamalaaya n’omwenge omukaatuufu n’omwenge omusuBimalawo okutegeera.*+
12 Abantu bange beebuuza ku bifaananyi byabwe eby’omuti,Bakola ebyo omuggo gwabwe* bye gubagamba;Kubanga omwoyo gw’obwamalaaya gubakyamya,Era olw’obwamalaaya bwe bakola bagaana okugondera Katonda waabwe.
13 Bawaayo ssaddaaka ku ntikko z’ensozi,+Era banyookereza omukka gwa ssaddaaka ku busozi,Wansi w’emiyovu n’emirivine, ne wansi wa buli muti omunene,+Kubanga ekisiikirize kyagyo kirungi.
Eyo ye nsonga lwaki bawala bammwe bakola obwamalaaya*Era ne baka baana bammwe benda.
14 Sijja kuvunaana bawala bammwe olw’okukola obwamalaaya,Ne baka baana bammwe olw’okwenda.
Kubanga abasajja beeyawula ku balala ne bagenda ne bamalaayaEra bawaayo ssaddaaka ne bamalaaya b’omu yeekaalu;Eggwanga lino eritategeera+ lirizikirira.
15 Wadde nga ggwe Isirayiri okola obwamalaaya,+Yuda k’aleme kubaako musango.+
Temugenda Girugaali+ wadde e Besi-aveni,+Era temulayira nti, ‘Nga Yakuwa bw’ali omulamu!’+
16 Isirayiri afuuse wa mputtu ng’ente ey’emputtu.+
Kaakano Yakuwa anaabalunda ng’endiga ento mu ddundiro eggazi?*
17 Efulayimu yeewaddeyo eri ebifaananyi.+
Mumuleke!
18 Omwenge* gwabwe bwe guggwaawoBafuuka bamalaaya.*
Era abafuzi be baagala* nnyo ebiweebuula.+
19 Embuyaga erimutwalira mu biwaawaatiro byayo,Era ssaddaaka zaabwe ziribakwasa ensonyi.”
Obugambo Obuli Wansi
^ Obut., “ndimusirisa.”
^ Obut., “balisirisibwa.”
^ Oba, “obulagirizi.”
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “Ekitiibwa kyange bakiwaanyisizzaamu ensonyi.”
^ Oba, “Baliyenda nnyo; balikola obwamalaaya.”
^ Obut., “Bitwala omutima.”
^ Oba, “omuggo gw’omulaguzi.”
^ Oba, “benda.”
^ Obut., “mu kifo ekigazi.”
^ Oba, “Omwenge gwe bakola mu ŋŋaano.”
^ Oba, “Benda nnyo; bakola obwamalaaya.”
^ Obut., “engabo ze zaagala.”