Koseya 6:1-11
6 “Mujje tudde eri Yakuwa,Kubanga y’atuyuzaayuzizza+ naye ajja kutuwonya.
Yatukuba naye ajja kusiba ebiwundu byaffe.
2 Ajja kutulamya oluvannyuma lw’ennaku bbiri.
Ku lunaku olw’okusatu ajja kutuyimusa,Era tujja kubeera balamu mu maaso ge.
3 Tujja kumanya, tujja kufuba okumanya Yakuwa.
Ng’obudde bwe butalema kukya, naye tayinza butajja.
Ajja kujja gye tuli ng’enkuba etonnya,Ng’enkuba eya ttoggo ennyikiza ettaka.”
4 “Nnaakukolera ki ggwe Efulayimu?
Nnaakukolera ki ggwe Yuda?
Okwagala kwammwe okutajjulukuka kulinga ebire eby’oku makya,Era kulinga omusulo ogukala amangu.
5 Eyo ye nsonga lwaki nja kubatema nga nkozesa bannabbi;+Nja kubatta nga nkozesa ebigambo by’akamwa kange.+
Emisango egibasaliddwa gijja kweyoleka bulungi ng’ekitangaala.+
6 Kubanga nsanyukira okwagala okutajjulukuka* so si ssaddaaka,Era nsanyukira okumanya okukwata ku Katonda mu kifo ky’ebiweebwayo ebyokebwa.+
7 Kyokka bo ng’abantu obuntu bamenye endagaano.+
Bandidemu olukwe mu nsi yaabwe.
8 Gireyaadi kibuga kya bakozi ba bibi;+Kijjudde okuyiwa omusaayi.+
9 Ebibinja bya bakabona biringa ebibinja by’abazigu abateeze omuntu.
Batemulira abantu ku mabbali g’ekkubo erigenda e Sekemu,+Bye bakola biswaza.
10 Ndabye ekintu ekyesisiwaza mu nnyumba ya Isirayiri.
Efulayimu akolera eyo obwamalaaya;+Isirayiri yeeyonoonye.+
11 Ate ggwe Yuda oteereddwawo ekiseera eky’okukungulwa,Lwe ndikomyawo abantu bange okuva mu buwambe.”+
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “obusaasizi.”