Koseya 8:1-14

  • Okukungula ebiva mu kusinza ebifaananyi (1-14)

    • Okusiga empewo, okukungula embuyaga (7)

    • Isirayiri yeerabidde Omutonzi we (14)

8  “Teeka eŋŋombe ku mumwa gwo.+ Waliwo ajja ng’empungu okulumba ennyumba ya Yakuwa,+Olw’okuba bamenye endagaano yange,+ era olw’okuba bamenye amateeka gange.+   Bankaabirira nti, ‘Ai Katonda waffe, ffe Isirayiri tukumanyi!’+   Isirayiri asudde eri ebirungi.+ Omulabe k’amugobe.   Beerondera bakabaka, naye nga tebayitidde mu nze. Beerondera abaami, naye nga sibakkirizza. Baakola ebifaananyi mu ffeeza waabwe ne mu zzaabu waabwe,+Era ekyo kijja kubaviirako okuzikirizibwa.+   Ggwe Samaliya, ekifaananyi kyo eky’ennyana kisuuliddwa eri.+ Obusungu bwange bubabuubuukidde.+ Balituusa wa okuba nga tebasobola kwetukuza ne baba nga tebaliiko musango guno?   Kino kyava mu Isirayiri. Omukozi ye yakikola, era ekyo si Katonda;Ekifaananyi ky’ennyana eky’e Samaliya kijja kufuuka bupapajjo.   Basiga mpewo,Bajja kukungula mbuyaga.+ Tewali kikolo kiriko mmere ekuze;+Era kyonna ekiba kimeze tekivaamu buwunga. Bwe wanaabaawo ekivaamu obuwunga, abagwira bajja kubulya.+   Isirayiri ejja kuliibwa.+ Bajja kubeera mu mawanga+Nga balinga ekibya ekitalina mugaso.   Kubanga bagenze e Bwasuli;+ balinga endogoyi ey’omu nsiko ebeera yokka. Efulayimu baguze bamalaaya okuba baganzi baabwe.+ 10  Era wadde nga babagula mu mawanga,Nja kubakuŋŋaanya wamu;Bajja kutandika okubonaabona+ olw’omugugu kabaka n’abaami gwe batikka abantu. 11  Efulayimu akoze ebyoto bingi n’ayonoona.+ Byafuuka byoto bya kwonoonerako.+ 12  Nnamuwandiikira ebintu bingi eby’omu mateeka gange,Naye tebaabifaako.+ 13  Bawaayo gye ndi ssaddaaka ng’ebirabo era balya ennyama yaazo,Naye Yakuwa tazisanyukira.+ Kaakano ajja kujjukira okwonoona kwabwe, era ajja kubabonereza olw’ebibi byabwe.+ Bazzeeyo* e Misiri.+ 14  Isirayiri yeerabira Omutonzi+ we era yazimba amasinzizo;+Ne Yuda yazimba ebibuga bingi ebiriko bbugwe.+ Naye nja kusindika omuliro mu bibuga bye,Era gujja kwokya eminaala gya buli omu.”+

Obugambo Obuli Wansi

Era kiyinza okuvvuunulwa, “Bajja kuddayo.”