Koseya 9:1-17

  • Ebibi bya Efulayimu biviirako Katonda okubaabulira (1-17)

    • Beewaayo eri ekintu ekiswaza (10)

9  “Tosanyuka ggwe Isirayiri,+Tojaguza ng’amawanga. Kubanga ovudde ku Katonda wo olw’obwamalaaya.+ Oyagala empeera ey’obwamalaaya bwe wakolera mu buli gguuliro.+   Egguuliro n’essogolero ly’omwenge tebijja kubaliisa,Era bajja kulekera awo okufuna omwenge omusu.+   Tebajja kweyongera kubeera mu nsi ya Yakuwa;+Efulayimu ajja kuddayo e Misiri,Era bajja kulya ebitali birongoofu mu Bwasuli.+   Tebajja kweyongera kuwaayo mwenge eri Yakuwa;+Ssaddaaka zaabwe tezijja kumusanyusa.+ Ziringa emmere ey’omu biseera eby’okukungubaga;Abo bonna abagirya bajja kweyonoona. Emmere yaabwe yaabwe bokka;Tejja kutwalibwa mu nnyumba ya Yakuwa.   Munaakola ki ku lunaku olw’okukuŋŋaanirako,Ku lunaku olw’okukwata embaga ya Yakuwa?   Laba! bajja kudduka olw’okuzikiriza.+ Misiri ejja kubakuŋŋaanya,+ era Menfisi ejja kubaziika.+ Ebintu byabwe ebirungi ebya ffeeza, omwennyango gujja kubyeddiza,Era obuti obw’amaggwa bujja kumera mu weema zaabwe.   Ennaku ez’okubonerezebwamu zijja,+Ennaku ez’okusasulirwamu zijja,Isirayiri ajja kukimanya. Nnabbi waabwe ajja kuba musirusiru, n’omusajja eyaluŋŋamizibwa ajja kulaluka. Olw’okwonoona kwo okungi, osunguwaliddwa nnyo.”   Omukuumi+ wa Efulayimu yali ne Katonda wange.+ Naye kaakano amakubo ga bannabbi be+ gonna galinga emitego gy’omutezi w’ebinyonyi;Mu nnyumba ya Katonda we mulimu obukyayi.   Beenyigidde nnyo mu kukola ebintu ebijja okubaleetera okuzikirira, nga bwe kyali mu nnaku z’e Gibeya.+ Ajja kujjukira okwonoona kwabwe; era ajja kubabonereza olw’ebibi byabwe.+ 10  “Nnasanga Isirayiri ng’asanga ezzabbibu mu ddungu.+ Nnalaba bajjajjammwe ng’alaba ettiini erisooka ku mutiini ogwakatandika okubala. Naye baagenda eri Bbaali ow’e Pyoli;+Beewaayo eri ekintu ekiswaza,*+Ne bafuuka ekyenyinyaza okufaananako ekintu kye baayagala. 11  Ekitiibwa kya Efulayimu kibuuka ng’ekinyonyi ne kigenda;Tewali n’omu azaala wadde ali olubuto wadde afuna olubuto.+ 12  Ne bwe banaakuza abaana,Nja kubatta okutuusa nga tewali muntu n’omu asigaddewo;+Bwe nnaabavaako, zijja kubasanga.+ 13  Efulayimu bwe yasimbibwa mu ddundiro erirabika obulungi, gye ndi yali afaanana nga Ttuulo;+Kaakano Efulayimu ajja kutwala abaana be battibwe.” 14  Ai Yakuwa, bawe ky’olina okubawa;Bawe okuvaamu embuto n’okukala amabeere. 15  “Ebintu byonna ebibi bye baakola byali mu Girugaali;+ eyo gye nnabakyayira. Nja kubagoba mu nnyumba yange olw’ebikolwa byabwe ebibi.+ Sijja kweyongera kubaagala.+ Abaami baabwe bonna bawaganyavu. 16  Efulayimu ajja kutuusibwako akabi.+ Omulandira gwabwe gujja kukala era tebajja kubala bibala. Ne bwe banaazaala, nja kutta ezzadde lyabwe lye baagala ennyo.” 17  Katonda wange ajja kubaleka,Kubanga tebamuwulirizza,+Era bajja kufuuka mmomboze mu mawanga.+

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “katonda aswaza.”