Makko 13:1-37

  • AMAFUNDIKIRA G’ENTEEKATEEKA Y’EBINTU (1-37)

    • Entalo, musisi, enjala (8)

    • Amawulire amalungi ga kubuulirwa (10)

    • Ekibonyoobonyo ekinene (19)

    • Okujja kw’Omwana w’omuntu (26)

    • Ekyokulabirako ky’omutiini (28-31)

    • Mubeere bulindaala (32-37)

13  Awo bwe yali afuluma mu yeekaalu, omu ku bayigirizwa be n’amugamba nti: “Omuyigiriza, laba! amayinja gano n’ebizimbe nga byewuunyisa!”+  Kyokka Yesu n’amugamba nti: “Ebizimbe bino ebirungi ennyo obiraba? Tewali jjinja lirisigala ku linnaalyo; gonna galisuulibwa wansi.”+  Bwe yali atudde ku Lusozi olw’Emizeyituuni mu kifo we yali alengerera yeekaalu, Peetero, Yakobo, Yokaana, ne Andereya ne bamubuuza ekibuuzo nga bali bokka:  “Tubuulire, ebintu bino biribaawo ddi, era kabonero ki akaliraga nti ebintu ebyo byonna binaatera okubaawo?”+  Awo Yesu n’abagamba nti: “Mwekuume waleme kubaawo ababuzaabuza.+  Bangi balijjira mu linnya lyange, nga bagamba nti ‘Nze nzuuyo,’ era balibuzaabuza bangi.  Ate era bwe muwuliranga entalo mu bifo ebitali bimu, temutyanga; ebintu ebyo birina okubaawo, naye enkomerero eriba ekyali.+  “Eggwanga lirirumba eggwanga n’obwakabaka bulirumba obwakabaka;+ walibaawo musisi mu bifo ebitali bimu; era walibaawo enjala.+ Bino byonna ye ntandikwa y’obuyinike.*+  “Naye mmwe mubeere bulindaala. Abantu balibawaayo mu mbuga z’amateeka,+ balibakubira mu makuŋŋaaniro,+ era mulisimbibwa mu maaso ga bagavana ne bakabaka ku lwange, bube obujulirwa gye bali.+ 10  Era amawulire amalungi galina okusooka okubuulirwa mu mawanga gonna.+ 11  Bwe baliba babatwala mu mbuga z’amateeka, temweraliikiriranga kye mulyogera; naye kyonna kye muliweebwa mu kiseera ekyo, kye mubanga mwogera, kubanga si mmwe muliba mukyogera wabula omwoyo omutukuvu.+ 12  Ate era, omuntu aliwaayo muganda we okuttibwa, ne kitaawe w’omwana aliwaayo omwana we, era n’abaana balyefuulira bazadde baabwe ne babawaayo okuttibwa.+ 13  Mulikyayibwa abantu bonna olw’erinnya lyange.+ Naye oyo agumiikiriza* okutuuka ku nkomerero+ y’alirokolebwa.+ 14  “Kyokka, bwe mulabanga eky’omuzizo ekizikiriza+ nga kiri we kitalina kuba (omusomi akozese okutegeera), abo abaliba mu Buyudaaya baddukiranga mu nsozi.+ 15  Oyo aliba waggulu ku nnyumba tavangayo, wadde okuyingira mu nnyumba ye okuggyamu ekintu kyonna; 16  n’oyo aliba mu nnimiro taddangayo okunona ekyambalo kye eky’okungulu. 17  Mu kiseera ekyo zirisanga abakazi abaliba embuto n’abo abaliba bayonsa!+ 18  Musabe ebyo bireme kubaawo mu biseera bya butiti, 19  kubanga mu nnaku ezo walibaawo ekibonyoobonyo+ ekitabangawo kasookedde ensi Katonda gye yatonda ebaawo, okutuusa mu kiseera ekyo, era tekiribaawo nate.+ 20  Mu butuufu, singa Yakuwa* teyakendeeza ku nnaku ezo, tewandibaddewo awonawo. Naye olw’abalonde, ennaku ezo yazikendeezaako.+ 21  “Ate era, omuntu yenna bw’abagambanga nti, ‘Laba! Kristo ali wano,’ oba nti, ‘Laba! Ali wali,’ temukkirizanga.+ 22  Kubanga Bakristo ab’obulimba ne bannabbi ab’obulimba balijja,+ era balikola obubonero n’ebyewuunyisa, bwe kiba kisoboka bakyamye n’abalonde. 23  Naye mmwe mwekuume.+ Ebintu byonna mbibabuulidde nga bukyali. 24  “Mu nnaku ezo ng’ekibonyoobonyo kiwedde, enjuba erijjako ekizikiza, omwezi tegulyaka,+ 25  emmunyeenye ziriwanuka waggulu ne zigwa, era n’amaanyi g’omu ggulu galinyeenyezebwa. 26  Awo baliraba Omwana w’omuntu+ ng’ajjira mu bire n’amaanyi mangi n’ekitiibwa.+ 27  Alituma bamalayika era balikuŋŋaanya abalonde be okuva ku njuyi ennya,* okuva ku nkomerero y’ensi okutuuka ku nkomerero y’eggulu.+ 28  “Mulabire ku mutiini muyige: Amatabi gaagwo bwe gatandika okutojjera ne gassaako ebikoola, mumanya nti ekiseera eky’omusana kinaatera okutuuka.+ 29  Bwe kityo nammwe bwe mulabanga ebintu bino nga bibaawo, mumanyanga nti ali kumpi, ku luggi.+ 30  Mazima ddala mbagamba nti omulembe guno teguliggwaawo okutuusa ng’ebintu bino byonna bimaze okubaawo.+ 31  Eggulu n’ensi biriggwaawo,+ naye ebigambo byange tebiriggwaawo.+ 32  “Naye eby’olunaku olwo oba ekiseera,* tewali abimanyi, ka babe bamalayika mu ggulu, oba Omwana, wabula Kitange.+ 33  Mutunulenga, mubeerenga bulindaala,+ kubanga temumanyi kiseera ekigereke we kinaatuukira.+ 34  Kifaananako omusajja eyaleka ennyumba ye bwe yali agenda mu nsi ey’ewala. Yawa abaddu be obuyinza okugirabirira,+ buli omu n’amuwa omulimu ogw’okukola era n’alagira omukuumi w’oku mulyango okubeera obulindaala.+ 35  N’olwekyo, mubeere bulindaala, kubanga temumanyi kiseera nnyini nnyumba w’alijjira,+ oba kawungeezi, oba kiro mu ttumbi, oba awo enkoko we zikookolimira, oba ku makya ennyo;+ 36  singa agwa bugwi aleme kubasanga nga mwebase.+ 37  Naye kye mbabuulira mmwe, nkibuulira bonna: Mubeere bulindaala.”+

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “y’okulumwa ebisa by’okuzaala.”
Oba, “agumiikirizza.”
Obut., “mpewo ennya.”
Obut., “essaawa.”