Makko 8:1-38
8 Mu nnaku ezo, abantu baddamu ne bakuŋŋaana bangi era tebaalina kya kulya. Bw’atyo n’ayita abayigirizwa be n’abagamba nti:
2 “Abantu bano mbasaasira,+ kubanga kati ziweze ennaku ssatu nga bali nange naye nga tebalina kya kulya;+
3 bwe mbasiibula baddeyo ewaabwe nga tebalina kye balidde, bajja kugwa ku kkubo, kubanga abamu bava wala.”
4 Naye abayigirizwa be ne bamugamba nti: “Mu kifo kino ekyesudde, omuntu anaggya wa emigaati egiyinza okukkusa abantu bano?”
5 N’ababuuza nti: “Mulinawo emigaati emeka?” Ne bagamba nti: “Musanvu.”+
6 N’agamba abantu okutuula wansi. Awo n’akwata emigaati omusanvu ne yeebaza, n’agimenyamu, n’agiwa abayigirizwa be okugigaba era ne bagigabira abantu.+
7 Baalinawo n’eby’ennyanja bitono; era bwe yamala okwebaza, n’abagamba nabyo babigabe.
8 Ne balya ne bakkuta, ne bakuŋŋaanya obutundutundu obwafikkawo ne bujjuza ebisero ebinene musanvu.+
9 Abasajja baali nga 4,000. Awo n’abasiibula.
10 Amangu ago n’alinnya eryato n’abayigirizwa be ne bagenda mu kitundu ky’e Dalumanusa.+
11 Ng’ali eyo, Abafalisaayo bajja ne batandika okumuwakanya, nga bamugamba abawe akabonero okuva mu ggulu, olw’okwagala okumukema.+
12 N’awulira ennaku ya maanyi nnyo, era n’agamba nti: “Lwaki omulembe guno gwagala okulaba akabonero?+ Mazima mbagamba nti, tewali kabonero kajja kuguweebwa.”+
13 Bwe yamala okwogera ebyo, n’abaviira n’alinnya eryato nate, n’agenda emitala.
14 Kyokka abayigirizwa beerabira okutwala emigaati, era mu lyato tebaalinamu kya kulya kyonna okuggyako omugaati gumu.+
15 N’abagamba nti: “Mutunule; mwegendereze ekizimbulukusa ky’Abafalisaayo n’ekya Kerode.”+
16 Ne batandika okukaayana bokka na bokka olw’okuba tebaalina migaati.
17 Bwe yakiraba n’abagamba nti: “Lwaki mukaayana olw’okuba temulina migaati? Temunnafuna makulu era temunnategeera? Emitima gyammwe gikyazibuwaliddwa okutegeera?
18 ‘Wadde nga mulina amaaso, temulaba? Era wadde nga mulina amatu, temuwulira?’ Temujjukira?
19 Bwe nnagabira abasajja 5,000 emigaati etaano,+ mwakuŋŋaanya ebisero by’obutundutundu bw’emigaati bimeka?” Ne bamugamba nti: “Kkumi na bibiri.”+
20 “Ate bwe nnagabira abasajja 4,000 emigaati omusanvu, mwakuŋŋaanya ebisero by’obutundutundu bw’emigaati bimeka?” Ne bamugamba nti “Musanvu.”+
21 Awo n’abagamba nti: “Era temunnategeera?”
22 Awo ne batuuka e Besusayida era abantu ne bamuleetera omusajja omuzibe w’amaaso ne bamwegayirira amukwateko.+
23 Awo n’akwata omuzibe w’amaaso ku mukono n’amutwala ebweru w’akabuga ako. Bwe yamala okuwanda amalusu ku maaso ge+ n’amussaako emikono n’amubuuza nti: “Olina ekintu kyonna ky’olaba?”
24 Omusajja n’atunula waggulu n’agamba nti: “Ndaba abantu, naye balinga emiti egitambula.”
25 N’addamu okuteeka emikono gye ku maaso g’omusajja oyo era omusajja n’atandika okulaba obulungi. Amaaso ge gaazibuka n’aba nga buli kimu akiraba bulungi.
26 N’amusiibula addeyo ewaabwe, kyokka n’amugamba nti: “Togenda mu kabuga.”
27 Awo Yesu n’abayigirizwa be ne boolekera obubuga bw’e Kayisaliya ekya Firipo, era bwe baali nga batambula n’abuuza abayigirizwa be nti: “Abantu bagamba nti nze ani?”+
28 Ne bamugamba nti: “Abamu bagamba nti Yokaana Omubatiza,+ abalala nti Eriya,+ ate abalala nti omu ku bannabbi.”
29 N’ababuuza nti: “Ate mmwe mugamba nti nze ani?” Peetero n’amuddamu nti: “Ggwe Kristo.”+
30 Awo n’abakuutira obutakibuulirako muntu n’omu.+
31 Ate era n’abagamba* nti Omwana w’omuntu ateekwa okubonyaabonyezebwa ennyo, era abakadde ne bakabona abakulu n’abawandiisi bamwegaane, era attibwe,+ naye oluvannyuma lw’ennaku ssatu azuukire.+
32 Ekyo yakyogera kaati. Naye Peetero n’amuzza ebbali n’amunenya.+
33 Awo Yesu n’akyuka, n’atunuulira abayigirizwa be, n’agamba Peetero nti: “Dda ennyuma wange Sitaani, kubanga endowooza yo si ya Katonda, wabula ya bantu.”+
34 Awo n’ayita ekibiina n’abayigirizwa be n’abagamba nti: “Omuntu yenna bw’aba ayagala okungoberera, alekere awo okwetwala yekka, asitule omuti gwe ogw’okubonaabona* angobererenga.+
35 Kubanga buli ayagala okulokola obulamu bwe alibufiirwa, naye buli afiirwa obulamu bwe ku lwange ne ku lw’amawulire amalungi alibulokola.+
36 Ddala kigasa ki omuntu okufuna ensi yonna naye n’afiirwa obulamu bwe?+
37 Kiki ddala omuntu ky’ayinza okuwaayo okununula obulamu bwe?+
38 Buli ankwatirwa ensonyi nze era n’ebigambo byange mu mulembe guno omwonoonyi era ogutali mwesigwa* eri Katonda, n’Omwana w’omuntu alimukwatirwa ensonyi+ bw’alijjira mu kitiibwa kya Kitaawe ng’ali wamu ne bamalayika abatukuvu.”+