Matayo 11:1-30
11 Awo Yesu bwe yamala okuwa abayigirizwa be ekkumi n’ababiri ebiragiro, n’avaayo n’agenda okuyigiriza n’okubuulira mu bibuga ebirala.+
2 Naye Yokaana eyali mu kkomera+ bwe yawulira Kristo bye yali akola, n’atuma abayigirizwa be+
3 bamubuuze nti: “Ye ggwe Wuuyo gwe tubadde tulindirira, oba tulindirire mulala?”+
4 Yesu n’abaddamu nti: “Mugende mubuulire Yokaana bye muwulira ne bye mulaba:+
5 Abazibe b’amaaso balaba,+ abalema batambula, abagenge+ bawona ne balongooka, bakiggala bawulira, abafu bazuukizibwa, n’abaavu babuulirwa amawulire amalungi.+
6 Alina essanyu oyo ateesittala ku lwange.”+
7 Abo bwe baagenda, Yesu n’atandika okubuulira ekibiina ky’abantu ebikwata ku Yokaana, ng’agamba nti: “Mwagenda kulaba ki mu ddungu?+ Olumuli oluyuuyizibwa empewo?+
8 Kati olwo mwagenda kulaba ki? Omusajja ayambadde engoye ennungi? Abo abambala engoye ennungi babeera mu nnyumba za bakabaka.
9 Ddala lwaki mwagenda mu ddungu? Mwagenda kulaba nnabbi? Mazima mbagamba nti oyo gwe mwagenda okulaba mukulu nnyo okusinga nnabbi.+
10 Oyo ebyawandiikibwa gwe byogerako nti: ‘Laba! Ntuma omubaka wange akukulemberemu;* oyo ajja kukuteekerateekera ekkubo!’+
11 Mazima mbagamba nti, mu abo abaazaalibwa abakazi, tewabangawo muntu asinga Yokaana Omubatiza; naye oyo asembayo okuba owa wansi mu Bwakabaka obw’omu ggulu amusinga.+
12 Naye okuva mu kiseera kya Yokaana Omubatiza okutuuka kati, Obwakabaka obw’omu ggulu abantu bwe baluubirira, era abo ababuluubirira babufuna.*+
13 Kubanga Bannabbi bonna n’Amateeka baalagula okutuusa mu kiseera kya Yokaana;+
14 era ka mube nga mukikkiriza oba nedda, oyo ye ‘Eriya eyali ow’okujja.’+
15 Oyo alina amatu awulire.
16 “Abantu b’omulembe guno nnaabageraageranya ku ani?+ Balinga abaana abato abatuula mu katale ne bakoowoola bannaabwe,
17 nga babagamba nti, ‘Twabafuuyira endere ne mutazina; twakuba ebiwoobe, ne mutanakuwala.’
18 Mu ngeri y’emu, Yokaana yajja nga talya era nga tanywa, naye abantu ne bagamba nti, ‘Aliko dayimooni.’
19 Omwana w’omuntu yajja ng’alya era ng’anywa,+ naye abantu ne bagamba nti: ‘Laba! Omusajja ow’omululu era omutamiivu, mukwano gw’abasolooza omusolo n’aboonoonyi.’+ Ebintu eby’obutuukirivu omuntu by’akola bye biraga nti wa magezi.”+
20 Awo n’atandika okuvumirira ebibuga gye yakolera ebyamagero ebisinga obungi kubanga abantu baamu tebeenenya:
21 “Zikusanze ggwe Kolaziini! Zikusanze ggwe Besusayida! kubanga ebyamagero ebyakolebwa mu mmwe singa byakolebwa mu Ttuulo ne Sidoni, abaayo bandibadde beenenya dda ne batuula mu vvu nga bambadde ebibukutu.+
22 Naye mbagamba nti, ku Lunaku olw’Okusalirako Omusango ekibonerezo kyammwe kiriba kinene nnyo okusinga ekya Ttuulo ne Sidoni.+
23 Ate ggwe Kaperunawumu,+ oligulumizibwa okutuuka ku ggulu? Ojja kukka emagombe;*+ kubanga ebyamagero ebyakolebwa mu ggwe singa byakolebwa mu Sodomu, singa ne leero kikyaliwo.
24 Naye mbagamba nti, ku Lunaku olw’Okusalirako Omusango ekibonerezo kyo kiriba kinene nnyo okusinga ekya Sodomu.”+
25 Awo Yesu n’agamba nti: “Nkutendereza mu lujjudde Kitange Mukama w’eggulu n’ensi, kubanga ebintu bino wabikweka abagezi n’abayivu, n’obibikkulira abaana abato.+
26 Weewaawo, Ai Kitange, kubanga bw’otyo bwe wasiima.
27 Kitange+ ampadde ebintu byonna, era tewali amanyi bulungi Mwana wabula Kitange;+ era tewali amanyi bulungi Kitange wabula Omwana, n’oyo yenna Omwana gw’aba ayagadde amanye Kitaawe.+
28 Mujje gye ndi mmwe mmwenna abategana era abazitoowereddwa, nange nnaabawummuza.
29 Mwetikke ekikoligo kyange era muyigire ku nze, kubanga ndi muteefu era muwombeefu mu mutima,+ era mulifuna ekiwummulo mu bulamu bwammwe.
30 Kubanga ekikoligo kyange kyangu okusitula n’omugugu gwange si muzito.”