Matayo 27:1-66
27 Obudde bwe bwakya, bakabona abakulu bonna n’abakadde ne bateesa ku ngeri y’okuttamu Yesu.+
2 Bwe baamala okumusiba ne bamutwala ne bamuwaayo eri Piraato, gavana.+
3 Yuda eyamulyamu olukwe bwe yalaba nga bamusalidde ogw’okufa, ne yejjusa, n’azzaayo ebitundu bya ffeeza 30 eri bakabona abakulu n’abakadde,+
4 n’agamba nti: “Nnayonoona bwe nnalyamu omuntu omutuukirivu olukwe.” Ne bamugamba nti: “Ekyo kizibu kyo; ffe tekitukwatako!”
5 Awo n’asuula ebitundu bya ffeeza mu yeekaalu, n’agenda ne yeetuga.+
6 Naye bakabona abakulu ne baggyayo ebitundu bya ffeeza ebyo ne bagamba nti: “Tekikkirizibwa kubiteeka mu kifo awaterekebwa ebirabo, kubanga bye byaguze omusaayi.”
7 Bwe baamala okuteesa, ne bakozesa ssente ezo ne bazigulamu ekibanja ky’omubumbi baziikengamu abagwira.
8 Ekibanja ekyo kyekiva kiyitibwa Ekibanja ky’Omusaayi+ n’okutuusa leero.
9 Ekyo nnabbi Yeremiya kye yayogera ne kituukirira, ekigamba nti: “Baatwala ebitundu bya ffeeza 30, nga gwe muwendo ogwamuteekebwako abamu ku baana ba Isirayiri,
10 ne babigulamu ekibanja ky’omubumbi, nga Yakuwa* bwe yandagira.”+
11 Awo Yesu n’ayimirira mu maaso ga gavana era gavana n’amubuuza nti: “Ggwe Kabaka w’Abayudaaya?” Yesu n’amuddamu nti: “Ggwe kennyini okyogedde.”+
12 Naye bakabona abakulu n’abakadde bwe baali bamulumiriza, teyaddamu kigambo.+
13 Awo Piraato n’amubuuza nti: “Ebyo byonna bye bakulumiriza tobiwulira?”
14 Naye teyamuddamu kigambo na kimu, gavana ne yeewuunya nnyo.
15 Ku buli mbaga ey’Okuyitako, yalinga mpisa ya gavana okuta omusibe abantu gwe baabanga bamusabye.+
16 Mu kiseera ekyo waaliwo omusibe ayitibwa Balabba, eyali amanyiddwa ennyo olw’ebikolwa bye ebibi.
17 Awo bwe baali bakuŋŋaanye, Piraato n’ababuuza nti: “Ani gwe mwagala mbateere, Balabba oba Yesu ayitibwa Kristo?”
18 Kubanga yali akimanyi nti okumuwaayo baali bamukwatiddwa buggya.
19 Bwe yali atudde ku ntebe okusalirwa emisango, mukyala we n’amuweereza obubaka ng’agamba nti: “Omuntu oyo omutuukirivu tomukolako kabi, kubanga leero ntawaanyiziddwa nnyo mu kirooto ku lulwe.”
20 Naye bakabona abakulu n’abakadde ne basendasenda ekibiina ky’abantu okusaba nti Balabba+ y’aba ateebwa, ate ye Yesu attibwe.+
21 Gavana n’abaddamu n’ababuuza nti: “Ku bombi ani gwe mwagala mbateere?” Ne bamuddamu nti: “Balabba.”
22 Piraato n’abagamba nti: “Kati olwo Yesu ayitibwa Kristo mmukole ki?” Bonna ne bagamba nti: “Mukomerere* ku muti!”+
23 N’ababuuza nti: “Lwaki, kibi ki kye yakola?” Naye ne beeyongera okuleekaana nti: “Mukomerere ku muti!”+
24 Piraato bwe yalaba ng’okufuba kwe tekuvuddemu kalungi konna wabula nga beeyongera bweyongezi kuleekaana, n’akwata amazzi n’anaaba mu ngalo mu maaso g’abantu bonna, nga bw’agamba nti: “Sivunaanibwa musaayi gwa muntu ono. Omusango gwammwe.”
25 Awo abantu bonna ne baddamu nti: “Omusaayi gwe gubeere ku ffe ne ku baana baffe.”+
26 N’abateera Balabba, naye n’alagira Yesu akubibwe+ era n’amuwaayo akomererwe ku muti.+
27 Abasirikale ba gavana ne batwala Yesu mu mbuga ya gavana, ne bayita abasirikale bonna ne beekuŋŋaanyiza w’ali.+
28 Ne bamwambulamu ebyambalo bye, ne bamwambaza olugoye olumyufu,+
29 ne bakola engule ey’amaggwa ne bagimuteeka ku mutwe era ne bamukwasa olumuli mu mukono gwe ogwa ddyo. Ne bafukamira mu maaso ge, ne bamukudaalira nga bagamba nti: “Emirembe gibe naawe Kabaka w’Abayudaaya!”
30 Ne bamuwandulira amalusu,+ ne bakwata olumuli ne balumukuba ku mutwe.
31 Bwe baamala okumukudaalira ne bamwambulamu olugoye olumyufu, ne bamwambaza ebyambalo bye eby’okungulu, ne bamutwala okumukomerera ku muti.+
32 Bwe baali bagenda, ne basanga omusajja ow’e Kuleene ayitibwa Simooni, ne bamuwaliriza okusitula omuti gwa Yesu ogw’okubonaabona.*+
33 Bwe baatuuka mu kifo ekiyitibwa Ggologoosa, ekitegeeza, Ekifo ky’Ekiwanga,+
34 ne bamuwa okunywa envinnyo etabuddwamu ebintu ebikaawa;+ naye bwe yakombako n’agaana okunywa.
35 Bwe baamala okumukomerera, ne bagabana ebyambalo bye eby’okungulu nga bakuba akalulu,+
36 era ne batuula awo ne bamukuuma.
37 Ate era baateeka akapande waggulu w’omutwe gwe akaali kawandiikiddwako omusango ogwali gumuvunaanibwa, nga kagamba nti: “Ono ye Yesu Kabaka w’Abayudaaya.”+
38 Era baawanika abanyazi babiri ku miti okumpi naye, omu ku mukono gwe ogwa ddyo ate omulala ku gwa kkono.+
39 Awo abaali bayitawo ne bamuvuma,+ ne banyeenya emitwe+
40 nga bwe bagamba nti: “Ggwe eyagamba okumenya yeekaalu ogizimbire mu nnaku ssatu,+ weerokole! Bw’oba oli mwana wa Katonda, va ku muti ogw’okubonaabona* okke wansi!”+
41 Bakabona abakulu n’abawandiisi era n’abakadde ne batandika okumukudaalira nga bagamba nti:+
42 “Yalokolanga balala, naye ye tasobola kwerokola! Ye Kabaka wa Isirayiri;+ kale ave ku muti ogw’okubonaabona* akke wansi tulyoke tumukkirize.
43 Atadde obwesige mu Katonda; kale amuwonye bw’aba ng’amwagala,+ kubanga yagamba nti, ‘Ndi Mwana wa Katonda.’”+
44 Era n’abanyazi abaali ku miti okumpi naye ne batandika okumuvuma.+
45 Awo ensi eyo yonna n’ekwata ekizikiza okuva ku ssaawa mukaaga* okutuusa ku ssaawa mwenda.*+
46 Ku ssaawa nga mwenda, Yesu n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti: “Eli, Eli, lama sabakusaani?” ekitegeeza nti, “Katonda wange, Katonda wange, lwaki onjabulidde?”+
47 Abamu ku abo abaali bayimiridde awo bwe baawulira ng’ayogera bw’atyo, ne bagamba nti: “Omusajja ono ayita Eriya.”+
48 Amangu ago omu ku bo n’adduka n’addira ekisuumwa n’akinnyika mu mwenge omukaatuufu, n’akiteeka ku lumuli, n’amuwa anywe.+
49 Naye abalala ne bagamba nti: “Muleke! Ka tulabe obanga Eriya anajja n’amulokola.”
50 Awo Yesu n’ayogera nate mu ddoboozi ery’omwanguka, n’afa.*+
51 Awo olutimbe olw’omu yeekaalu+ ne luyulikamu wakati+ okuva waggulu okutuuka wansi,+ era ensi n’ekankana, n’enjazi ne zaatika.
52 Entaana* ne zibikkuka, era emirambo mingi egy’abatukuvu abaali beebase ne gidda kungulu,
53 (abantu abaava mu kifo awaali entaana* baayingira mu kibuga ekitukuvu oluvannyuma lw’okuzuukizibwa kwe), abantu bangi ne bagiraba.
54 Naye omukulu w’ekibinja ky’abasirikale n’abo be yali nabo nga bakuuma Yesu bwe baalaba ensi ng’ekankana era n’ebintu ebyali bigenda mu maaso, ne batya nnyo, ne bagamba nti: “Mazima ddala ono abadde Mwana wa Katonda.”+
55 Waaliwo n’abakazi bangi abaali bawerekeddeko Yesu okuva e Ggaliraaya okumuweereza, abaali ewalako nga balengera;+
56 mu abo mwalimu Maliyamu Magudaleena, Maliyamu maama wa Yakobo ne Yose, ne maama wa batabani ba Zebedaayo.+
57 Bwe bwali buwungeera, ne wajja omusajja omu omugagga ow’e Alimasaya ayitibwa Yusufu, eyali omuyigirizwa wa Yesu.+
58 Omusajja oyo n’agenda ewa Piraato n’amusaba omulambo gwa Yesu.+ Piraato n’alagira bagumuwe.+
59 Yusufu n’atwala omulambo, n’aguzinga mu lugoye oluyonjo olwa kitaani,+
60 n’aguteeka mu ntaana ye empya+ gye yali asimye mu lwazi. N’ayiringisa ejjinja eddene n’aliteeka ku mulyango gw’entaana, n’oluvannyuma n’agenda.
61 Naye Maliyamu Magudaleena ne Maliyamu oli omulala ne basigala awo nga batudde mu maaso g’entaana.+
62 Ebintu bino byaliwo ku lunaku olw’okuteekateeka+ Ssabbiiti. Olunaku olwaddako, bakabona abakulu n’Abafalisaayo ne bakuŋŋaana wamu ne bagenda eri Piraato,
63 ne bamugamba nti: “Ssebo, tujjukidde nti omulimba oyo bwe yali akyali mulamu yagamba nti, ‘Oluvannyuma lw’ennaku ssatu nja kuzuukizibwa.’+
64 Kale, lagira bakuumire ddala entaana ye okutuusa ku lunaku olw’okusatu, abayigirizwa be baleme kujja kubbamu+ mulambo gwe era bagambe abantu nti, ‘Yazuukiziddwa okuva mu bafu!’ Awo obulimba buno obw’oluvannyuma bujja kusinga obw’olubereberye.”
65 Piraato n’abagamba nti: “Mutwale abakuumi, mugende mugikuumire ddala.”
66 Bwe batyo ne bagenda ne banywereza ddala ejjinja eryali ku ntaana ne balissaako akabonero era ne bateekawo n’abakuumi.
Obugambo Obuli Wansi
^ Laba Ebyong. A5.
^ Oba, “Muttire.”
^ Kwe kugamba, ku ssaawa nga 6 ez’omu ttuntu.
^ Kwe kugamba, ku ssaawa nga 9 ez’olweggulo.
^ Obut., “n’awaayo omwoyo.”