Matayo 4:1-25

  • Omulyolyomi akema Yesu (1-11)

  • Yesu atandika okubuulira mu Ggaliraaya (12-17)

  • Abayigirizwa abaasooka bayitibwa (18-22)

  • Yesu abuulira, ayigiriza, era awonya abantu (23-25)

4  Awo omwoyo ne gutwala Yesu mu ddungu okukemebwa+ Omulyolyomi.+  Bwe yamala okusiibira ennaku 40, enjala n’emuluma.  Omukemi+ n’ajja n’amugamba nti: “Bw’oba ng’oli mwana wa Katonda, gamba amayinja gano gafuuke emmere.”  Yesu n’amuddamu nti: “Kyawandiikibwa nti, ‘Omuntu taba mulamu lwa mmere yokka, naye aba mulamu olwa buli kigambo ekiva mu kamwa ka Yakuwa.’”*+  Awo Omulyolyomi n’amutwala mu kibuga ekitukuvu,+ n’amuteeka waggulu ku kisenge kya* yeekaalu,+  n’amugamba nti: “Bw’oba ng’oli mwana wa Katonda, weesuule wansi; kubanga kyawandiikibwa nti: ‘Aliragira bamalayika be,’ era nti ‘Balikusitulira mu mikono gyabwe, oleme kukoona kigere kyo ku jjinja.’”+  Yesu n’amugamba nti: “Era kyawandiikibwa nti, ‘Togezesanga Yakuwa* Katonda wo.’”+  Awo ate Omulyolyomi n’amutwala ku lusozi oluwanvu ennyo, n’amulaga obwakabaka bwonna obw’omu nsi n’ekitiibwa kyabwo,+  n’amugamba nti: “Ebintu bino byonna nja kubikuwa singa ovunnama n’onsinza.” 10  Yesu n’amugamba nti: “Vaawo genda Sitaani! Kubanga kyawandiikibwa nti: ‘Yakuwa* Katonda wo gw’olina okusinza,+ era ye yekka gw’olina okuweereza.’”+ 11  Awo Omulyolyomi n’amuleka,+ era bamalayika ne bajja ne bamuweereza.+ 12  Bwe yawulira nti Yokaana yali akwatiddwa,+ n’agenda e Ggaliraaya.+ 13  Ate bwe yava e Nazaaleesi, n’agenda n’abeera e Kaperunawumu+ ku lubalama lw’ennyanja mu kitundu kya Zebbulooni n’ekya Nafutaali, 14  asobole okutuukiriza ebigambo ebyayogerwa okuyitira mu nnabbi Isaaya, eyagamba nti: 15  “Ggaliraaya eky’amawanga, ensi ya Zebbulooni n’eya Nafutaali eziri ku luguudo lw’oku nnyanja emitala wa Yoludaani! 16  Abantu baayo abaali mu kizikiza baalaba ekitangaala eky’amaanyi, era abaali mu kitundu omuli ekisiikirize ekireeta okufa, ekitangaala+ kyabaakira.”+ 17  Okuva mu kiseera ekyo, Yesu n’atandika okubuulira ng’agamba nti: “Mwenenye, kubanga Obwakabaka obw’omu ggulu busembedde.”+ 18  Bwe yali ng’atambula ku lubalama lw’Ennyanja y’e Ggaliraaya, n’alaba ab’oluganda babiri, Simooni eyali ayitibwa Peetero+ ne Andereya muganda we, nga basuula obutimba bwabwe mu nnyanja, kubanga baali bavubi.+ 19  N’abagamba nti: “Mungoberere, nja kubafuula abavubi b’abantu.”+ 20  Amangu ago ne baleka awo obutimba bwabwe ne bamugoberera.+ 21  Bwe yava awo n’alaba ab’oluganda abalala babiri, Yakobo mutabani wa Zebedaayo ne muganda we Yokaana.+ Baali mu lyato ne kitaabwe Zebedaayo nga baddaabiriza obutimba bwabwe, n’abayita.+ 22  Amangu ago ne baleka awo eryato ne kitaabwe, ne bamugoberera. 23  Awo n’atalaaga Ggaliraaya yonna+ ng’ayigiriza mu makuŋŋaaniro gaabwe,+ ng’abuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka, era ng’awonya endwadde eza buli kika ezaali mu bantu.+ 24  Amawulire agakwata ku ebyo bye yakola ne gabuna mu Busuuli yonna; ne bamuleetera abo bonna abaali balina endwadde eza buli kika era nga balumizibwa nnyo,+ abaaliko dayimooni,+ abaali bagwa ensimbu+ n’abaasannyalala, n’abawonya. 25  Awo abantu bangi okuva mu Ggaliraaya, Dekapoli,* Yerusaalemi n’e Buyudaaya, n’okuva emitala wa Yoludaani ne bamugoberera.

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “ku muziziko gwa; awasingayo okuba waggulu ku.”
Oba, “Ekitundu eky’Ebibuga Kkumi.”