Nakkumu 1:1-15
1 Obubaka obukwata ku Nineeve:+ Ekitabo ky’okwolesebwa kwa Nakkumu* Omwerukoosi:
2 Yakuwa ye Katonda ayagala abantu okumwemalirako+ era awoolera eggwanga,Yakuwa awoolera eggwanga era asunguwadde.+
Yakuwa awoolera eggwanga ku balabe be,Era aterekera abalabe be obusungu.
3 Yakuwa alwawo okusunguwala+ era wa maanyi nnyo,+Naye talema kuwa abo ababa bakoze ebibi ekibonerezo ekibagwanira.+
Ekkubo lye liri mu kikuŋŋunta ne mu mbuyaga,Era ebire ye nfuufu eri wansi w’ebigere bye.+
4 Anenya ennyanja+ n’agikaliza,Era akaliza n’emigga gyonna.+
Basani ne Kalumeeri bikala,+N’ebimuli bya Lebanooni bikala.
5 Ensozi zikankana olw’okubeera ye,N’obusozi busaanuuka.+
Ensi ejja kukankanira mu maaso ge,Era n’ettaka awamu n’abo abalibeerako.+
6 Ani ayinza okuyimirira mu maaso g’obusungu bwe?+
Ani ayinza okugumira obusungu bwe obubuubuuka?+
Obusungu bwe bulifukibwa ng’omuliro,Era enjazi zirimenyekamenyeka olw’okubeera ye.
7 Yakuwa mulungi,+ era kigo ku lunaku olw’okulabirako ennaku.+
Amanyi* abo abaddukira gy’ali.+
8 Ajja kusaanyizaawo ddala ekibuga ekyo* ng’akozesa amataba ag’amaanyi,Era ekizikiza kijja kuwondera abalabe be.
9 Kiki kye munaateesa okukola Yakuwa?
Ajja kubazikiririza ddala.
Ennaku tejja kujja mulundi gwa kubiri.+
10 Balinga amaggwa agasibaganye,Era balinga abo abatamidde omwenge;*Naye bajja kwokebwa ng’ebisubi ebikalu.
11 Mu ggwe mujja kuvaamu ateesa okukola ebibi ku Yakuwa,Awa abalala amagezi agataliimu nsa.
12 Bw’ati Yakuwa bw’agamba:
“Wadde nga balina amaanyi mangi era nga bangi nnyo,Bajja kutemebwa basuulibwe wansi era basaanewo.*
Nkulabizza ennaku,* naye siriddamu kukulabya nnaku nate.
13 Nja kumenya ekikoligo kye nkikuggyeko,+Era n’ebikusibye nja kubikutulamu.
14 Kino Yakuwa ky’alagidde ku ggwe,*‘Toliddamu kuba na zzadde liyitibwa linnya lyo.
Nja kusaanyaawo ebifaananyi ebyole n’ebifaananyi eby’ekyuma* ebiri mu nnyumba* ya bakatonda bo.
Nja kukusimira entaana kubanga tolina mugaso.’
15 “Laba! Ku nsozi, ebigere by’oyo aleeta amawulire amalungi,Oyo alangirira emirembe.+
Ggwe Yuda kwata embaga zo.+ Sasula obweyamo bwo,Kubanga oyo atalina mugaso taliddamu kukuyitamu.
Ajja kuzikiririzibwa ddala.”
Obugambo Obuli Wansi
^ Litegeeza, “Abudaabuda.”
^ Oba, “Afaayo ku.”
^ Kwe kugamba, Nineeve.
^ Oba, “omwenge gwe bakola mu ŋŋaano.”
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “era abayitemu.”
^ Wano boogera ku Yuda.
^ Wano boogera ku Bwasuli.
^ Oba, “ebisaanuuse.”
^ Oba, “yeekaalu.”