Nekkemiya 2:1-20

  • Nekkemiya asindikibwa e Yerusaalemi (1-10)

  • Nekkemiya alambula bbugwe w’ekibuga (11-20)

2  Mu mwezi ogwa Nisaani,* mu mwaka ogw’amakumi abiri+ ogw’obufuzi bwa Kabaka Alutagizerugiizi,+ nnakwata omwenge ogwali mu maaso ga kabaka ne ngumuwa nga bwe nnakolanga bulijjo.+ Naye nnali sibangako munyiikaavu mu maaso ge.  Kabaka n’ambuuza nti: “Lwaki oli munyiikaavu ng’ate toli mulwadde? Eno erina kuba nnyiike eri ku mutima.” Awo ne ntya nnyo.  Ne ŋŋamba kabaka nti: “Kabaka awangaale! Lwaki sinyiikaala ng’ekibuga, ekifo bajjajjange mwe baaziikibwa kiri matongo, era nga n’emiryango gyakyo gyayokebwa?”+  Kabaka n’aŋŋamba nti: “Kiki ky’oyagala?” Amangu ago ne nsaba Katonda w’eggulu.+  Awo ne ŋŋamba kabaka nti: “Bwe kiba nga kirungi mu maaso ga kabaka, era omuweereza wo bw’aba ng’asiimibwa mu maaso go, nsindika ŋŋende mu Yuda, mu kibuga bajjajjange mwe baaziikibwa, nkizimbe buggya.”+  Awo kabaka ng’atudde wamu ne nnaabakyala n’ambuuza nti: “Olugendo lwo lunaatwala bbanga ki, era olikomawo ddi?” Kabaka n’akkiriza okunsindika,+ era ne mmubuulira ekiseera.+  Awo ne ŋŋamba kabaka nti: “Bwe kiba nga kirungi mu maaso ga kabaka, ka mpeebwe amabaluwa ge nnaawa bagavana ab’Emitala w’Omugga,*+ banzikirize okuyita mu bitundu byabwe okutuusa lwe nnaatuuka mu Yuda,  era n’ebbaluwa gye nnaawa Asafu akuuma ekibira kya kabaka ampe emiti egy’okuggyamu embaawo ez’enzigi z’Ekigo+ ky’Ennyumba* ya Katonda n’eza bbugwe w’ekibuga+ n’ez’ennyumba gye nnaabeeramu.” Awo kabaka n’azimpa+ kubanga omukono omulungi ogwa Katonda wange gwandiko.+  Awo ne ntuuka eri bagavana ab’Emitala w’Omugga ne mbawa amabaluwa agaali gavudde eri kabaka. Ate era kabaka yasindika abakulu b’amagye n’abeebagazi b’embalaasi okugenda nange. 10  Naye Sanubalaati+ Omukolooni ne Tobiya+ omukungu* Omwamoni+ baanyiiga nnyo bwe baawulira nti waliwo omuntu eyali azze okukolera abantu ba Isirayiri ekintu ekirungi. 11  Oluvannyuma nnatuuka e Yerusaalemi ne mbeerayo okumala ennaku ssatu. 12  Awo ne nsituka ekiro nga ndi wamu n’abasajja batonotono, naye saabuulirako muntu yenna Katonda wange kye yali atadde mu mutima gwange okukolera Yerusaalemi, era saalina nsolo yonna okuggyako eyo gye nnali nneebagadde. 13  Ne nfulumira mu Mulyango ogw’Ekiwonvu+ nga bukyali kiro ne mpita mu maaso g’Oluzzi olw’Ogusota ne njolekera Omulyango ogw’Entuumu z’Evvu,+ ne nneekenneenya bbugwe wa Yerusaalemi eyali yamenyekamenyeka, n’emiryango gyakyo egyayokebwa.+ 14  Ne nneeyongerayo ne ntuuka ku Mulyango ogw’Oluzzi+ ne ku Kidiba kya Kabaka, naye olw’okuba waali wafunda, ensolo gye nnali nneebagadde yali tesobola kuyitawo. 15  Ne nneeyongerayo ne mpita mu kiwonvu+ nga bukyali kiro ne nneeyongera okwekenneenya bbugwe, oluvannyuma ne nkyusa okudda era ne nnyingirira mu Mulyango ogw’Ekiwonvu, bwe ntyo ne nkomawo. 16  Abaami+ tebaamanya gye nnali ndaze ne kye nnali nkola; era nnali sirina kye mbuulidde Bayudaaya wadde bakabona, oba abakungu oba abaami oba abalala bonna abaali bagenda okukola omulimu. 17  Oluvannyuma ne mbagamba nti: “Mulaba embeera embi gye tulimu; Yerusaalemi kyayonoonebwa era emiryango gyakyo gyayokebwa. Mujje tuddemu tuzimbe bbugwe wa Yerusaalemi tulekere awo okuswala.” 18  Era nnababuulira engeri omukono omulungi ogwa Katonda wange gye gwandiko,+ era ne mbabuulira n’ebyo kabaka bye yaŋŋamba.+ Awo ne bagamba nti: “Ka tusituke tuzimbe.” Ne bazziŋŋanamu amaanyi* era ne beetegekera okukola omulimu omulungi.+ 19  Sanubalaati Omukolooni ne Tobiya+ omukungu* Omwamoni+ ne Gesemu Omuwalabu+ bwe baakiwulira ne batandika okutujerega+ n’okutunyooma era ne bagamba nti: “Kiki ekyo kye mukola? Mujeemedde kabaka?”+ 20  Naye ne mbagamba nti: “Katonda w’eggulu y’ajja okutuyamba okutuuka ku buwanguzi,+ era ffe abaweereza be tujja kusituka tuzimbe; naye mmwe temulina mugabo mu Yerusaalemi, wadde obwannannyini, wadde ekijjukizo.”+

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “w’Omugga Fulaati.”
Oba, “kya Yeekaalu.”
Obut., “omuweereza.”
Obut., “Ne bazzaamu emikono gyabwe amaanyi.”
Obut., “omuweereza.”