Nekkemiya 7:1-73

  • Emiryango gy’ekibuga n’abakuumi b’oku miryango (1-4)

  • Abo abaakomawo okuva mu buwaŋŋanguse (5-69)

    • Abaweereza b’oku yeekaalu (46-56)

    • Abaana b’abaweereza ba Sulemaani (57-60)

  • Ebyaweebwayo okuwagira omulimu gw’okuzimba (70-73)

7  Bbugwe olwaggwa okuzimbibwa,+ ne mmuwangamu enzigi+ era abakuumi b’oku miryango+ n’abayimbi+ n’Abaleevi+ ne balondebwa.  Ne nteekawo muganda wange Kanani+ okulabiriranga Yerusaalemi ng’ali wamu ne Kananiya omukulu w’Ekigo,+ kubanga yali musajja mwesigwa era ng’atya Katonda ow’amazima+ okusinga abalala bangi.  Ne mbagamba nti: “Enzigi za Yerusaalemi tezirina kuggulwangawo okutuusa ng’omusana gukaalaamye, era abakuumi baziggalenga bazisibe ebinyolo nga bakyali ku mulimu. Mufune abakuumi okuva mu batuuze b’omu Yerusaalemi, abamu mubateeke mu bifo ebikuumirwamu ate abalala mu maaso g’ennyumba zaabwe.”  Ekibuga kyali kigazi era kinene, naye abantu abaakirimu baali batono+ era nga n’amayumba tegannaddamu kuzimbibwa.  Katonda wange yakiteeka mu mutima gwange nkuŋŋaanye abakungu n’abaami n’abantu bawandiikibwe okusinziira ku buzaale bwabwe.+ Ne nzuula ekitabo ekyalimu enkalala z’obuzaale bw’abo abaasooka okudda, era ne ndaba nga kiwandiikiddwamu bino:  “Bano be bantu b’omu ssaza abaava mu bawambe, Nebukadduneeza+ kabaka wa Babulooni be yatwala mu buwaŋŋanguse+ oluvannyuma ne bakomawo e Yerusaalemi ne mu Yuda, buli omu mu kibuga kye;+  abo abajja ne Zerubbaberi,+ Yesuwa,+ Nekkemiya, Azaliya, Laamiya, Nakamani, Moluddekaayi, Birusani, Misuperesi, Biguvayi, Nekumu, ne Bbaana. Omuwendo gw’abasajja ba Isirayiri gwe guno:+  Abaana ba Palosi, 2,172;  abaana ba Sefatiya, 372; 10  abaana ba Ala,+ 652; 11  abaana ba Pakasu-mowaabu+ ab’oku baana ba Yesuwa ne Yowaabu,+ 2,818; 12  abaana ba Eramu,+ 1,254; 13  abaana ba Zattu, 845; 14  abaana ba Zakkayi, 760; 15  abaana ba Binnuyi, 648; 16  abaana ba Bebayi, 628; 17  abaana ba Azugaadi, 2,322; 18  abaana ba Adonikamu, 667; 19  abaana ba Biguvayi, 2,067; 20  abaana ba Adini, 655; 21  abaana ba Ateri ow’omu nnyumba ya Keezeekiya, 98; 22  abaana ba Kasumu, 328; 23  abaana ba Bezayi, 324; 24  abaana ba Kalifu, 112; 25  abaana ba Gibiyoni,+ 95; 26  abasajja b’e Besirekemu n’e Netofa, 188; 27  abasajja b’e Anasosi,+ 128; 28  abasajja b’e Besu-azumavesi, 42; 29  abasajja b’e Kiriyasu-yalimu,+ Kefira, n’e Beerosi,+ 743; 30  abasajja b’e Laama n’e Geba,+ 621; 31  abasajja b’e Mikumasi,+ 122; 32  abasajja b’e Beseri+ n’e Ayi,+ 123; 33  abasajja b’e Nebo ekirala, 52; 34  abaana ba Eramu omulala, 1,254; 35  abaana ba Kalimu, 320; 36  abaana b’e Yeriko, 345; 37  abaana ba Loodi, Kadidi, ne Ono,+ 721; 38  abaana ba Sena, 3,930. 39  Bakabona:+ abaana ba Yedaya ow’omu nnyumba ya Yesuwa, 973; 40  abaana ba Immeri, 1,052; 41  abaana ba Pasukuli,+ 1,247; 42  abaana ba Kalimu,+ 1,017. 43  Abaleevi:+ abaana ba Yesuwa, ab’omu nnyumba ya Kadumyeri+ ow’oku baana ba Kodeva, 74. 44  Abayimbi:+ abaana ba Asafu,+ 148. 45  Abakuumi b’oku miryango:+ abaana ba Salumu, abaana ba Ateri, abaana ba Talumoni, abaana ba Akkubu,+ abaana ba Katita, abaana ba Sobayi, 138. 46  Abaweereza b’oku yeekaalu:*+ abaana ba Zika, abaana ba Kasufa, abaana ba Tabbawoosi, 47  abaana ba Kerosi, abaana ba Siya, abaana ba Padoni, 48  abaana ba Lebana, abaana ba Kagaba, abaana ba Salumayi, 49  abaana ba Kanani, abaana ba Gidderu, abaana ba Gakali, 50  abaana ba Leyaya, abaana ba Lezini, abaana ba Nekoda, 51  abaana ba Gazzamu, abaana ba Uzza, abaana ba Paseya, 52  abaana ba Besayi, abaana b’Abamewuni, abaana ba Nefusesimu, 53  abaana ba Bakubuki, abaana ba Kakufa, abaana ba Kalukuli, 54  abaana ba Bazulisi, abaana ba Mekida, abaana ba Kalusa, 55  abaana ba Balukosi, abaana ba Sisera, abaana ba Tema, 56  abaana ba Neziya, abaana ba Katifa. 57  Abaana b’abaweereza ba Sulemaani:+ abaana ba Sotayi, abaana ba Soferesi, abaana ba Perida, 58  abaana ba Yaala, abaana ba Dalukoni, abaana ba Gidderu, 59  abaana ba Sefatiya, abaana ba Kattiri, abaana ba Pokeresu-kazzebayimu, abaana ba Amoni. 60  Abaweereza b’oku yeekaalu*+ bonna n’abaana b’abaweereza ba Sulemaani baali 392. 61  Bano be baava e Teru-meera, n’e Teru-kalusa, n’e Kyerubu, n’e Yaddoni, n’e Immeri, naye nga baali tebamanyi nnyumba za bakitaabwe oba gye basibuka okukakasa nti Bayisirayiri:+ 62  abaana ba Deraya, abaana ba Tobiya, n’abaana ba Nekoda, 642. 63  Ku bakabona: abaana ba Kabaya, abaana ba Kakkozi,+ n’abaana ba Baluzirayi, eyawasa omukazi mu bawala ba Baluzirayi+ Omugireyaadi n’ayitibwa erinnya lyabwe. 64  Abo baanoonya amannya g’empya zaabwe mu biwandiiko okukakasa obuzaale bwabwe naye ne gatalabikamu, kyebaava batakkirizibwa kuweereza nga bakabona.+ 65  Gavana*+ yabagamba nti baali tebalina kulya ku bintu ebitukuvu ennyo+ okutuusa nga waliwo kabona asobola okwebuuza ng’akozesa Ulimu ne Sumimu.+ 66  Ekibiina kyonna awamu kyalimu abantu 42,360,+ 67  nga tobaliddeeko baddu baabwe abasajja n’abakazi+ abaali 7,337; era baalina n’abayimbi abasajja n’abakazi 245.+ 68  Embalaasi zaabwe zaali 736, ennyumbu zaabwe zaali 245, 69  eŋŋamira zaabwe zaali 435, ate endogoyi zaabwe zaali 6,720. 70  Abamu ku bakulu b’ennyumba za bakitaabwe baaliko bye baawaayo okuwagira omulimu.+ Gavana* naye yawaayo mu ggwanika dulakima* eza zzaabu 1,000, ebbakuli 50, n’ebyambalo bya bakabona 530.+ 71  Era abamu ku bakulu b’ennyumba za bakitaabwe baawaayo mu ggwanika ly’omulimu gw’okuzimba, dulakima eza zzaabu 20,000 ne mina* eza ffeeza 2,200. 72  Abantu abalala bonna baawaayo dulakima eza zzaabu 20,000, mina eza ffeeza 2,000, n’ebyambalo bya bakabona 67. 73  Awo bakabona, n’Abaleevi, n’abakuumi b’oku miryango, n’abayimbi,+ n’abamu ku bantu, n’abaweereza b’oku yeekaalu,* n’Abayisirayiri abalala bonna,* ne batuula mu bibuga byabwe.+ Omwezi ogw’omusanvu we gwatuukira+ Abayisirayiri baali mu bibuga byabwe.+

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “Abanesinimu.” Obut., “abo abaweereddwayo.”
Oba, “Abanesinimu.” Obut., “abo abaweereddwayo.”
Laba obugambo obuli wansi ku Ezr 2:63.
Laba obugambo obuli wansi ku Ezr 2:63.
Laba obugambo obuli wansi ku Ezr 2:69.
Mina eyogerwako mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya yali yenkana gramu 570. Laba Ebyong. B14.
Oba, “Abanesinimu.” Obut., “abo abaweereddwayo.”
Obut., “ne Isirayiri yonna.”