Nekkemiya 9:1-38

  • Abantu baatula ebibi byabwe (1-38)

    • Yakuwa, Katonda asonyiwa (17)

9  Ku lunaku olw’abiri mu ennya olw’omwezi ogwo, Abayisirayiri baakuŋŋaana wamu ne basiiba, ne bambala ebibukutu, era ne beeyiira enfuufu.+  Era ab’ezzadde lya Isirayiri beeyawula ku bagwira bonna+ ne bayimirira ne baatula ebibi byabwe n’ensobi za bakitaabwe.+  Awo ne bayimirira mu bifo byabwe, ne basoma mu ddoboozi ery’omwanguka mu kitabo ky’Amateeka+ ga Yakuwa Katonda waabwe okumala essaawa ssatu, ate essaawa essatu ezaddirira ne baatula ebibi byabwe era ne bavunnamira Yakuwa Katonda waabwe.  Awo Yesuwa, Bani, Kadumyeri, Sebaniya, Bunni, Serebiya,+ Bani, ne Kenani ne bayimirira ku kituuti+ ky’Abaleevi ne bakoowoola Yakuwa Katonda waabwe mu ddoboozi ery’omwanguka.  Era Abaleevi bano: Yesuwa, Kadumyeri, Bani, Kasabuneya, Serebiya, Kodiya, Sebaniya, ne Pesakiya ne bagamba nti: “Musituke mutendereze Yakuwa Katonda wammwe emirembe n’emirembe.*+ Ai Katonda, ka batendereze erinnya lyo ery’ekitiibwa erisinga ettendo n’emikisa gyonna abantu gye basobola okuwa.  “Ggwe wekka ggwe Yakuwa;+ ggwe wakola eggulu, eggulu erisingayo okuba waggulu, n’eggye* lyamu lyonna, n’ensi ne byonna ebigiriko, n’ennyanja ne byonna ebizirimu, era byonna ggwe obibeesaawo nga biramu, era eggye ery’omu ggulu likuvunnamira.  Ggwe Yakuwa Katonda ow’amazima, eyalonda Ibulaamu+ n’omuggya mu Uli+ eky’Abakaludaaya n’omutuuma Ibulayimu.+  Walaba ng’omutima gwe mwesigwa mu maaso go,+ kyewava okola naye endagaano okumuwa ensi y’Abakanani n’Abakiiti n’Abaamoli n’Abaperizi n’Abayebusi n’Abagirugaasi, ogiwe ezzadde lye,+ era watuukiriza bye wasuubiza kubanga oli mutuukirivu.  “Walaba okubonaabona kwa bajjajjaffe mu Misiri,+ era wawulira okuwanjaga kwabwe ku Nnyanja Emmyufu. 10  Awo n’okola obubonero n’ebyamagero ku Falaawo ne ku baweereza be bonna, ne ku bantu b’omu nsi ye bonna,+ kubanga wamanya nti baabonyaabonya+ abantu bo. Weekolera erinnya erikyaliwo ne leero.+ 11  Wayawuzaamu ennyanja mu maaso gaabwe, ne basomoka nga bayita ku ttaka ekkalu wakati mu nnyanja,+ era abaali babawondera wabakasuka mu buziba ng’ejjinja erikasukiddwa mu mazzi ageefuukuula.+ 12  Emisana wabakulemberanga ng’okozesa empagi ey’ekire, ate ekiro n’obakulembera ng’okozesa empagi ey’omuliro okubamulisiza ekkubo lye baalina okuyitamu.+ 13  Wakka ku Lusozi Sinaayi+ n’oyogera nabo ng’oyima mu ggulu,+ n’obabuulira bye wasalawo eby’obutuukirivu n’amateeka ag’amazima* era n’ebiragiro ebirungi.+ 14  Wabamanyisa Ssabbiiti yo entukuvu,+ era n’obawa ebiragiro n’amateeka ng’oyitira mu Musa omuweereza wo. 15  Bwe baalumwa enjala, wabawa emmere okuva mu ggulu,+ era bwe baalumwa ennyonta wabawa amazzi okuva mu lwazi;+ wabagamba okuyingira batwale ensi gye walayira* okubawa. 16  “Naye bo, kwe kugamba, bajjajjaffe, beekulumbaza+ era baawaganyala;*+ tebaawuliriza biragiro byo. 17  Baagaana okuwuliriza,+ era tebajjukira bikolwa byo eby’ekitalo bye wabakolera, naye baawaganyala* ne beerondera eyali ajja okubakulemberamu okuddayo mu buddu bwabwe e Misiri.+ Naye oli Katonda omwetegefu okusonyiwa,* ow’ekisa, omusaasizi, alwawo okusunguwala, era alina okwagala kungi okutajjulukuka,+ era tewabaabulira.+ 18  Ne bwe beekolera ekifaananyi eky’ennyana ey’ekyuma* ne bagamba nti: ‘Ono ye Katonda wo eyakuggya e Misiri,’+ era ne bakola ebikolwa eby’obunyoomi ennyo, 19  olw’obusaasizi bwo obungi tewabaleka mu ddungu.+ Emisana empagi ey’ekire teyabavangako; yabakulemberanga mu kkubo. N’ekiro empagi ey’omuliro teyabavangako; yabamulisizanga ekkubo lye baalina okuyitamu.+ 20  Wabawa omwoyo gwo omulungi okubafuula ab’amagezi;+ tewalekayo kubawa mmaanu,+ era ennyonta bwe yabaluma wabawa amazzi.+ 21  Wabawa emmere mu ddungu okumala emyaka 40,+ era tewali na kimu kye baajula. Ebyambalo byabwe tebyakaddiwa+ era ebigere byabwe tebyazimba. 22  “Wabawa obwakabaka n’amawanga, ng’obibagabira kitundu ku kitundu,+ ne batwala ensi ya Sikoni,+ kwe kugamba, ensi ya kabaka wa Kesuboni,+ n’ensi ya Ogi+ kabaka wa Basani. 23  Wayaza abaana baabwe ne baba ng’emmunyeenye ez’oku ggulu,+ era wabaleeta mu nsi gye wali osuubizza bajjajjaabwe nti bandigiyingidde ne bagitwala.+ 24  Abaana baabwe baayingira ne batwala ensi eyo,+ n’owangula Abakanani,+ abaali babeera mu nsi eyo, nga balaba, n’owaayo mu mukono gwabwe bakabaka baabwe n’amawanga ag’omu nsi eyo, babakole nga bwe baagala. 25  Baawamba ebibuga ebiriko bbugwe+ n’ettaka eggimu,+ era baatwala ennyumba ezaali zijjudde ebintu ebirungi ebya buli ngeri, n’enzizi ensime, n’ennimiro ez’emizabbibu n’ez’emizeyituuni,+ n’emiti emingi egy’ebibala. Baalya ne bakkuta ne bagejja ne beeyagalira mu bulungi bwo obungi. 26  “Kyokka tebaali bawulize; baakujeemera+ era baava ku Mateeka go.* Batta bannabbi bo abaabalabulanga basobole okubazza gy’oli, era baakolanga ebikolwa eby’obunyoomi ennyo.+ 27  Kyewava obawaayo mu mukono gw’abalabe baabwe+ abaabalabyanga ennaku.+ Naye mu kiseera mwe baalabiranga ennaku baakukaabiriranga era n’owuliriza ng’oyima mu ggulu; era olw’obusaasizi bwo obungi, wabawanga abalokozi okubalokola mu mukono gw’abalabe baabwe.+ 28  “Kyokka olwafunanga emirembe nga baddamu okukola ebibi mu maaso go,+ era ng’obawaayo mu mukono gw’abalabe baabwe abaabafuganga obumbula.*+ Olwo baddanga gy’oli ne bakukaabirira obayambe,+ era wawulirizanga ng’oyima mu ggulu n’obanunula enfunda n’enfunda olw’obusaasizi bwo obungi.+ 29  Wadde wabalabulanga basobole okuddamu okukwata Amateeka go, beekulumbazanga ne bagaana okuwuliriza ebiragiro byo;+ era baamenyanga amateeka go, so ng’ate omuntu bw’agakwata abeera mulamu.+ Naye baawaganyala ne bagakuba amabega era ne bakakanyaza ensingo yaabwe, ne bagaana okuwuliriza. 30  Wabagumiikiriza+ okumala emyaka mingi, n’obalabulanga ng’okozesa omwoyo gwo okuyitira mu bannabbi bo, naye baagaana okuwuliriza. Ku nkomerero wabawaayo mu mukono gw’amawanga ag’omu nsi.+ 31  Olw’okusaasira kwo okungi tewabasaanyaawo+ wadde okubaabulira; kubanga oli Katonda ow’ekisa era omusaasizi.+ 32  “Kaakano Ai Katonda waffe, Katonda omukulu, ow’amaanyi, ow’entiisa, akuumye endagaano ye, era alaze okwagala okutajjulukuka,+ ebizibu byonna ebitutuuseeko ffe ne bakabaka baffe n’abaami baffe+ ne bakabona baffe+ ne bannabbi baffe+ ne bajjajjaffe era n’abantu bo bonna okuva mu biseera bya bakabaka ba Bwasuli+ n’okutuusa leero, tobitwala ng’ebitali bya maanyi mu maaso go. 33  Mu byonna ebitutuuseeko obadde mwenkanya gye tuli; obadde mwesigwa naye ffe tweyisizza bubi nnyo.+ 34  Bakabaka baffe n’abaami baffe ne bakabona baffe ne bajjajjaffe tebaakwata Mateeka go wadde okuwulira ebiragiro byo n’ebyo by’otujjukiza* bye wakozesa okubalabula. 35  Ne mu kiseera we baabeerera mu bwakabaka bwabwe nga beeyagalira mu bintu ebirungi ebingi bye wabawa, era nga bali mu nsi engazi era engimu gye wabawa, tebaakuweereza+ era tebaalekayo bintu byabwe ebibi bye baakolanga. 36  Laba leero tuli baddu+—tuli baddu mu nsi gye wawa bajjajjaffe balye ebibala byamu n’ebintu byamu ebirungi. 37  Ebibala byayo ebingi bigenda eri bakabaka be wassaawo okutufuga olw’ebibi byaffe.+ Bafuga emibiri gyaffe n’ebisolo byaffe nga bwe baagala; tuli mu nnaku ya maanyi nnyo. 38  “Olw’ebyo byonna kyetuva tukola endagaano ey’enkalakkalira+ mu buwandiike, era abaami baffe n’Abaleevi baffe ne bakabona baffe bagikakasizza nga bagiteekako akabonero.”+

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “okuva emirembe n’emirembe okutuusa emirembe n’emirembe.”
Eggye lino liyinza n’okuzingiramu ebitonde ebiri ku ggulu.
Oba, “n’amateeka ageesigika.”
Obut., “gye wayimusiza omukono gwo.”
Obut., “baakakanyaza ensingo yaabwe.”
Oba, “Katonda ow’ebikolwa eby’okusonyiwa.”
Obut., “baakakanyaza ensingo yaabwe.”
Oba, “ekifaananyi ekisaanuse.”
Obut., “era ne basuula Amateeka go ennyuma waabwe.”
Oba, “abaababetentanga.”
Oba, “n’ebyo by’otuwa okutulabula.”