Okubala 18:1-32

  • Emirimu gya bakabona n’Abaleevi (1-7)

  • Emigabo gya bakabona (8-19)

    • Endagaano ey’omunnyo (19)

  • Abaleevi balina okufuna n’okuwaayo ekimu eky’ekkumi (20-32)

18  Awo Yakuwa n’agamba Alooni nti: “Ggwe ne batabani bo n’ab’ennyumba ya kitaawo mujja kuvunaanibwanga nga waliwo etteeka lyonna erikwata ku kifo ekitukuvu erimenyeddwa,+ era ggwe ne batabani bo mujja kuvunaanibwanga nga waliwo etteeka lyonna erikwata ku bwakabona erimenyeddwa.+  Sembeza baganda bo ab’ekika kya Leevi, ekika kya kitaawo, bakwegatteko era bakuweerezenga+ ggwe ne batabani bo, mu maaso ga weema ey’Obujulirwa.+  Banaatuukirizanga obuvunaanyizibwa bwe balina gy’oli era n’obwo obukwata ku weema yonna.+ Kyokka tebasembereranga ebintu by’omu kifo ekitukuvu n’ekyoto baleme okufa era nammwe muleme okufa.+  Banaakwegattangako ne batuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe obw’oku weema ey’okusisinkaniramu era ne bakola emirimu gyonna egy’oku weema; era omuntu omulala yenna* tabasembereranga mmwe.+  Mulina okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwammwe obw’omu kifo ekitukuvu+ n’obuvunaanyizibwa bwammwe obw’ekyoto,+ Abayisirayiri baleme kusunguwalirwa nate.+  Nze kennyini nzigye baganda bammwe Abaleevi mu Bayisirayiri okuba ekirabo gye muli.+ Baweereddwa Yakuwa okukola emirimu gya weema ey’okusisinkaniramu.+  Ggwe ne batabani bo mmwe muvunaanyizibwa ku mirimu gyammwe egy’obwakabona egikwataganyizibwa n’ekyoto n’ebyo ebiri munda w’olutimbe,+ era mmwe mujja okukolanga emirimu egyo.+ Mbawadde obuweereza bw’obwakabona ng’ekirabo, era omuntu omulala yenna* anaasembereranga ekifo ekitukuvu anattibwanga.”+  Yakuwa era n’agamba Alooni nti: “Nkukwasizza ebintu ebinaabanga bimpeereddwa.+ Ggwe ne batabani bo mbawadde ku bintu byonna ebitukuvu Abayisirayiri bye bawaayo, bibenga omugabo gwammwe ogw’olubeerera.+  Bino bye binaabanga ebibyo ku bintu ebitukuvu ennyo ebyokebwa n’omuliro: buli kiweebwayo kye banaawangayo nga muno mmwe muli ebiweebwayo byabwe eby’emmere ey’empeke+ n’ebiweebwayo olw’ekibi+ n’ebiweebwayo olw’omusango+ bye banaaleetanga gye ndi. Binaabanga bitukuvu gy’oli n’eri batabani bo. 10  Onoobiriiranga mu kifo ekitukuvu ennyo+ era buli musajja anaabiryangako. Binaabanga bitukuvu gy’oli.+ 11  Na bino binaabanga bibyo: ebirabo bye banaawangayo+ awamu n’ebiweebwayo ebiwuubibwa byonna+ eby’Abayisirayiri. Mbikuwadde ggwe ne batabani bo ne bawala bo, bibenga omugabo gwammwe ogw’olubeerera.+ Buli muntu omulongoofu mu nnyumba yo ayinza okubiryako.+ 12  “Amafuta agasingayo obulungi gonna n’omwenge omusu ogusingayo obulungi gwonna, n’emmere ey’empeke, ebibala byabwe ebibereberye+ bye banaawanga Yakuwa, mbikuwadde.+ 13  Ebibala ebinaasookanga okwengera ku byonna ebiri mu nsi yaabwe, bye banaaleetanga eri Yakuwa, binaabanga bibyo.+ Buli muntu omulongoofu mu nnyumba yo anaabiryangako. 14  “Buli kintu ekinaayawulibwangawo okuba ekitukuvu mu Isirayiri kinaabanga kikyo.+ 15  “Buli kiggulanda mu bintu ebiramu byonna+ kye banaaleetanga eri Yakuwa, k’abe omuntu oba ensolo, kinaabanga kikyo. Kyokka omubereberye mu bantu onoomununulanga,+ era n’ebisolo ebibereberye mu nsolo ezitali nnongoofu onoobinunulanga.+ 16  Onoobinunulanga n’omuwendo ogununula, nga bya mwezi gumu n’okudda waggulu, okusinziira ku muwendo omugereke, ze sekeri za ffeeza ttaano,+ nga sekeri* ey’omu kifo ekitukuvu bw’eri.* Sekeri emu ze gera* 20. 17  Ente ennume n’endiga ento ennume n’embuzi ebibereberye byokka by’otaanunulenga.+ Byo bitukuvu. Omusaayi gwabyo onoogumansiranga ku kyoto,+ era amasavu gaabyo onoogookyanga ng’ekiweebwayo ekyokebwa n’omuliro okuba evvumbe eddungi* eri Yakuwa.+ 18  Ennyama yaabyo eneebanga yiyo. Eneebanga yiyo ng’ekifuba ky’ekiweebwayo ekiwuubibwa n’ekisambi ekya ddyo bwe biri ebibyo.+ 19  Ebintu byonna ebitukuvu Abayisirayiri bye banaawanga Yakuwa+ mbikuwadde ggwe ne batabani bo ne bawala bo, bibenga omugabo gwammwe ogw’olubeerera.+ Eyo ndagaano ey’omunnyo ey’olubeerera* eri wakati wa Yakuwa naawe n’ezzadde lyo.” 20  Yakuwa n’ayongera n’agamba Alooni nti: “Tojja kuba na busika mu nsi yaabwe era tojja kuba na ttaka mu bo.+ Nze mugabo gwo era nze busika bwo mu Bayisirayiri.+ 21  “Era laba, abaana ba Leevi mbawadde buli kimu eky’ekkumi+ mu Isirayiri ng’obusika olw’emirimu gye bakola ku weema ey’okusisinkaniramu. 22  Abayisirayiri tebaddamu okusemberera weema ey’okusisinkaniramu, baleme okwonoona ne bafa. 23  Abaleevi be banaakolanga emirimu gya weema ey’okusisinkaniramu, era be banaavunaanibwanga ng’abantu bamenye amateeka agakwata ku kifo ekitukuvu.+ Tebajja kufuna busika mu Bayisirayiri;+ eryo tteeka lya lubeerera mu mirembe gyammwe gyonna. 24  Ekimu eky’ekkumi Abayisirayiri kye banaawangayo eri Yakuwa nkiwadde Abaleevi okuba obusika. Kyenvudde mbagamba nti, ‘Tebalina kufuna busika mu Bayisirayiri.’”+ 25  Awo Yakuwa n’agamba Musa nti: 26  “Ojja kugamba Abaleevi nti, ‘Mujja kufuna okuva eri Abayisirayiri ekimu eky’ekkumi kye mbawadde ng’obusika+ okuva gye bali, era ku kimu eky’ekkumi ekyo munaggyangako kimu kya kkumi ne mukiwaayo eri Yakuwa.+ 27  Era ekyo kijja kutwalibwanga ng’ekiweereddwayo mmwe; kijja kuba ng’emmere ey’empeke evudde mu gguuliro+ lyammwe era ng’omwenge omungi oba amafuta amangi ebivudde mu masogolero gammwe. 28  Mu ngeri eyo nammwe munaawangayo eri Yakuwa okuva ku bitundu byonna eby’ekkumi bye munaafunanga okuva eri Abayisirayiri, era ku ebyo kwe munaggyanga eky’okuwa Yakuwa, ne mukiwa Alooni kabona. 29  Ku birabo byonna ebisingayo obulungi bye munaaweebwanga,+ kwe munaggyanga ebintu ebya buli ngeri ne mubiwa Yakuwa ng’ekintu ekitukuvu.’ 30  “Era ojja kubagamba nti, ‘Bwe munaawangayo ebisinga obulungi ku ebyo bye munaaweebwanga, ebinaabanga bisigaddewo binaabanga byammwe Abaleevi, bijja kuba ng’emmere ey’empeke evudde mu gguuliro lyammwe era n’omwenge oba amafuta ebivudde mu masogolero gammwe. 31  Mmwe n’ab’omu nnyumba zammwe musobola okubiriira mu kifo kyonna, kubanga ye mpeera yammwe olw’okuweereza kwe muweereza ku weema ey’okusisinkaniramu.+ 32  Era temuubengako kibi mu nsonga eno kasita munaawangayo ebisinga obulungi ku byo; temujaajaamyanga bintu bitukuvu eby’Abayisirayiri muleme okufa.’”+

Obugambo Obuli Wansi

Kwe kugamba, atali wa nnyumba ya Alooni.
Kwe kugamba, atali wa nnyumba ya Alooni.
Oba, “nga sekeri entukuvu bw’eri.”
Gera yali yenkana gramu 0.57. Laba Ebyong. B14.
Sekeri yali yenkana gramu 11.4. Laba Ebyong. B14.
Oba, “erikkakkanya.” Obut., “eriweweeza.”
Kwe kugamba, endagaano ey’olubeerera etakyuka.