Okubala 2:1-34

  • Ba kusiisira mu bibinja bya bika bisatu bisatu (1-34)

    • Ekibinja kya Yuda kisiisira ku ludda olw’ebuvanjuba (3-9)

    • Ekibinja kya Lewubeeni kisiisira ku ludda olw’ebukiikaddyo (10-16)

    • Abaleevi basiisira mu makkati (17)

    • Ekibinja kya Efulayimu kisiisira ku luuyi olw’ebugwanjuba (18-24)

    • Ekibinja kya Ddaani kisiisira ku luuyi olw’ebukiikakkono (25-31)

    • Omuwendo gw’abasajja bonna abaabalibwa (32-34)

2  Awo Yakuwa n’ayogera ne Musa ne Alooni n’abagamba nti:  “Abayisirayiri bajja kusiisira ebibinja byabwe eby’ebika ebisatu+ we byaweebwa okubeera, buli muntu ng’ali kumpi n’akabonero k’ennyumba ya bakitaabe. Bajja kusiisira ku njuyi zonna eza weema ey’okusisinkaniramu nga batunudde gy’eri.  “Abo abanaasiisira ku luuyi olw’ebuvanjuba bajja kuba ab’ekibinja eky’ebika ebisatu eky’olusiisira lwa Yuda, ng’ebibinja byabwe bwe biri.* Omwami w’abaana ba Yuda ye Nakusoni+ mutabani wa Amminadaabu.  Ab’omu ggye lye abaawandiikibwa baali 74,600.+  Abanaasiisira okumuliraana bajja kuba ab’ekika kya Isakaali, era omwami w’abaana ba Isakaali ye Nesaneeri+ mutabani wa Zuwaali.  Ab’omu ggye lye abaawandiikibwa bali 54,400.+  Ekika kya Zebbulooni kye kijja okuddako, era omwami w’abaana ba Zebbulooni ye Eriyaabu+ mutabani wa Keroni.  Ab’omu ggye lye abaawandiikibwa baali 57,400.+  “Abo bonna abaawandiikibwa mu ggye ly’olusiisira lwa Yuda baali 186,400. Bano be banaasookanga okusimbula.+ 10  “Abo abanaabeera ku luuyi olw’ebukiikaddyo bajja kuba ab’ekibinja ky’ebika ebisatu eky’olusiisira lwa Lewubeeni+ ng’ebibinja byabwe bwe biri.* Omwami w’abaana ba Lewubeeni ye Erizuuli+ mutabani wa Sedewuli. 11  Ab’omu ggye lye abaawandiikibwa baali 46,500.+ 12  Abanaasiisira okumuliraana bajja kuba ab’ekika kya Simiyoni, era omwami w’abaana ba Simiyoni ye Serumiyeeri+ mutabani wa Zulisadaayi. 13  Ab’omu ggye lye abaawandiikibwa baali 59,300.+ 14  Ekika kya Gaadi kye kijja okuddako, era omwami w’abaana ba Gaadi ye Eriyasaafu+ mutabani wa Leweri. 15  Ab’omu ggye lye abaawandiikibwa baali 45,650.+ 16  “Abo bonna abaawandiikibwa mu ggye ly’olusiisira lwa Lewubeeni baali 151,450. Bano be banaabanga ab’okubiri okusimbula.+ 17  “Weema ey’okusisinkaniramu bw’eneebanga eggibwa mu kifo,+ olusiisira lw’Abaleevi lujja kubeeranga wakati w’ensiisira endala. “Bajja kutambulanga nga bwe baddiriŋŋana mu kusiisira,+ buli omu mu kifo kye, ng’ebibinja byabwe eby’ebika ebisatu ebisatu bwe biri. 18  “Abo abanaabeera ku luuyi olw’ebugwanjuba bajja kuba ab’ekibinja eky’ebika ebisatu eky’olusiisira lwa Efulayimu ng’ebibinja byabwe bwe biri.* Omwami w’abaana ba Efulayimu ye Erisaama+ mutabani wa Ammikudi. 19  Ab’omu ggye lye abaawandiikibwa baali 40,500.+ 20  Abo abanaasiisira okumuliraana bajja kuba ab’ekika kya Manase,+ era omwami w’abaana ba Manase ye Gamalyeri+ mutabani wa Pedazuuli. 21  Ab’omu ggye lye abaawandiikibwa baali 32,200.+ 22  Ekika kya Benyamini kye kijja okuddako, era omwami w’abaana ba Benyamini ye Abidaani+ mutabani wa Gidiyooni. 23  Ab’omu ggye lye abaawandiikibwa baali 35,400.+ 24  “Abo bonna abaawandiikibwa mu bibinja by’eggye ly’olusiisira lwa Efulayimu baali 108,100. Bano be banaabanga ab’okusatu okusimbula.+ 25  “Abo abanaabeera ku luuyi olw’ebukiikakkono bajja kuba ab’ekibinja ky’ebika ebisatu eky’olusiisira lwa Ddaani ng’ebibinja byabwe bwe biri.* Omwami w’abaana ba Ddaani ye Akiyezeeri+ mutabani wa Amisadaayi. 26  Ab’omu ggye lye abaawandiikibwa baali 62,700.+ 27  Abo abanaasiisira okumuliraana bajja kuba ab’ekika kya Aseri, era omwami w’abaana ba Aseri ye Pagiyeeri+ mutabani wa Okulaani. 28  Ab’omu ggye lye abaawandiikibwa baali 41,500.+ 29  Ekika kya Nafutaali kye kijja okuddako, era omwami w’abaana ba Nafutaali ye Akira+ mutabani wa Enani. 30  Ab’omu ggye lye abaawandiikibwa baali 53,400.+ 31  “Abo bonna abaawandiikibwa mu lusiisira lwa Ddaani baali 157,600. Bano be banaasembangayo okusimbula+ ku bibinja bya Isirayiri eby’ebika ebisatu ebisatu.” 32  Abo be Bayisirayiri abaawandiikibwa okusinziira ku nnyumba za bakitaabwe; abo bonna abaali mu nsiisira abaawandiikibwa okuweereza mu magye baali 603,550.+ 33  Naye bo Abaleevi tebaawandiikibwa+ wamu n’Abayisirayiri abalala,+ nga Yakuwa bwe yalagira Musa. 34  Abayisirayiri baakola byonna Yakuwa bye yalagira Musa. Bwe batyo bwe baasiisiranga okusinziira ku bibinja byabwe eby’ebika ebisatu ebisatu,+ era bwe batyo bwe baasitulanga okugenda,+ buli omu okusinziira ku luggya lwe era ng’ennyumba za bakitaabwe bwe zaali.

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “ng’eggye lyabwe bwe liri.”
Obut., “ng’eggye lyabwe bwe liri.”
Obut., “ng’eggye lyabwe bwe liri.”
Obut., “ng’eggye lyabwe bwe liri.”