Okubala 24:1-25
24 Balamu bwe yalaba nga kisanyusa* Yakuwa okuwa Isirayiri omukisa, n’atagenda nate kunoonya ddogo,+ naye n’akyuka n’atunula mu ddungu.
2 Bwe yayimusa amaaso ge n’alaba ng’Abayisirayiri basiisidde okusinziira ku bika byabwe,+ omwoyo gwa Katonda ne gumujjako.+
3 Awo n’ayogera ebigambo bino eby’obunnabbi:+
“Ebigambo bya Balamu mutabani wa Byoli,Ebigambo by’omusajja azibuddwa amaaso,
4 Ebigambo by’oyo awulira ekigambo kya Katonda,Oyo eyalaba okwolesebwa kw’Omuyinza w’Ebintu Byonna,Eyavunnama nga tazibirizza maaso:+
5 Weema zo nga zirabika bulungi ggwe Yakobo,Ebifo byo by’obeeramu ggwe Isirayiri!+
6 Zituukira ddala wala okufaananako ebiwonvu,+Ziringa ennimiro eziri okumpi n’omugga.Ziringa emiti gya alowe Yakuwa gye yasimba,Ziringa emiti gy’entolokyo egiri okumpi n’amazzi.
7 Amazzi gatonnya okuva mu bulobo bwe obubiri,Era ensigo ye* esimbibwa awali amazzi amangi.+
Kabaka we+ naye aliba wa kitiibwa okusinga Agagi,+N’obwakabaka bwe buligulumizibwa.+
8 Katonda amuggya mu Misiri.
Alinga amayembe ga sseddume ey’omu nsiko* gye bali.
Alizikiriza amawanga, alizikiriza abalabe be,+Era amagumba gaabwe aligameketameketa, era aligamenyaamenya n’obusaale bwe.
9 Abwamye, agalamidde ng’empologoma,Era okufaananako empologoma, ani ayinza okwetantala okumugolokosa?
Abo abakuwa omukisa baweebwa omukisa,Abo abakukolimira bakolimirwa.”+
10 Awo Balaki n’asunguwalira Balamu, n’akuba mu ngalo era n’amugamba nti: “Nnakuyise kukolimira balabe bange,+ naye laba! emirundi gino esatu obawadde buwi mukisa.
11 Kale kaakano ddayo mangu ewammwe. Nnabadde njagala kukugulumiza,+ naye laba! Yakuwa akulemesezza okugulumizibwa.”
12 Awo Balamu n’agamba Balaki nti: “Ababaka be watuma gye ndi saabagamba nti,
13 ‘Balaki ne bw’aba wa kumpa nnyumba ye ng’ejjudde ffeeza ne zzaabu, nze ku bwange* sisobola kukola kintu kyonna Yakuwa ky’atalagidde, ka kibe kirungi oba kibi,’ era nti ‘ekyo kyonna Yakuwa ky’anaŋŋamba kye nja okwogera’?+
14 Kaakano ŋŋenda eri abantu bange. Naye jjangu nkubuulire abantu bano kye balikola abantu bo mu biseera eby’omu maaso.”*
15 Awo n’ayogera ebigambo bino eby’obunnabbi:+
“Ebigambo bya Balamu mutabani wa Byoli,Ebigambo by’omusajja azibuddwa amaaso,+
16 Ebigambo by’oyo awulira ekigambo kya Katonda,Oyo alina okumanya okuva eri oyo Asingayo Okuba Waggulu,Yalaba okwolesebwa kw’Omuyinza w’Ebintu ByonnaBwe yali avunnamye nga tazibirizza maaso:
17 Nja kumulaba, naye si kati;Nja kumulaba, naye si mangu.
Emmunyeenye+ eriva mu Yakobo,Ddamula+ eriyimuka mu Isirayiri.+
Aliyasaayasa ekyenyi kya Mowaabu+N’ekiwanga ky’abaana b’oluyoogaano bonna.
18 Edomu alitwalibwa,+Seyiri+ alitwalibwa abalabe be,+Nga ye Isirayiri ayolesa obuzira bwe.
19 Mu Yakobo muliva oyo aligenda awangula,+Era alizikiriza oyo yenna aliba awonyeewo mu kibuga.”
20 Bwe yalaba Amaleki n’ayongera okwogera ebigambo bye eby’obunnabbi ng’agamba nti:
“Amaleki ye yasooka mu mawanga,+Naye ku nkomerero alisaanawo.”+
21 Bwe yalaba Abakeeni+ n’ayongera okwogera ebigambo bye eby’obunnabbi ng’agamba nti:
“Ekifo ky’obeeramu kigumu, era ekifo mw’obeera kiri ku lwazi.
22 Naye walibaawo alyokya Abakeeni.*
Kiritwala bbanga ki nga Bwasuli tennabatwala mu buwambe?”
23 N’ayongera okwogera ebigambo bye eby’obunnabbi ng’agamba nti:
“Zibasanze! Katonda bw’alikikola, ani aliwonawo?
24 Ebyombo biriva ku lubalama lw’e Kittimu,+Birijoonyesa Bwasuli,+Era birijoonyesa Eberi.
Kyokka naye alisaanirawo ddala.”
25 Awo Balamu+ n’asituka n’addayo ewaabwe; Balaki naye n’akwata ekkubo n’agenda.
Obugambo Obuli Wansi
^ Obut., “nga kirungi mu maaso ga.”
^ Oba, “ezzadde lye.”
^ Kirabika ensolo eno yali efaanana ng’embogo.
^ Obut., “okuva mu mutima gwange.”
^ Oba, “ku nkomerero y’ennaku.”
^ Obut., “Kayini.”