Okubala 3:1-51
3 Bano be baana* ba Alooni ne Musa mu kiseera Yakuwa we yayogerera ne Musa ku Lusozi Sinaayi.+
2 Gano ge mannya ga batabani ba Alooni: Nadabu omubereberye, Abiku,+ Eriyazaali,+ ne Isamaali.+
3 Ago ge mannya ga batabani ba Alooni, bakabona abaafukibwako amafuta ne bateekebwawo* okuweereza nga bakabona.+
4 Naye Nadabu ne Abiku baafiira mu maaso ga Yakuwa bwe baawaayo omuliro ogutakkirizibwa mu maaso ga Yakuwa+ mu ddungu lya Sinaayi, era baafa tebazadde baana. Kyokka Eriyazaali+ ne Isamaali+ bo beeyongera okuweereza nga bakabona ne Alooni kitaabwe.
5 Awo Yakuwa n’agamba Musa nti:
6 “Leeta ab’ekika kya Leevi+ obasse mu maaso ga Alooni kabona, era bajja kumuweerezanga.+
7 Bajja kutuukirizanga obuvunaanyizibwa bwabwe eri Alooni n’eri ekibiina kyonna mu maaso ga weema ey’okusisinkaniramu nga bakola emirimu gya weema entukuvu.
8 Bajja kulabiriranga ebintu+ byonna ebya weema ey’okusisinkaniramu, era batuukirize n’obuvunaanyizibwa bwabwe eri Abayisirayiri nga bakola emirimu egy’oku weema entukuvu.+
9 Alooni ne batabani be ojja kubawa Abaleevi. Bamuweereddwa ng’ebirabo okuva mu Bayisirayiri.+
10 Ojja kulonda Alooni ne batabani be, era bajja kukolanga emirimu gyabwe egy’obwakabona;+ omuntu omulala yenna* anaasembereranga ekifo ekitukuvu anattibwanga.”+
11 Yakuwa era n’ayogera ne Musa n’amugamba nti:
12 “Laba! Ntwala Abaleevi okuva mu Bayisirayiri mu kifo ky’abaana abaggulanda bonna ab’Abayisirayiri;+ Abaleevi bajja kuba bange.
13 Kubanga buli mubereberye wange.+ Ku lunaku lwe nnatta ababereberye bonna mu nsi ya Misiri+ nneeyawulirawo buli mubereberye mu Isirayiri okuba omutukuvu gye ndi, ababereberye bonna ab’abantu n’ab’ensolo.+ Abo banaabeeranga bange; nze Yakuwa.”
14 Era Yakuwa n’ayogera ne Musa mu ddungu lya Sinaayi+ n’amugamba nti:
15 “Wandiika abaana ba Leevi okusinziira ku nnyumba za bakitaabwe ne ku mpya zaabwe. Wandiika buli musajja okuva ku w’omwezi ogumu n’okudda waggulu.”+
16 Awo Musa n’abawandiika nga Yakuwa bwe yamulagira.
17 Gano ge mannya ga batabani ba Leevi: Gerusoni, Kokasi ne Merali.+
18 Gano ge mannya g’abaana ba Gerusoni okusinziira ku mpya zaabwe: Libuni ne Simeeyi.+
19 Abaana ba Kokasi okusinziira ku mpya zaabwe baali, Amulaamu, Izukali, Kebbulooni, ne Wuziyeeri.+
20 Abaana ba Merali okusinziira ku mpya zaabwe baali, Makuli+ ne Musi.+
Ezo ze mpya z’Abaleevi okusinziira ku nnyumba za bakitaabwe.
21 Mu Gerusoni mwe mwava ab’oluggya lw’Abalibuni+ n’ab’oluggya lw’Abasimeeyi. Ezo ze mpya z’Abagerusoni.
22 Abasajja baabwe bonna abaawandiikibwa okuva ku b’omwezi ogumu n’okudda waggulu baali 7,500.+
23 Ab’empya z’Abagerusoni baasiisiranga mabega wa weema entukuvu+ ku luuyi olw’ebugwanjuba.
24 Omwami w’ennyumba ya bakitaabwe b’Abagerusoni yali Eriyasaafu mutabani wa Laweri.
25 Mu weema ey’okusisinkaniramu, abaana ba Gerusoni+ be baalina obuvunaanyizibwa obw’okulabirira weema,+ n’eky’okubikkako kyayo,+ n’olutimbe+ olw’omu mulyango oguyingira mu weema ey’okusisinkaniramu,
26 n’entimbe+ ez’oluggya, n’olutimbe+ olw’omu mulyango gw’oluggya olwetoolodde weema entukuvu n’ekyoto, n’emiguwa gya weema, n’emirimu gyonna egikwata ku bintu ebyo.
27 Mu Kokasi mwe mwava ab’oluggya lw’Abamulaamu, n’ab’oluggya lw’Abayizukali, n’ab’oluggya lw’Abakebbulooni, n’ab’oluggya lw’Abawuziyeeri. Ezo ze mpya z’Abakokasi.+
28 Abasajja bonna okuva ku b’omwezi ogumu n’okudda waggulu baali 8,600. Abo be baalina obuvunaanyizibwa obw’okulabirira ekifo ekitukuvu.+
29 Ab’empya z’abaana ba Kokasi baasiisiranga ku luuyi lwa weema+ entukuvu olw’ebukiikaddyo.
30 Omwami w’ennyumba ya bakitaabwe b’empya z’Abakokasi yali Erizafani mutabani wa Wuziyeeri.+
31 Baalina obuvunaanyizibwa obw’okulabirira Essanduuko,+ n’emmeeza,+ n’ekikondo ky’ettaala,+ n’ebyoto,+ n’ebintu+ ebikozesebwa mu kuweereza mu kifo ekitukuvu, n’olutimbe,+ n’emirimu gyonna egikwata ku bintu ebyo.+
32 Omwami omukulu ow’Abaleevi yali Eriyazaali+ mutabani wa Alooni kabona, eyakuliranga abo abaakolanga emirimu egy’omu kifo ekitukuvu.
33 Mu Merali mwe mwava ab’oluggya lw’Abamakuli n’ab’oluggya lw’Abamusi. Ezo ze mpya za Merali.+
34 Abasajja baabwe bonna abaawandiikibwa okuva ku b’omwezi ogumu n’okudda waggulu baali 6,200.+
35 Omwami w’ennyumba ya bakitaabwe b’empya z’Abamerali yali Zuliyeeri mutabani wa Abikayiri. Baasiisiranga ku luuyi lwa weema entukuvu olw’ebukiikakkono.+
36 Abaana ba Merali be baalina obuvunaanyizibwa obw’okulabirira fuleemu+ za weema entukuvu, n’emiti+ gyayo, n’empagi+ zaayo, n’obutoffaali bwayo obulimu ebituli, n’ebintu+ byayo byonna, n’emirimu gyonna egikwata ku bintu ebyo,+
37 n’empagi ezaali zeetooloola oluggya lwonna, n’obutoffaali bwazo obulimu ebituli,+ n’enninga zaazo, n’emiguwa gyazo.
38 Musa ne Alooni ne batabani be, be baasiisiranga mu maaso ga weema entukuvu ku luuyi olw’ebuvanjuba, kwe kugamba, mu maaso ga weema ey’okusisinkaniramu ku ludda enjuba gy’eva. Baalina okulabirira ekifo ekitukuvu, nga batuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe ku lw’Abayisirayiri. Omuntu omulala yenna* eyasembereranga ekifo ekitukuvu yabanga wa kuttibwa.+
39 Abaleevi bonna abasajja okuva ku b’omwezi ogumu n’okudda waggulu, Musa ne Alooni be baawandiika okusinziira ku mpya zaabwe, nga Yakuwa bwe yalagira, baali 22,000.
40 Awo Yakuwa n’agamba Musa nti: “Wandiika abaana bonna ab’obulenzi ababereberye ab’Abayisirayiri, okuva ku b’omwezi ogumu n’okudda waggulu,+ obabale era okole olukalala lw’amannya gaabwe.
41 Era ojja kumpa Abaleevi mu kifo ky’ababereberye bonna ab’Abayisirayiri,+ era n’ensolo z’Abaleevi mu kifo ky’ensolo zonna embereberye ez’Abayisirayiri.+ Nze Yakuwa.”
42 Bw’atyo Musa n’awandiika ababereberye bonna ab’Abayisirayiri nga Yakuwa bwe yamulagira.
43 Ababereberye bonna abasajja okuva ku b’omwezi ogumu n’okudda waggulu abaawandiikibwa amannya, baali 22,273.
44 Yakuwa era n’ayogera ne Musa n’amugamba nti:
45 “Twala Abaleevi mu kifo ky’ababereberye bonna mu Bayisirayiri, n’ensolo zonna ez’Abaleevi mu kifo ky’ensolo z’Abayisirayiri; Abaleevi banaabanga bange. Nze Yakuwa.
46 Okusobola okununula+ abaana b’Abayisirayiri ababereberye 273 abasukka ku muwendo gw’Abaleevi,+
47 ojja kusolooza sekeri* ttaano ku lwa buli omu,+ okusinziira ku sekeri y’omu kifo ekitukuvu.* Sekeri emu ze gera*+ 20.
48 Ssente ezo ojja kuziwa Alooni ne batabani be zinunule abo abasukka ku muwendo gw’Abaleevi.”
49 Bw’atyo Musa n’aggya ssente ezinunula ku abo abaali basukka ku muwendo gw’Abaleevi.
50 Ssente ze yaggya ku babereberye b’Abayisirayiri zaali sekeri 1,365, nga sekeri ey’omu kifo ekitukuvu bw’eri.
51 Musa n’awa Alooni ne batabani be ssente ezinunula ng’ekigambo* kya Yakuwa bwe kyali, nga Yakuwa bwe yamulagira.
Obugambo Obuli Wansi
^ Obut., “Gino gye mirembe.”
^ Obut., “emikono gyabwe ne gijjuzibwa.”
^ Kwe kugamba, omuntu atali wa mu lunyiriri lwa Alooni.
^ Kwe kugamba, atali Muleevi.
^ Sekeri yali yenkana gramu 11.4. Laba Ebyong. B14.
^ Oba, “sekeri entukuvu.”
^ Gera yali yenkana gramu 0.57. Laba Ebyong. B14.
^ Obut., “ng’akamwa.”