Okubala 31:1-54
31 Awo Yakuwa n’agamba Musa nti:
2 “Woolera eggwanga+ ku Bamidiyaani+ ku lw’Abayisirayiri. Oluvannyuma ojja kugoberera bajjajjaabo.”*+
3 Bw’atyo Musa n’agamba abantu nti: “Muteeketeeke abasajja mu mmwe bagende mu lutalo balwanyise Midiyaani, bawoolere eggwanga ku Midiyaani ku lwa Yakuwa.
4 Mujja kusindika mu ggye abasajja lukumi lukumi okuva mu buli kika kya Isirayiri.”
5 Awo ne balonda mu nkumi n’enkumi za Isirayiri+ abasajja lukumi lukumi okuva mu buli kika. Bwe batyo abasajja 12,000 ne bateekebwateekebwa okugenda okulwana.
6 Awo Musa n’asindika mu lutalo abasajja lukumi lukumi okuva mu buli kika, nga bali ne Fenekaasi+ mutabani wa Eriyazaali, kabona w’eggye, ng’alina mu mukono gwe ebintu ebitukuvu n’amakondeere+ ag’okufuuwa mu lutalo.
7 Ne balwanyisa Midiyaani nga Yakuwa bwe yalagira Musa, era ne batta buli musajja.
8 Mu abo be batta mwalimu bakabaka ba Midiyaani bano abataano: Evi, Lekemu, Zuuli, Kuli, ne Leeba. Era ne Balamu+ mutabani wa Byoli naye baamutta n’ekitala.
9 Kyokka bo abakazi n’abaana b’omu Midiyaani Abayisirayiri ne babawamba, era ne banyaga ensolo zaabwe zonna n’ebintu byabwe byonna.
10 Ne bookya ebibuga byabwe byonna bye baali babeeramu n’ebifo mwe baasiisiranga.
11 Ne batwala omunyago gwonna, nga muno mwe mwali abantu n’ensolo.
12 Ne baleeta abawambe n’omunyago eri Musa ne Eriyazaali kabona n’eri ekibiina ky’Abayisirayiri mu ddungu lya Mowaabu+ awaali olusiisira, okumpi ne Yoludaani okuliraana Yeriko.
13 Awo Musa ne Eriyazaali kabona n’abaami bonna ab’ekibiina ne bafuluma okubasisinkana ebweru w’olusiisira.
14 Musa n’asunguwalira abaalondebwa okukulira abalwanyi, kwe kugamba, abaali bakulira enkumi n’ebikumi abaali bava mu lutalo.
15 Musa n’abagamba nti: “Abakazi bonna mubalese nga balamu?
16 Abo be baakolera ku kigambo kya Balamu ne basendasenda Abayisirayiri okukola ekikolwa eky’obutali bwesigwa+ eri Yakuwa ku bikwata ku Pyoli,+ ekibiina kya Yakuwa ne kikubwa kawumpuli.+
17 Kale kaakano mutte abaana bonna ab’obulenzi, era mutte na buli mukazi eyali yeebaseeko n’omusajja.
18 Kyokka bo abaana ab’obuwala bonna abateebakangako na musajja mubaleke nga balamu.+
19 Era musigale ebweru w’olusiisira okumala ennaku musanvu. Buli eyasse omuntu na buli eyakutte ku muntu attiddwa,+ yeetukuze+ ku lunaku olw’okusatu ne ku lunaku olw’omusanvu, mmwe n’abo be mwawambye.
20 Mutukuze buli kyambalo na buli kintu eky’eddiba na buli kintu ekyakolebwa mu byoya by’embuzi na buli kintu eky’omuti.”
21 Eriyazaali kabona n’agamba abasajja ab’omu ggye abaagenda mu lutalo nti: “Lino lye tteeka Yakuwa ly’awadde Musa,
22 ‘Zzaabu ne ffeeza n’ekikomo n’ekyuma n’ebbaati n’erisasi,*
23 buli kintu ekitaggya muliro mulina okukiyisa mu muliro kibeere kirongoofu, era mulina okukitukuza n’amazzi ag’okutukuza.+ Ate buli kintu kyonna ekiggya omuliro mulina okukiyisa mu mazzi.
24 Mujja kwoza ebyambalo byammwe ku lunaku olw’omusanvu mube balongoofu, oluvannyuma mulyoke muyingire mu lusiisira.’”+
25 Yakuwa n’agamba Musa nti:
26 “Ggwe ne Eriyazaali kabona n’abakulu b’ennyumba mu kibiina mubale abantu abaawambiddwa era n’ensolo, muwandiike olukalala lw’omunyago.
27 Ojja kugabanyaamu omunyago ebitundu bibiri, ekimu okiwe ab’omu ggye abaagenze mu lutalo okulwana, ate ekirala okiwe abalala bonna ab’omu kibiina.+
28 Ojja kusolooleza Yakuwa omusolo guno ku basajja abalwanyi abaagenze mu lutalo: ku buli bantu 500 ojja kuggyako omuntu omu omu, era ne ku magana ne ku ndogoyi ne ku bisibo oggyeko ensolo emu emu ku buli nsolo 500.
29 Omusolo ogwo mujja kuguggya ku kitundu kye banaafuna muguwe Eriyazaali kabona okuba eky’okuwaayo eri Yakuwa.+
30 Ku kitundu Abayisirayiri kye banaafuna ojja kuggyako omuntu omu ku buli bantu 50, era ne ku magana ne ku ndogoyi ne ku bisibo ne ku nsolo endala zonna oggyeko emu emu ku buli nsolo 50, obiwe Abaleevi+ abalina obuvunaanyizibwa obw’okukola emirimu gy’oku weema ya Yakuwa.”+
31 Awo Musa ne Eriyazaali kabona ne bakolera ddala nga Yakuwa bwe yalagira Musa.
32 Omunyago ogwasigalawo ku ebyo abaagenda mu lutalo bye baanyaga gwali bwe guti: ku bisibo, ensolo zaali 675,000,
33 ku magana, ensolo zaali 72,000,
34 ate zo endogoyi zaali 61,000.
35 Abakazi abaali bateebakangako na musajja,+ baali 32,000.
36 Ekitundu ekimu eky’okubiri abo abaagenda mu lutalo kye baagabana kyali bwe kiti: ku bisibo baafunako ensolo 337,500.
37 Omusolo gwa Yakuwa ogwasoloozebwa ku bisibo gwali ensolo 675.
38 Ku magana baafunako ensolo 36,000, era omusolo gwa Yakuwa ogwasoloozebwa gwali ensolo 72.
39 Ate endogoyi zaali 30,500, era omusolo gwa Yakuwa ogwasoloozebwa gwali endogoyi 61.
40 Abantu baali 16,000, era omusolo gwa Yakuwa ogwasoloozebwa gwali abantu 32.
41 Awo Musa n’awa Eriyazaali kabona omusolo okuba eky’okuwaayo eri Yakuwa,+ nga Yakuwa bwe yalagira Musa.
42 Ekitundu ekimu eky’okubiri ekyaweebwa Abayisirayiri, Musa kye yayawula ku ky’abasajja abaalwana olutalo kyali bwe kiti:
43 Ekitundu ekimu eky’okubiri eky’ebisibo kyali ensolo 337,500,
44 eky’amagana kyali ensolo 36,000,
45 endogoyi zaali 30,500,
46 ate bo abantu baali 16,000.
47 Awo ku kitundu ekimu eky’okubiri eky’Abayisirayiri Musa n’aggyako omuntu omu omu ku buli bantu 50, n’ensolo emu emu ku buli nsolo 50 n’abiwa Abaleevi+ abaalina obuvunaanyizibwa obw’okukola emirimu gy’oku weema+ ya Yakuwa, nga Yakuwa bwe yalagira Musa.
48 Awo abasajja abaalondebwa okukulira enkumi mu ggye,+ kwe kugamba, abakulira enkumi n’ebikumi ne bajja awali Musa,
49 ne bamugamba nti: “Abaweereza bo babaze abasajja abalwanyi be tukulira, era tewali n’omu abuzeeko.+
50 Kale ka buli omu ku ffe aleete ky’alabye okuba eky’okuwaayo eri Yakuwa: ebintu ebya zzaabu, obujegere obw’oku magulu, obukomo, empeta eziramba, eby’oku matu, n’amajolobero amalala, tusobole okutangirirwa mu maaso ga Yakuwa.”
51 Musa ne Eriyazaali ne bakkiriza zzaabu gwe baaleeta, kwe kugamba, amajolobero gonna.
52 Zzaabu yenna abakulira enkumi n’ebikumi gwe baawaayo eri Yakuwa ng’eky’okuwaayo yali azitowa sekeri* 16,750.
53 Buli omu ku basajja abalwanyi yagabana ku munyago.
54 Musa ne Eriyazaali kabona bakkiriza zzaabu abakulira enkumi n’ebikumi gwe baabawa, ne bamuleeta mu weema ey’okusisinkaniramu okuba ekijjukizo eri abantu ba Isirayiri mu maaso ga Yakuwa.
Obugambo Obuli Wansi
^ Kino kisoko ekitegeeza okufa.
^ Kika kya kyuma ekigonvu ekya kikuusikuusi ekisaanuuka amangu.
^ Sekeri yali yenkana gramu 11.4. Laba Ebyong. B14.