Okubala 32:1-42

  • Okuweebwa ebitundu ebuvanjuba wa Yoludaani (1-42)

32  Abaana ba Lewubeeni+ n’abaana ba Gaadi+ baalina ensolo nnyingi nnyo. Awo ne balaba ensi ya Yazeri+ n’eya Gireyaadi nga nnungi okulundiramu ensolo.  Abaana ba Gaadi n’abaana ba Lewubeeni ne batuukirira Musa ne Eriyazaali kabona n’abaami b’omu kibiina ne babagamba nti:  “Atalosi ne Diboni ne Yazeri ne Nimira ne Kesuboni+ ne Ereyale ne Sebamu ne Nebo+ ne Beyoni,+  ensi Yakuwa gye yawangula ng’ekibiina kya Isirayiri+ kiraba nnungi okulundiramu ensolo, ate ng’abaweereza bo balina ensolo nnyingi.”+  Era ne bagamba nti: “Bwe tuba nga tusiimibwa mu maaso go, ensi eno k’eweebwe abaweereza bo ebeere yaabwe. Totusomosa Yoludaani.”  Awo Musa n’agamba abaana ba Gaadi n’abaana ba Lewubeeni nti: “Baganda bammwe banaagenda okulwana nga mmwe musigadde eno?  Lwaki mwagala okuterebula abantu ba Isirayiri baleme okusomoka okugenda mu nsi Yakuwa gy’agenda okubawa?  Bakitammwe ekyo kye baakola bwe nnabatuma okuva e Kadesi-baneya okugenda okulaba ensi.+  Bwe baagenda ne batuuka mu Kiwonvu Esukoli+ ne balaba ensi, ne baterebula abantu ba Isirayiri baleme okugenda mu nsi Yakuwa gye yali agenda okubawa.+ 10  Obusungu bwa Yakuwa ne bubuubuuka ku lunaku olwo, n’alayira nti:+ 11  ‘Abasajja abaava mu Misiri okuva ku b’emyaka 20 n’okudda waggulu tebaliraba nsi+ gye nnalayirira Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo,+ kubanga tebangoberedde na mutima gwabwe gwonna, 12  okuggyako Kalebu+ mutabani wa Yefune Omukenizi ne Yoswa+ mutabani wa Nuuni, kubanga bo bagoberedde Yakuwa n’omutima gwabwe gwonna.’+ 13  Bwe kityo obusungu bwa Yakuwa ne bubuubuukira Isirayiri, n’ababungeesa mu ddungu okumala emyaka 40,+ okutuusa omulembe ogwo gwonna ogwali gukola ebibi mu maaso ga Yakuwa lwe gwaggwaawo.+ 14  Kaakano muzze mu kifo kya bakitammwe ng’olulyo lw’abakozi b’ebibi abongera okuleetera obusungu bwa Yakuwa okubuubuukira Isirayiri. 15  Bwe munaakyuka ne mulekera awo okumugoberera, naye ajja kuddamu abaleke mu ddungu, era mujja kuleetera abantu bano bonna okuzikirira.” 16  Oluvannyuma ne bamutuukirira ne bamugamba nti: “Ka tuzimbire wano ensolo zaffe ebiyumba eby’amayinja era tuzimbire n’abaana baffe ebibuga. 17  Naye ffe tujja kweyongera okuba abeetegefu okulwana+ era tujja kukulemberamu Abayisirayiri okutuusa lwe tulibatuusa mu kifo kyabwe, ng’abaana baffe bo basigadde mu bibuga ebiriko bbugwe, abantu b’omu nsi gye bataabakolereko kabi. 18  Tetujja kudda mu nnyumba zaffe okutuusa nga buli omu ku Bayisirayiri afunye ekitundu ky’obusika bwe.+ 19  Tetujja kufunira wamu nabo busika ku luuyi luli olwa Yoludaani n’okweyongerayo, kubanga obusika bwaffe tubufunye ku luuyi lwa Yoludaani luno olw’ebuvanjuba.”+ 20  Awo Musa n’abagamba nti: “Mukole bwe muti: Mukwate eby’okulwanyisa mu maaso ga Yakuwa mugende mulwane;+ 21  buli omu ku mmwe bw’anaakwata eby’okulwanyisa n’asomoka Yoludaani mu maaso ga Yakuwa ng’agoba abalabe be mu maaso ge,+ 22  okutuusa ensi lw’eneewangulwa mu maaso ga Yakuwa,+ mujja kudda+ era temujja kubaako musango mu maaso ga Yakuwa ne Isirayiri. Awo ensi eno ejja kubeera yammwe mu maaso ga Yakuwa.+ 23  Naye bwe mutaakole bwe mutyo, mujja kuba mwonoonye eri Yakuwa, era mukimanye nti ekibi kyammwe kijja kubagoberera. 24  Kale muzimbire abaana bammwe ebibuga n’ensolo zammwe ebiyumba,+ naye mulina okutuukiriza ekyo kye musuubizza.” 25  Abaana ba Gaadi n’abaana ba Lewubeeni ne bagamba Musa nti: “Abaweereza bo bajja kukola nga mukama waffe bw’alagidde. 26  Abaana baffe ne bakazi baffe bajja kusigala eyo mu bibuga by’e Gireyaadi awamu n’ensolo zaffe zonna,+ 27  naye abaweereza bo bajja kusomoka, nga buli musajja yeeteeseteese okulwana mu maaso ga Yakuwa,+ nga mukama waffe bw’agambye.” 28  Awo Musa n’awa Eriyazaali kabona ne Yoswa mutabani wa Nuuni n’abakulu b’ennyumba za bakitaabwe b’ebika bya Isirayiri ebiragiro ebibakwatako. 29  Musa n’abagamba nti: “Abaana ba Gaadi n’abaana ba Lewubeeni bwe banaasomoka nammwe Yoludaani, nga buli musajja yeeteeseteese okulwana mu maaso ga Yakuwa, era ensi n’ewangulwa mu maaso gammwe, mubawanga ensi y’e Gireyaadi ebeere yaabwe.+ 30  Naye bwe bataakwate bya kulwanyisa okusomoka nammwe, bajja kutuula mu mmwe mu nsi ya Kanani.” 31  Awo abaana ba Gaadi n’abaana ba Lewubeeni ne bagamba nti: “Tujja kukola ekyo Yakuwa ky’agambye abaweereza bo. 32  Tujja kukwata eby’okulwanyisa tusomoke mu maaso ga Yakuwa tugende mu nsi ya Kanani,+ naye omugabo gw’obusika bwaffe gujja kuba ku ludda luno olwa Yoludaani.” 33  Awo Musa n’awa abaana ba Gaadi n’abaana ba Lewubeeni+ n’ekitundu ekimu eky’okubiri eky’ekika kya Manase+ mutabani wa Yusufu obwakabaka bwa Sikoni+ kabaka w’Abaamoli n’obwakabaka bwa Ogi+ kabaka wa Basani, kwe kugamba, ettaka ly’ebibuga mu bitundu ebyo, n’obubuga bw’omu bitundu ebyetooloddewo. 34  Abaana ba Gaadi ne bazimba* Diboni+ ne Atalosi+ ne Aloweri,+ 35  ne Atulosu-sofani ne Yazeri+ ne Yogubeka,+ 36  ne Besu-nimira+ ne Besu-kalani,+ ebibuga ebyaliko bbugwe, era ne bazimba n’ebiyumba by’ensolo eby’amayinja. 37  N’abaana ba Lewubeeni ne bazimba Kesuboni+ ne Ereyale+ ne Kiriyasayimu,+ 38  ne Nebo+ ne Bbaali-myoni+ (amannya gaabyo gaakyusibwa) ne Sibima; era ebibuga bye baazimba baabituuma amannya amalala. 39  Abaana ba Makiri+ mutabani wa Manase ne bagenda e Gireyaadi ne bakiwamba ne bagobamu Abaamoli abaakirimu. 40  Bw’atyo Musa n’awa Makiri mutabani wa Manase Gireyaadi, era n’atandika okukibeeramu.+ 41  Yayiri mutabani wa Manase n’agenda n’awamba obubuga obutono obw’omu kitundu ekyo n’abutuuma Kavosu-yayiri.*+ 42  Ate ye Noba n’agenda n’awamba Kenasi n’obubuga obukyetoolodde era n’akituuma erinnya lye Noba.

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “ne baddamu okuzimba.”
Litegeeza, “Ebyalo bya Yayiri Ebya Weema.”